Malaki 4 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Malaki 4:1-6

Olunaku lwa Mukama

14:1 a Yo 2:31 b Is 5:24; Ob 18“Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi, n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi. 24:2 a Luk 1:78; Bef 5:14 b Is 30:26 c Is 35:6Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo. 34:3 a Yob 40:12 b Ez 28:18Era mulirinnya ku babi, kubanga baliba vvu wansi w’ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndibalokolerako,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

44:4 Zab 147:19“Mujjukire okugonderanga amateeka ga Musa omuddu wange, ebiragiro n’amateeka bye namukwasa ku Kolebu olwa Isirayiri yenna.

54:5 a Mat 11:14; Luk 1:17 b Yo 2:31“Laba, ndibatumira nnabbi Eriya, olunaku lwa Mukama olukulu olw’entiisa nga terunnatuuka, 64:6 a Luk 1:17 b Is 11:4; Kub 19:15 c Zek 5:3era alikomyawo omutima gwa bazadde eri abaana baabwe, n’omutima gw’abaana eri bazadde baabwe; nneme okukolimira ensi.”