Malaki 3 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Malaki 3:1-18

13:1 Is 40:3; Mat 11:10*; Mak 1:2*; Luk 7:27*“Laba, ntuma omubaka wange, alinkulembera era alirongoosa ekkubo nga sinnajja: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba ajja,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

23:2 a Ez 22:14; Kub 6:17 b Zek 13:9; Mat 3:10-12“Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe, era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga ali ng’omuliro gw’oyo alongoosa effeeza era nga sabbuuni ow’abayoza. 33:3 a Dan 12:10 b Is 1:25Era alituula n’atunula ng’oyo alongoosa ffeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, bakabona ba Katonda, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza bwe bisengejjebwa; balyoke baweeyo ssaddaaka mu butuukirivu. 43:4 a 2By 7:12; Zab 51:19; Mal 1:11 b 2By 7:3Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi kiryoke kisanyuse Mukama, nga mu nnaku ez’edda era nga mu myaka egyayita.

53:5 a Yer 7:9 b Lv 19:13; Yak 5:4 c Kuv 22:22“Era mu kiseera ekyo awatali kulonzalonza ndibasemberera nsale omusango. Ndiyanguwa okuwa obujulizi ku baloga ne ku benzi ne ku abo abalayira eby’obulimba, ne ku abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; abanyigiriza nnamwandu ne mulekwa, era abajoogereza munnaggwanga, abatatya Mukama,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

63:6 Kbl 23:19; Yak 1:17“Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, noolwekyo siribazikiriza. 73:7 a Yer 7:26; Bik 7:51 b Zek 1:3Okuva mu nnaku za bajjajjammwe mwakyuka ne mukyama okuva ku biragiro byange ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli era nnaabasonyiwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

“Naye mwebuuza nti, ‘Tunadda tutya?’

83:8 Nek 13:10-12“Omuntu alinyaga Katonda?

“Naye mmwe munnyaga. Kyokka mugamba nti, ‘Tukunyaga tutya?’ 

“Mu biweebwayo ne mu kimu eky’ekkumi. 9Mukolimiddwa ekikolimo ekyo, kubanga mmwe, eggwanga lyonna munnyaga nze. 103:10 a Nek 13:12 b 2Bk 7:2Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya. 11Kale ndikuuma ennimiro zammwe ne zitazikirizibwa balabe; so n’omuzabbibu gwammwe ne gutakunkumula bibala byagwo ebitannatuuka kwengera,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 123:12 a Is 61:9 b Is 62:4“Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, kino ky’ekisuubizo,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

133:13 Mal 2:17“Weewaawo ebigambo byammwe gye ndi bibadde bya bukambwe,” bw’ayogera Mukama.

“Ate nga mugamba nti, ‘Twakwogerako tutya obubi?’ 

143:14 a Zab 73:13 b Is 58:3“Mwayogera nti, ‘Eby’okuweereza Katonda tebigasa, era kigasa ki okukwata ebiragiro bye era n’okutambulira mu maaso ga Mukama ow’Eggye ng’abakungubaga? 153:15 Yer 7:10Okuva kaakano abeegulumiza tubayita ba mukisa; abakozi b’ebibi bakulaakulana era n’abo abasoomoza Katonda nabo bawona.’ ”

163:16 a Zab 34:15 b Zab 56:8Abo abatya Mukama bayogeragana bokka ne bokka, Mukama n’abawulira. Ekitabo eky’okujjukira abatya Mukama ne balowooza ku linnya lye, ne kiwandiikibwa ng’alaba.

173:17 a Ma 7:6 b Zab 103:13; Is 26:20“Kale baliba bange,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “ku lunaku lwe ndibakyusizaako okuba ekintu kyange eky’omuwendo; era ndibasonyiwa ng’omuzadde bw’asonyiwa mutabani we amuweereza. 183:18 Lub 18:25Omulundi omulala mulyawula omutuukirivu n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.”