Matayo 11 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Matayo 11:1-30

Yesu ne Yokaana Omubatiza

111:1 Mat 7:28Awo Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’avaayo n’agenda okubuulira n’okuyigiriza mu bibuga byabwe.

211:2 Mat 14:3Yokaana Omubatiza, eyali omusibe mu kkomera mu kiseera ekyo, bwe yawulira emirimu Kristo gye yali akola, n’amutumira abayigirizwa be. 311:3 Zab 118:26; Yk 11:27; Beb 10:37Ne babuuza Yesu nti, “Ggwe wuuyo gwe tubadde tulindirira, nantiki tulindirireyo omulala?”

4Yesu n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumugambe bye mulaba ne bye muwulira. 511:5 Is 35:4-6; 61:1; Luk 4:18, 19Abazibe b’amaaso balaba, n’abalema batambula. Abagenge balongoosebwa ne bakiggala bawulira, n’abafu bazuukizibwa n’abaavu babuulirwa Enjiri. 611:6 Mat 13:21Era mumumpeere obubaka buno nti, ‘Alina omukisa oyo atanneesittalako.’ ”

711:7 Mat 3:1Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza bwe baamala okugenda, Yesu n’ategeeza abantu ebya Yokaana nti, “Bwe mwagenda mu ddungu mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo? 8Naye kiki kye mwagenda okulaba? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambala engoye ennungi babeera mu mbiri za bakabaka. 911:9 Mat 21:26; Luk 1:76Naye mwagenda kulaba ki? Nnabbi. Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi. 1011:10 Mal 3:1; Mak 1:2Kubanga ye oyo ayogerwako mu Byawandiikibwa nti,

“ ‘Ndiweereza omubaka wange akukulembere,

alikuteekerateekera ekkubo nga tonnajja.’

11Ddala ddala mbagamba nti tewabangawo muntu eyazaalibwa omukazi asinga Yokaana Omubatiza. Naye asembayo okuba omukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu asinga Yokaana. 12Era okuva mu biro bya Yokaana Omubatiza n’okutuusa kaakano, obwakabaka obw’omu ggulu buyingirwa n’amaanyi, era abantu ab’amaanyi ennyo be babutwala. 13Kubanga amateeka gonna era n’obunnabbi byonna byayogera okutuukira ddala ku Yokaana. 1411:14 Mal 4:5; Mat 17:10-13; Mak 9:11-13; Luk 1:17; Yk 1:21Era obanga mwagala okukkiriza, ye Eriya anaatera okujja. 1511:15 Mat 13:9, 43; Mak 4:23; Luk 14:35; Kub 2:7Alina amatu agawulira, awulire.”

16“Eggwanga lino nnaaligeraageranya ku ki? Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagamba bato bannaabwe nti,

17“ ‘Twabafuuyira omulere,

ne mutazina;

ne tuyimba oluyimba olw’okukungubaga,

ne mutakungubaga.’

1811:18 a Mat 3:4 b Luk 1:15Kubanga Yokaana eyali talya wadde okunywa yajja ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni.’ 1911:19 Mat 9:11Omwana w’Omuntu, bwe yajja ng’alya era ng’anywa, ne boogera nti, ‘Wa mululu, muntu munywi, era mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi. B’abeeramu!’ So nga amagezi geeragira mu bikolwa.”

20Yesu n’anenya nnyo ebibuga mwe yakolera ebyamagero ebisinga obungi, kubanga tebeenenya. 2111:21 a Mak 6:45; Luk 9:10; Yk 12:21 b Mat 15:21; Luk 6:17; Bik 12:20 c Yon 3:5-9“Zikusanze, ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! Kubanga ebyamagero bye nakolera mu mmwe, singa nabikolera mu Ttuulo ne mu Sidoni, bandibadde beenenya dda nga bali mu bibukutu n’evvu ku mitwe gyabwe. 2211:22 nny 24; Mat 10:15Ddala ddala Ttuulo ne Sidoni biriyisibwa bulungiko okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango! 2311:23 a Mat 4:13 b Is 14:13-15Naawe Kaperunawumu, newaakubadde nga wagulumizibwa okutuuka eggulu gye likoma, naye oliserengesebwa wansi emagombe. Kubanga ebyamagero eby’ekitalo ebyakolebwa ewuwo, singa byakolerwa mu Sodomu, kyandibadde kikyaliwo ne leero. 2411:24 Mat 10:15Ddala ddala Sodomu kigenda kuyisibwa bulungiko, okusinga ggwe, ku lunaku olw’okusalirako omusango!”

Abakooye n’Abazitoowereddwa

2511:25 a Luk 22:42; Yk 11:41 b 1Ko 1:26-29Yesu n’asaba bw’ati nti, “Ayi Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, nkwebaza kubanga ebigambo byo bino eby’amazima wabikisa abo abeeyita ab’amagezi ennyo, naye n’obibikkulira abaana abato. 26Weewaawo Kitange, bw’otyo bwe wasiima.”

2711:27 a Mat 28:18 b Yk 3:35; 13:3; 17:2 c Yk 10:15“Kitange yankwasa ebintu byonna era Kitange yekka y’amanyi Omwana, nange Omwana Nze nzekka Nze mmanyi Kitange, n’abo Omwana b’aba ayagadde okulaga Kitaawe nabo bamumanyi.”

2811:28 Yk 7:37“Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. 2911:29 a Yk 13:15; Baf 2:5 b Yer 6:16Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, n’emyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo. 3011:30 1Yk 5:3Kubanga ekikoligo kyange kyangu, n’omugugu gwange teguzitowa.”