Matayo 13 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Matayo 13:1-58

Olugero lw’Omusizi

113:1 nny 36; Mat 9:28Ku lunaku olwo Yesu n’afuluma mu nnyumba n’agenda n’atuula ku lubalama lw’ennyanja. 213:2 Luk 5:3Ekibiina kinene ne kimukuŋŋaanirako. Kwe kuyingira mu lyato n’atuula omwo abantu bonna ne bayimirira ku lubalama. 3N’ababuulira ebintu bingi mu ngero ng’agamba nti, “Omulimi yali asiga ensigo mu nnimiro ye. 4Bwe yagenda ng’amansa ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. 5Endala ne zigwa ku lwazi okutali ttaka lingi era ne zimera mangu kubanga ettaka teryali ggwanvu. 6Naye omusana bwe gwayaka ne ziwotoka kubanga emirandira gyazo gyali kumpi. 7Endala ne zigwa mu maggwa, bwe zaamera amaggwa nago ne gakula ne gazisinga amaanyi, obulimi obwali bwakamera ne bukala. 813:8 Lub 26:12Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera ne zibala bulungi, ne zivaamu emirundi amakumi asatu, n’endala emirundi nkaaga n’endala emirundi kikumi. 913:9 Mat 11:15Alina amatu agawulira, awulire.”

10Abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamubuuza nti, “Lwaki oyogera nabo mu ngero?”

1113:11 Mat 11:25; 16:17; 19:11; Yk 6:65; 1Ko 2:10, 14; Bak 1:27; 1Yk 2:20, 27N’abaddamu nti, “Mmwe mulina omukisa kubanga mwaweebwa okutegeera ebyama eby’obwakabaka obw’omu ggulu, naye bo tebaakiweebwa. 1213:12 Mat 25:29; Luk 19:26Kubanga buli alina alyongerwako abeerere ddala na bingi, naye oyo atalina aliggyibwako n’ako akatono k’alina. 1313:13 Ma 29:4; Yer 5:21; Ez 12:2Kyenva njigiriza mu ngero:

“Abalaba baleme okulaba,

n’abawulira baleme okuwulira wadde okutegeera.

14Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti,

“ ‘Muliwulira naye temulitegeera

n’okulaba muliraba naye temulimanya.

1513:15 Is 6:9, 10; Yk 12:40; Bik 28:26, 27; Bar 11:8Kubanga omutima gw’abantu bano

gwesibye,

n’amatu gaabwe tegawulira bulungi.

N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu,

wadde omutima gwabwe okutegeera,

ne bakyuka

ne mbawonya.’

1613:16 Mat 16:17Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba, n’amatu gammwe kubanga gawulira. 1713:17 Yk 8:56; Beb 11:13; 1Pe 1:10-12Ddala ddala mbagamba nti, Waaliwo bannabbi bangi, n’abatuukirivu bangi abeegombanga okulaba ku bino bye mulaba, n’okuwulira bye muwulira kyokka ne batafuna mukisa ogwo.

18“Noolwekyo muwulirize olugero lw’omulimi eyasiga ensigo. 1913:19 a Mat 4:23 b Mat 5:37Ensigo eyagwa ku mabbali g’ekkubo efaanana ng’omuntu awulira ekigambo kya Katonda n’atakitegeera era omulabe Setaani n’ajja n’akimusikulako okuva ku mutima. 20Ensigo eyagwa ku byaziyazi efaanana ng’omuntu awulira ekigambo, amangwago n’akyaniriza n’essanyu, 2113:21 Mat 11:6naye olw’okuba nga talina mmizi mu ye, wa kaseera buseera, ennaku n’okuyigganyizibwa bwe bijja olw’ekigambo, amangwago n’agwa. 2213:22 Mat 19:23; 1Ti 6:9, 10, 17N’ensigo eyagwa mu maggwa efaanana ng’omuntu awulira ekigambo naye okweraliikirira kw’ebintu by’ensi n’obugagga obutaliimu ne bibuutikira ekigambo ne kitabala bibala. 2313:23 nny 8Naye ensigo eyagwa ku ttaka eddungi efaanana ng’omuntu awulira ekigambo n’akitegeera, n’abalira ddala ebibala, n’abala ebibala amakumi asatu, oba nkaaga oba kikumi.”

2413:24 nny 31, 33, 45, 47; Mat 18:23; 20:1; 22:2; 25:1; Mak 4:26, 30N’abagerera olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye, 25naye ekiro nga yeebase abasajja abalabe ne bajja ne basiga omuddo wakati mu ŋŋaano ye ne bagenda. 26Naye eŋŋaano ennungi bwe yamera, n’omuddo ne gumerera wamu nayo.

27“Naye abaddu b’omwami w’ennyumba bwe baamusemberera ne bamugamba nti, ‘Mukama waffe, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Naye ate omuddo guvudde wa?’

28“Ye n’abaddamu nti, ‘Omulabe ye yakola ekyo.’ Abaddu kyebaava bamubuuza nti, ‘Tugende tugukoolemu?’

29“N’abaddamu nti, ‘Nedda, kubanga bwe munaaba mukuulamu omuddo mujja kukuuliramu n’eŋŋaano. 3013:30 Mat 3:12Kale mubireke byonna bikulire wamu, okukungula bwe kulituuka ne ndyoka ndagira abakunguzi basooke bakuŋŋaanye omuddo bagusibeko n’oluvannyuma bagwokye, naye yo eŋŋaano bagikuŋŋaanyize mu tterekero lyange.’ ”

Olugero lw’Akaweke ka Kaladaali n’olw’Ekizimbulukusa

3113:31 a nny 24 b Mat 17:20; Luk 17:6N’abagerera olugero olulala ng’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akaweke ka kaladaali, omusajja ke yasiga mu nnimiro. 3213:32 Zab 104:12; Ez 17:23; 31:6; Dan 4:12Kaladaali kaweke katono nnyo okusinga ensigo endala zonna. Naye bwe kasimbibwa ne kakula kavaamu omuti omunene ennyo, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zijja ne zibeera ku matabi gaagwo.”

3313:33 a nny 24 b Lub 18:6 c Bag 5:9N’abongerayo olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa n’ekizimbulukusa omukazi kye yakweka mu buwunga bw’eŋŋaano, n’apima ebigero bisatu okutuusa lwe bwazimbulukuka bwonna.”

3413:34 Mak 4:33; Yk 16:25Bino byonna Yesu yabyogerera mu ngero eri ebibiina era teyayogera gye bali awatali ngero. 3513:35 Zab 78:2; Bar 16:25, 26; 1Ko 2:7; Bef 3:9; Bak 1:26Ekyayogerwa nnabbi ne kiryoka kituukirira nti,

“Ndyogerera mu ngero,

njogere ebintu ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw’ensi.”

Okunnyonnyola Olugero lw’Eŋŋaano y’omu Nsiko

3613:36 Mat 15:15Awo bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamusaba abannyonnyole amakulu g’olugero lw’omuddo ogwali mu nnimiro.

3713:37 Mat 8:20N’abannyonnyola ng’agamba nti, “Omwana w’Omuntu ye yasiga ensigo ennungi. 3813:38 Yk 8:44, 45; 1Yk 3:10Ennimiro y’ensi, n’ensigo ennungi be baana b’obwakabaka, naye omuddo be baana ba Setaani. 3913:39 a Yo 3:13 b Mat 24:3; 28:20 c Kub 14:15Omulabe eyasiga ensigo ez’omuddo ye Setaani, amakungula y’enkomerero y’ensi n’abakunguzi be bamalayika.

40“Noolwekyo ng’omuddo bwe gwakuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu muliro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y’ensi. 4113:41 a Mat 8:20 b Mat 24:31Omwana w’Omuntu alituma bamalayika be mu bwakabaka bakuŋŋaanye ebintu byonna ebyesittaza, n’abajeemu, 4213:42 nny 50; Mat 8:12babasuule mu nkoomi y’omuliro. Omwo mwe muliba okukaaba n’okuluma obujiji. 4313:43 a Dan 12:3 b Mat 11:15Naye abatuukirivu balyakaayakana ng’enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu agawulira, awulire.

4413:44 a nny 24 b Is 55:1; Baf 3:7, 8“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’ekyobugagga ekyakwekebwa13:44 Mu biro ebyo eby’obugagga byakwekebwanga mu ttaka, kubanga tewaalingawo bbanka, newaakubadde nga waaliwo abawola ensimbi mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olw’essanyu lye yafuna n’agenda n’atunda bye yalina byonna, n’agula ennimiro eyo.

4513:45 nny 24“Ate era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omusuubuzi w’amayinja ag’omuwendo omungi eyali anoonya amayinja ag’omuwendo, 46bwe yazuula ejjinja erimu ery’omuwendo n’agenda n’atunda bye yalina byonna n’aligula.

Olugero lw’Akatimba

4713:47 a nny 24 b Mat 22:10“Era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akatimba akategebwa mu nnyanja ne kakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri, 48akatimba bwe kajjula ne bakawalulira ku lubalama ne balondamu ebirungi nga babikuŋŋaanyiza mu bisero, ebibi nga babisuula. 4913:49 Mat 25:32Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero y’ensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu n’ababi. 5013:50 Mat 8:12Ababi balibasuula mu nkoomi y’omuliro eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”

51Yesu n’ababuuza nti, “Ebintu bino byonna mubitegedde?”

Ne bamuddamu nti, “Weewaawo.”

52Kyeyava abagamba nti, “Noolwekyo omuwandiisi eyayiga obulungi amateeka g’Ekiyudaaya ate n’afuuka omuyigiriza w’obwakabaka obw’omu ggulu, ali ng’omusajja nnyini nnyumba, aggyayo mu tterekero lye ebipya n’ebikadde.”

Yesu Bamwegana e Nazaaleesi

5313:53 Mat 7:28Awo Yesu bwe yamala okugera engero ezo n’avaayo, 5413:54 a Mat 4:23 b Mat 7:28n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe n’ayigiriza mu kuŋŋaaniro lyabwe. N’abeewuunyisa ne bagamba nti, “Yaggya wa amagezi n’ebyamagero ebyo?” 5513:55 a Luk 3:23; Yk 6:42 b Mat 12:46Ne beebuuza nti, “Ono si ye mutabani w’omubazzi? Nnyina ye Maliyamu ne baganda be ba Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni ne Yuda. 56Ne bannyina babeera kuno. Kale, ebyo byonna yabiggya wa?” 5713:57 a Yk 6:61 b Luk 4:24; Yk 4:44Ne bamunyiigira nga balowooza nti abeeragirako. Naye Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa mu buli kifo, okuggyako mu kitundu ky’ewaabwe ne mu nnyumba y’ewaabwe.”

58Era yakolerayo ebyamagero bitono olw’obutakkiriza bwabwe.