Matayo 12 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

Matayo 12:1-50

Mukama wa Ssabbiiti

112:1 Ma 23:25Awo mu kiseera ekyo Yesu n’ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku lunaku lwa Ssabbiiti. Abayigirizwa be ne balumwa enjala ne batandika okunoga ebirimba by’eŋŋaano ne babirya. 212:2 nny 10; Luk 13:14Naye Abafalisaayo bwe baalaba kino ne bagamba Yesu nti, “Laba abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Ssabbiiti.”

312:3 1Sa 21:6Naye Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalumwa enjala ne be yali nabo? 412:4 Lv 24:5, 9Yayingira mu nnyumba ya Katonda n’alya emigaati egy’okulaga, egikkirizibwa bakabona bokka okulya. 512:5 Kbl 28:9, 10Oba temusomanga mu mateeka nti bakabona ababeera mu luwalo lw’okuweereza mu Yeekaalu ne basobya ku Ssabbiiti tebaliiko musango? 612:6 nny 41, 42Naye mbagamba nti ekisinga Yeekaalu kiri wano. 712:7 Kos 6:6Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti, ‘Njagala mubeerenga ba kisa okusinga okuwangayo ssaddaaka,’ temwandinenyezza bataliiko musango. 812:8 Mat 8:20Kubanga Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”

9N’avaayo n’ajja mu kuŋŋaaniro lyabwe. 1012:10 nny 2; Luk 13:14; 14:3; Yk 9:16Laba mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala. Ne babuuza Yesu obanga kikkirizibwa okuwonya ku Ssabbiiti.12:10 Okuwonyezebwa ku Ssabbiiti kyali tekikkirizibwa bayigiriza b’amateeka okuggyako nga kirowoozebwa okuba ng’omuntu oyo omulwadde taalame okutuusa enkeera. Omusajja eyali akozimbye omukono yali tagenda kufa ku lunaku olwo lwennyini wadde enkeera Baali basuubira nti anaddamu nti kituufu, balyoke bamuwawaabire.

1112:11 Luk 14:5Naye n’abaddamu nti, “Singa wabaddewo omuntu mu mmwe ng’alina endiga emu, n’egwa mu bunnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, tagiggyamu? 1212:12 Mat 10:31Kale, omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? Noolwekyo kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti.”

13Bw’atyo n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo! 1412:14 Mat 26:4; 27:1; Mak 3:6; Luk 6:11; Yk 5:18; 11:53Awo Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa nga bwe banaazikiriza Yesu.

Omuweereza wa Katonda

1512:15 Mat 4:23Naye Yesu bwe yakimanya n’afuluma mu kuŋŋaaniro, abantu bangi nnyo ne bamugoberera, n’awonya abaali abalwadde bonna, 1612:16 Mat 8:4kyokka n’abakomako baleme okumwatuukiriza. 17Ebyayogerwa Nnabbi Isaaya biryoke bituukirire nti:

1812:18 Mat 3:17“Laba Omuweereza wange, ggwe neerondera,

gwe njagala ennyo asanyusa emmeeme yange.

Ndimuteekako Omwoyo wange

era Alisalira amawanga gonna emisango.

19Taliyomba so talireekaana,

era tewaliba n’omu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo.

20Talimenya lumuli lunafu,

wadde okuzikiriza

olutambi lw’ettaala olunyooka.

2112:21 Is 42:1-4Era abamawanga baliba n’essuubi mu linnya lye.”

Yesu ne Beeruzebuli

2212:22 Mat 4:24; 9:32-33Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe w’amaaso era nga tayogera. N’amuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera n’asobola okwogera n’okulaba. 2312:23 Mat 9:27Abantu bonna ne beewuunya ne boogera nti, “Ddala ddala ono si mwana wa Dawudi?”

2412:24 a Mak 3:22 b Mat 9:34Naye Abafalisaayo bwe baakiwulira ne boogera nti, “Ono agoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni.”

2512:25 Mat 9:4Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Obwakabaka bwe bwawukanamu, oba ekibuga wadde amaka, tebiyinza kuyimirira. 2612:26 Mat 4:10Ne Setaani bw’agoba Setaani munne ku muntu aba yeyawuddemu. Obwakabaka bwe bunaayimirira butya? 2712:27 Bik 19:13Obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, kale batabani bammwe babagoba ku bw’ani? Noolwekyo be bali basalira omusango. 28Naye bwe mba ngoba baddayimooni n’amaanyi g’Omwoyo wa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.

29“Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y’omuntu ow’amaanyi, n’amunyagako ebintu bye okuggyako ng’asooka okusiba ow’amaanyi oyo? Olwo n’alyoka anyaga ebintu bye.

3012:30 Mak 9:40; Luk 11:23“Oyo atali nange, mulabe wange. N’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya. 3112:31 Mak 3:28, 29; Luk 12:10Noolwekyo mbategeereza ddala nti omuntu alisonyiyibwa buli kibi kyonna, na buli kuvvoola. Naye alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa. 3212:32 a Tit 2:12 b Mak 10:30; Luk 20:34, 35; Bef 1:21; Beb 6:5Na buli muntu ayogera ekigambo ekibi ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye ayogera ekibi ku Mwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa mu mulembe guno wadde ogugenda okujja.

3312:33 Mat 7:16, 17; Luk 6:43, 44“Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Omuti bw’ogulabirira gubala ebibala ebirungi, naye bw’ogulagajjalira tegubala bibala. 3412:34 a Mat 3:7; 23:33 b Mat 15:18; Luk 6:45Mmwe abaana b’embalasaasa, mmwe abalina ebibi muyinza mutya okwogera ebirungi? Akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima. 35Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu tterekero lye eddungi, era n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu tterekero lye ebbi. 36Era mbategeeza nti buli kigambo kyonna ekitasaana abantu kye boogera, kiribabuuzibwa ku lunaku olw’okusalirako emisango. 37Bwe bityo ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu era ebigambo byo bye birikusalizisa omusango.”

Akabonero ka Nnabbi Yona

3812:38 Mat 16:1; Mak 8:11, 12; Luk 11:16; Yk 2:18; 6:30; 1Ko 1:22Awo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza twagala otulage akabonero.”

3912:39 Mat 16:4; Luk 11:29Naye n’abaddamu nti, “Omulembe omwonoonefu era omwenzi ogunoonya akabonero; temugenda kuweebwa kabonero okuggyako aka nnabbi Yona. 4012:40 a Yon 1:17 b Mat 8:20 c Mat 16:21Kubanga Yona nga bwe yamala mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene ennaku ssatu emisana n’ekiro, n’Omwana w’Omuntu bw’atyo bw’alimala mu ttaka ennaku ssatu emisana n’ekiro. 4112:41 a Yon 1:2 b Yon 3:5Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona. Naye laba asinga Yona ali wano. 4212:42 1Bk 10:1; 2By 9:1Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani. Naye laba asinga Sulemaani ali wano.

43“Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwumulirako, ne gutafuna wa kuwummulira. 44Kyeguva gugamba nti, ‘Leka nzireyo mu nnyumba mwe nava.’ Bwe guddayo gusanga nkalu, nga eyereddwa era nga ntegeke. 4512:45 2Pe 2:20Kyeguva gugenda ne guleeta emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingira mu nnyumba omwo ne gibeera omwo. Olwo omuntu oyo n’abeera bubi nnyo okusinga bwe yali okusooka. Bwe kityo bwe kiriba n’omulembe guno omwonoonefu.”

Yesu ne Baganda be ne Nnyina

4612:46 a Mat 1:18; 2:11, 13, 14, 20; Luk 1:43; 2:33, 34, 48, 51; Yk 2:1, 5; 19:25, 26 b Mat 13:55; Yk 2:12; 7:3, 5; Bik 1:14; 1Ko 9:5; Bag 1:19Yesu bwe yali akyayogera n’ekibiina, nnyina ne baganda be ne batuuka ne bayimirira ebweru nga baagala okwogera naye. 47Omuntu omu n’amutegeeza nti, “Nnyoko ne baganda bo, bali wabweru baagala kwogera nawe.”

48Yesu n’amuddamu nti, “Mmange ye ani era ne baganda bange be baani?” 49N’agolola omukono gwe eri abayigirizwa be n’agamba nti, “Mulabe mmange ne baganda bange! 5012:50 Yk 15:14Kubanga buli akola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”

Korean Living Bible

마태복음 12:1-50

안식일의 주인

1어느 안식일에 예수님이 밀밭 사이로 지나가실 때 제자들이 배가 고파 밀 이삭을 잘라 먹었다.

2이것을 본 바리새파 사람들이 예수님께 “보십시오. 당신의 제자들이 안식일에 해서는 안 될 일을 하고 있습니다” 하고 말하였다.

3그래서 예수님은 그들에게 이렇게 대답하셨다. “너희는 다윗이 자기 일행과 함께 배가 고팠을 때 한 일을 읽어 보지 못했느냐?

4다윗이 하나님의 집에 들어가 제사장만이 먹을 수 있는 12:4 또는 ‘진설병’차림빵을 그의 일행과 함께 먹지 않았느냐?

5또 안식일에 제사장이 성전 안에서 안식일 규정을 어겨도 죄가 되지 않는다는 것을 율법에서 읽지 못하였느냐?

6그러나 나는 너희에게 말한다. 그 성전보다 더 큰 이가 여기 있다.

712:7 호6:6‘내가 자비를 원하고 제사를 원치 않는다’ 는 말씀이 무슨 뜻인지 알았더라면 너희가 죄 없는 사람을 죄인으로 단정하지는 않았을 것이다.

812:8 원문에는 ‘인자’ (사람의 아들)나는 바로 안식일의 주인이다.”

9예수님이 그 곳을 떠나 회당에 들어가셨을 때

10거기에 한쪽 손이 오그라든 사람이 있었다. 사람들은 예수님을 고발할 구실을 찾으려고 “안식일에 병을 고쳐도 좋습니까?” 하고 물었다.

11그래서 예수님은 그들에게 이렇게 말씀하셨다. “너희 중에 어떤 사람이 양 한 마리를 가졌는데 그 양이 안식일에 구덩이에 빠졌다면 끌어올리지 않겠느냐?

12사람은 양보다 더욱 귀하다. 그러므로 안식일에 선한 일을 하는 것은 옳은 일이다.”

13그러고서 예수님은 그 사람에게 “네 손을 펴라” 하고 말씀하셨다. 그래서 그가 손을 펴자 완전히 회복되어 다른 손과 같이 되었다.

14그러나 바리새파 사람들은 나가서 예수님을 없애 버리려고 의논하였다.

15예수님이 이 일을 아시고 그 곳을 떠나시자 많은 사람들이 뒤따랐다. 예수님은 모든 병자들을 고쳐 주시고

16자기에 대한 소문을 내지 못하도록 그들에게 단단히 주의시키셨다.

17이것은 예언자 이사야의 다음과 같은 예언을 이루기 위해서였다.

1812:18 사42:1-4“내가 택한 나의 종, 내가 기뻐하는 나의 사랑하는 자를 보아라. 내가 그에게 내 성령을 주겠다. 그가 12:18 또는 ‘심판을 이방에 알게 하리라’온 세상에 진리를 선포할 것이다.

19그는 다투거나 소리치지 않을 것이니 아무도 길거리에서 그의 음성을 듣지 못할 것이다.

2012:20 또는 ‘심판하여 이길 때까지’그는 진리가 승리할 때까지 상한 갈대를 꺾지 않고 꺼져가는 등불을 끄지 않으실 것이다.

21그리고 온 세상 사람들은 그의 이름에 희망을 걸 것이다.”

22그때 사람들이 귀신 들려 눈멀고 말 못하는 사람을 예수님께 데려왔다. 예수님이 그를 고쳐 주시자 눈먼 벙어리가 말도 하고 보게 되었다.

23그러자 사람들이 다 놀라 “이분이 혹시 12:23 어떤 번역본에는 ‘메시아’다윗의 후손이 아닐까?” 하고 말하였다.

24그러나 바리새파 사람들은 이 말을 듣고 “이 사람은 귀신의 왕 12:24 헬 ‘바알세불’사탄의 도움으로 귀신을 쫓아낸다” 하였다.

25예수님은 그들의 생각을 아시고 이렇게 말씀하셨다. “어느 나라든지 서로 싸워 갈라지면 망하고 그 어떤 마을이나 집안도 서로 싸워 갈라지면 오래가지 못한다.

26만일 사탄이 사탄을 쫓아내면 이미 서로 갈라져 싸우는 것이니 그렇게 하고서야 어떻게 그의 나라가 설 수 있겠느냐?

27내가 사탄의 도움으로 귀신을 쫓아낸다면 12:27 원문에는 ‘너희 아들들’너희를 따르는 사람들은 누구의 도움으로 귀신을 쫓아내느냐? 그러므로 그들이 너희 재판관이 될 것이다.

28그러나 내가 하나님의 성령으로 귀신을 쫓아낸다면 벌써 하나님의 나라가 너희에게 와 있는 것이다.

29강한 사람의 집에 들어가 물건을 털어가려고 하면 먼저 그 사람을 잡아 묶어야 한다. 그렇지 않고 어떻게 그 집을 털 수 있겠느냐?

30나와 함께하지 않는 사람은 나를 반대하는 사람이고 나와 함께 모으지 않는 사람은 흩어 버리는 사람이다.

31내가 분명히 말해 둔다. 사람에 대한 모든 죄와 모독은 용서받을 수 있으나 성령님에 대한 모독은 용서받지 못할 것이다.

32누구든지 12:32 원문에는 ‘인자’ (사람의 아들)나를 욕하는 사람은 용서받을 수 있으나 성령님을 욕하는 사람은 이 세대나 오는 세대에서도 용서받지 못할 것이다.

33“나무가 좋으면 그 열매도 좋고 나무가 나쁘면 열매도 나쁘다. 열매로 그 나무를 알 수 있다.

34독사의 자식들아! 너희가 악한데 어떻게 선한 말을 할 수 있겠느냐? 마음에 가득 찬 것을 입으로 말하기 마련이다.

35선한 사람은 마음속에 쌓인 선으로 선한 말을 하고 악한 사람은 마음속에 쌓인 악으로 악한 말을 한다.

36내가 너희에게 말한다. 사람은 함부로 지껄인 모든 말에 대해서 심판 날에 해명을 해야 한다.

37네가 한 말에 따라서 네가 무죄가 되기도 하고 유죄가 되기도 할 것이다.”

기적을 요구함

38그때 12:38 또는 ‘서기관’율법학자와 바리새파 사람 몇 명이 예수님께 와서 “선생님, 우리는 선생님이 행하시는 기적을 보고 싶습니다” 하고 말하였다.

39그러나 예수님은 그들에게 이렇게 대답하셨다. “악하고 음란한 세대가 기적을 요구하나 예언자 요나의 기적밖에는 보일 것이 없다.

40요나가 사흘 동안 큰 물고기 뱃속에 있었던 것처럼 나도 사흘 동안 땅 속에 있을 것이다.

41요나의 전도를 듣고 회개한 니느웨 사람들이 심판 때에 일어나 이 세대 사람을 죄인으로 단정할 것이다. 자, 보아라. 요나보다 더 위대한 사람이 여기 있다.

42솔로몬의 지혜를 들으려고 땅 끝에서 왔던 남방 여왕도 심판 때에 일어나 이 세대 사람을 죄인으로 단정할 것이다. 자, 보아라. 솔로몬보다 더 위대한 사람이 여기 있다.

43“더러운 귀신이 어떤 사람에게서 나와 물 없는 곳으로 다니며 쉴 곳을 찾았으나 얻지 못하였다.

44그래서 귀신이 ‘내가 나온 내 집으로 돌아가야겠다’ 하고 가 보니 그 집이 비고 깨끗이 소제되고 정돈되어 있었다.

45그 귀신이 가서 자기보다 악한 다른 귀신 일곱을 더 데리고 들어가 거기서 살자 그 사람의 나중 상태가 처음보다 더 비참하게 되었다. 이 악한 세대도 이와 같이 될 것이다.”

46예수님이 아직 군중에게 말씀하고 계실 때 예수님의 어머니와 형제들이 예수님께 드릴 말씀이 있다고 찾아왔다.

47그래서 어떤 사람이 예수님께 “선생님, 어머니와 형제분들이 선생님을 만나 뵈려고 밖에서 기다립니다” 하였다.

48그러나 예수님은 그에게 “내 어머니와 형제가 누구냐?” 하시고

49제자들을 가리키며 “보아라, 이들이 내 어머니와 형제들이다.

50누구든지 하늘에 계신 내 아버지의 뜻을 따라 사는 사람이 바로 내 형제와 자매이며 어머니이다” 하고 말씀하셨다.