Matayo 22 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Matayo 22:1-46

Olugero olw’Embaga ey’Obugole

1Yesu n’addamu n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, 222:2 Mat 13:24“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga ey’obugole. 322:3 Mat 21:34N’atuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga, ne batayagala kujja.

422:4 Mat 21:36“Kabaka n’abatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange n’ente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’

5“Naye ne batassaayo mwoyo, omu n’alaga mu nnimiro ye, omulala n’alaga mu bya busuubuzi bye. 6Abalala ne babakwata ne bababonyaabonya ne babatta. 722:7 Luk 19:27Awo Kabaka n’asunguwala, n’ayungula ekibinja ky’abaserikale n’azikiriza abatemu abo, n’ayokya ekibuga kyabwe.

8“Awo kabaka n’agamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo ky’embaga kiteekeddwateekeddwa, naye abaayitibwa ne batasaanira. 922:9 Ez 21:21Noolwekyo mugende mu nguudo z’omu kibuga muyite abantu bonna be munaasangayo bajje ku mbaga.’ 1022:10 Mat 13:47, 48Abaddu bwe baagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya buli gwe baasanga, ababi n’abalungi, ekisenge ky’embaga ne kijjula abagenyi.

11“Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, n’alaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga. 1222:12 Mat 20:13; 26:50Kabaka n’amubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina ky’addamu.

1322:13 Mat 8:12“Awo kabaka n’alagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono n’amagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba n’okuluma obujiji.’

1422:14 Kub 17:14“Abayitibwa bangi, naye abalondemu batono.”

Okuwa Kayisaali Omusolo

15Awo Abafalisaayo ne bagenda ne bateesa engeri gye banaategamu Yesu bamukwase mu bigambo. 1622:16 Mak 3:6Ne bamutumira abayigirizwa baabwe awamu n’Abakerodiyaani nga bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oli mulungi, era oyigiriza mazima awatali kutya muntu yenna, kubanga tososola mu bantu. 1722:17 Mat 17:25Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiri wa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”22:17 Abafalisaayo baayagalanga nnyo ensi yaabwe, era baalwanyisa nnyo obufuzi bw’Abaruumi, ate nga bakyawa n’abagoberezi ba Keerodi, abawagiranga Abaruumi. Kyokka mu nsonga eri mu nnyiriri ezo waggulu Abafalisaayo beegatta wamu n’Abakeerodi okutega Yesu n’ebibuuzo. Bwe baagezaako mu bigambo ne balemwa, kwe ku mubuuza obanga kyali kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tekyali kituufu (lunny 17). Singa yaddamu nti tekyali kituufu, Abakeerodi baali beetegese okumuwawaabira eri gavana Omuruumi, era n’oluvannyuma yandisaliddwa omusango gwa kufa. Singa yaddamu nti kituufu, Abafalisaayo baali beetegese okumwogerako nga bw’atabulatabula ensi era nga bw’atayagala nsi ye.

18Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, n’abagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa? 19Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali. 20N’ababuuza nti, “Kino ekifaananyi n’obuwandiike ebiriko by’ani?”

2122:21 Bar 13:7Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.”

2222:22 Mak 12:12Bwe baawulira ebigambo ebyo ne beewuunya ne bamuleka ne bagenda.

Obufumbo mu Kuzuukira

2322:23 a Bik 4:1 b Bik 23:8; 1Ko 15:12Ku lunaku olwo lwe lumu, Abasaddukaayo, abagamba nti, “Tewali kuzuukira,” ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, 2422:24 Ma 25:5, 6“Omuyigiriza Musa yagamba nti, ‘Singa omusajja afa nga tazadde mwana, muganda w’omufu awase nnamwandu oyo azaalire muganda we abaana.’ 25Twalina abooluganda musanvu. Owooluganda ow’olubereberye n’awasa, kyokka n’afa nga tazadde mwana, bw’atyo mukazi we n’afumbirwa muganda we. 26Ekintu kye kimu ne kituuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku w’omusanvu. 27Oluvannyuma n’omukazi oyo naye n’afa. 28Kale okuzuukira nga kutuuse omukazi oyo aliba muka ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna abooluganda omusanvu yabafumbirwako.”

2922:29 Yk 20:9Naye Yesu n’abagamba nti, “Olw’obutamanya byawandiikibwa n’obutategeera maanyi ga Katonda kyemuvudde mukyama. 3022:30 Mat 24:38Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu. 31Naye ebikwata ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga ku kigambo ekyayogerwa Katonda ng’agamba nti, 3222:32 Kuv 3:6; Bik 7:32‘Nze, ndi Katonda wa Ibulayimu era ndi Katonda wa Isaaka era ndi Katonda wa Yakobo?’ Noolwekyo Katonda si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu.”

3322:33 Mat 7:28Ebibiina ne biwuniikirira bwe baawulira okuyigiriza kwe.

Etteeka Erisinga Obukulu mu Mateeka

3422:34 Bik 4:1Abafalisaayo bwe baawulira nga Yesu Abasaddukaayo abamazeeko eby’okwogera, ne bakuŋŋaana. 3522:35 Luk 7:30; 10:25; 11:45; 14:3Omu ku bo eyali munnamateeka n’amubuuza ekibuuzo ng’amugezesa nti, 36“Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu mateeka.”

3722:37 Ma 6:5Yesu n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ 38Eryo ly’etteeka ery’olubereberye era lye Iisingira ddala obukulu. 3922:39 Lv 19:18; Mat 5:43; 19:19; Bag 5:14N’eryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’ 4022:40 Mat 7:12Amateeka amalala gonna gasinziira mu mateeka ago gombi ne bya bannabbi.”

41Awo mu kiseera ekyo Abafalisaayo nga bakuŋŋaanye, Yesu n’ababuuza nti, 4222:42 Mat 9:27“Kristo mumulowoozako mutya? Mwana waani?” Ne baddamu nti, “Mwana wa Dawudi.”

43Yesu kyeyava ababuuza nti, “Dawudi ng’ajjudde Omwoyo bw’ayogera ku Kristo, lwaki ate amuyita ‘Mukama we’, ng’agamba nti,

4422:44 Zab 110:1; Bik 2:34, 35; 1Ko 15:25; Beb 1:13; 10:13“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti:

“Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo,

okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo

ne mbassa wansi w’ebigere byo?” ’

45Noolwekyo obanga Dawudi amuyita ‘Mukama we,’ kale, ate abeera atya omwana we?” 4622:46 Mak 12:34; Luk 20:40Ne wataba n’omu amuddamu, era okuva olwo ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

馬太福音 22:1-46

王宴客的比喻

1耶穌又用比喻對他們說: 2「天國就像一個王為兒子籌備婚宴。 3他派奴僕去請受邀的客人,可是客人都不肯赴宴。 4王再派其他奴僕去,說,『去告訴被邀請的人,我的宴席已經備好,公牛和肥畜都宰了,一切都預備妥當,來赴婚宴吧!』 5那些人卻毫不理會地走了,一個去種田,一個去做買賣, 6其餘的竟然抓住王的奴僕,把他們羞辱一番後殺了。 7王大怒,派軍隊去剿滅凶手,燒毀他們的城。

8「然後,他對奴僕說,『婚宴已預備好了,只是被邀請的人不配。 9所以你們到街頭巷尾,把所有見到的人都請來。』 10奴僕到街上把遇到的人都請了來,好人壞人都有,大廳裡滿了客人。

11「王出來會見在座的客人,發現有一個人沒有穿禮服, 12就問他,『朋友,你來這裡怎麼不穿婚宴的禮服呢?』那人無言以對。 13王便吩咐侍從,『把他手腳綁起來丟到外面的黑暗裡,讓他在那裡哀哭切齒。』」

14耶穌又說:「被邀請的人多,選上的人少。」

以納稅問題刁難耶穌

15那時,法利賽人出去策劃怎樣從耶穌的話裡找把柄陷害祂。 16他們派了自己的門徒跟希律黨人一同去問耶穌:「老師,我們知道你誠實無偽,按真理傳上帝的道,你不徇情面,不以貌取人。 17那麼請告訴我們,納稅給凱撒對不對呢?」

18耶穌看出了他們的惡意,就說:「你們這些偽君子,為什麼試探我呢? 19拿一個納稅用的錢幣來給我看。」他們就拿給祂一個銀幣。

20耶穌問他們:「上面刻的是誰的像和名號?」

21他們說:「凱撒的。」

耶穌說:「那麼,屬於凱撒的東西應該給凱撒,屬於上帝的東西應該給上帝。」 22他們聽了很驚奇,只好離開祂走了。

論復活

23同一天,不相信死人會復活的撒都該人也來問耶穌, 24說:「老師,摩西說,『如果一個人死了,沒有兒女,只留下妻子,他的兄弟就當娶嫂嫂,替哥哥傳宗接代。』 25從前,我們這裡有弟兄七人,老大結了婚,沒有孩子就死了,把妻子留給了弟弟。 26二弟、三弟一直到七弟都相繼娶了嫂嫂,都沒留下孩子。 27最後,那女人也死了。 28那麼,到復活的時候,她將是誰的妻子呢?因為他們都娶過她。」

29耶穌說:「你們弄錯了。你們不明白聖經,也不知道上帝的能力。 30因為到復活的時候,人們將不娶也不嫁,就像天上的天使一樣。

31「關於死人復活的事,難道你們沒有讀過上帝對你們說過的話嗎? 32祂說,『我是亞伯拉罕的上帝,以撒的上帝,雅各的上帝。』上帝不是死人的上帝,而是活人的上帝。」 33眾人聽到祂的教導都很驚奇。

最大的誡命

34法利賽人聽見耶穌使撒都該人無言以對,就聚集在一起。 35其中有位律法專家試探耶穌說: 36「老師,請問律法中哪一條誡命最重要呢?」

37耶穌回答說:「『你要全心、全情、全意愛主——你的上帝』, 38這是第一條也是最重要的誡命。 39第二條也相似,就是『要愛鄰如己』。 40律法和先知的全部教導都以這兩條誡命為基礎。」

基督的身分

41耶穌趁著法利賽人聚在那裡,就問他們: 42「你們對基督有何看法?祂是誰的後裔?」他們答道:「大衛的後裔。」

43耶穌說:「那麼,為什麼大衛受聖靈感動,稱祂為主呢?大衛曾說,

44『主對我主說,

你坐在我的右邊,

等我使你的仇敵伏在你腳下。』

45既然大衛稱基督為主,基督又怎麼會是大衛的後裔呢?」 46沒人能回答耶穌的問題。從此再沒有人敢用問題來刁難耶穌了。