Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Malaki 1

1Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Malaki abutuuse eri abaana ba Isirayiri.

Okwagala kwa Mukama eri Isirayiri

“Nabaagala,” bw’ayogera Mukama.

“Naye mmwe ne mumbuuza nti, ‘Watwagala otya?’ 

“Esawu teyali muganda wa Yakobo?” bw’ayogera Mukama: “naye nze Yakobo gwe nayagala. Esawu namukyawa ne nfuula ensi ye ey’ensozi okuba amatongo, obusika bwe ne mbuwa ebibe eby’omu ddungu.”

Singa Edomu, ekika ekyava mu Esawu kigamba nti, “Wadde tukubiddwa wansi naye tulidda ne tuzimba ebyagwa.”

Mukama ow’Eggye ayogera nti, “Bo balizimba, naye nze ndibimenya; era abantu banaabayitanga, ensi embi, era nti abantu Mukama be yanyiigira ennaku zonna. Era amaaso gammwe galiraba ne mwogera nti, ‘Mukama agulumizibwe okusukka ensalo ya Isirayiri.’

Ekibi kya Bakabona

“Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n’omuddu atya mukama we. Kale obanga ddala ndi kitammwe, ekitiibwa kye munzisaamu kiri ludda wa? Era obanga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Mukama ow’Eggye bw’abagamba mmwe nti, “Mmwe bakabona munyooma erinnya lyange.

“Ne mubuuza nti, ‘Twayonoona tutya?’ 

“Muwaayo ku kyoto kyange emmere eyonoonese.

“Kyokka ne mwebuuza nti, ‘Twakwonoona tutya?’ 

“Kubanga olujjuliro lwange mulufuula ekitagasa. Bwe muwaayo ensolo enzibe z’amaaso okuba ssaddaaka, muba temukoze kibi? Ate bwe muwaayo eziwenyera oba endwadde, ekyo si kibi? Kale nno mugezeeko okuzitonera omufuzi wammwe, anaabasanyukira? Ye anaafaayo okukutunulako?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

“Kale nno mbasaba mwegayirire Katonda, atukwatirwe ekisa, kubanga ebyo ffe twabyereetera. Nga muleese ebiweebwayo ebifaanana bityo, waliwo n’omu gw’ayinza okukkiriza?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

10 “Kale waakiri singa omu ku bakabona aggalawo enzigi muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange ogw’obwereere! Sibasanyukira n’akatono,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “so sikkirize kiweebwayo kyonna ekiva mu mikono gyammwe. 11 Kubanga okuva enjuba gy’eva okutuusa gy’egwa erinnya lyange kkulu mu baamawanga; obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, nga kuliko n’ekiweebwayo ekirongoofu, kubanga erinnya lyange kkulu mu baamawanga,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

12 “Naye mmwe bakabona muvumisa erinnya lyange mu baamawanga buli lukya nga mugamba nti kya Mukama okuwaayo emmere etesaana n’ebiweebwayo ku kyoto kyange. 13 Era mwogera nti, ‘Nga tulabye;’ ne mugiwunyako ne mwetamwa, era ne mwesooza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

“Bwe muleeta ekinyage, n’ekiwenyera, n’ekirwadde, ebyo bye biweebwayo bye mulina okuleeta, mbikkirize?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 14 “Buli mulimba yenna akolimirwe, oyo alina ennume mu kisibo kye eyeeyama okugiwaayo nga ssaddaaka eri Mukama naye n’awaayo ekintu ekiriko obulema: kubanga ndi Kabaka mukulu,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “n’erinnya lyange lya ntiisa mu baamawanga.”

New International Version - UK

Malachi 1

1A prophecy: the word of the Lord to Israel through Malachi.[a]

Israel doubts God’s love

‘I have loved you,’ says the Lord.

‘But you ask, “How have you loved us?”

‘Was not Esau Jacob’s brother?’ declares the Lord. ‘Yet I have loved Jacob, but Esau I have hated, and I have turned his hill country into a wasteland and left his inheritance to the desert jackals.’

Edom may say, ‘Though we have been crushed, we will rebuild the ruins.’

But this is what the Lord Almighty says: ‘They may build, but I will demolish. They will be called the Wicked Land, a people always under the wrath of the Lord. You will see it with your own eyes and say, “Great is the Lord – even beyond the borders of Israel!”

Breaking covenant through blemished sacrifices

‘A son honours his father, and a slave his master. If I am a father, where is the honour due to me? If I am a master, where is the respect due to me?’ says the Lord Almighty.

‘It is you priests who show contempt for my name.

‘But you ask, “How have we shown contempt for your name?”

‘By offering defiled food on my altar.

‘But you ask, “How have we defiled you?”

‘By saying that the Lord’s table is contemptible. When you offer blind animals for sacrifice, is that not wrong? When you sacrifice lame or diseased animals, is that not wrong? Try offering them to your governor! Would he be pleased with you? Would he accept you?’ says the Lord Almighty.

‘Now plead with God to be gracious to us. With such offerings from your hands, will he accept you?’– says the Lord Almighty.

10 ‘Oh, that one of you would shut the temple doors, so that you would not light useless fires on my altar! I am not pleased with you,’ says the Lord Almighty, ‘and I will accept no offering from your hands. 11 My name will be great among the nations, from where the sun rises to where it sets. In every place incense and pure offerings will be brought to me, because my name will be great among the nations,’ says the Lord Almighty.

12 ‘But you profane it by saying, “The Lord’s table is defiled,” and, “Its food is contemptible.” 13 And you say, “What a burden!” and you sniff at it contemptuously,’ says the Lord Almighty.

‘When you bring injured, lame or diseased animals and offer them as sacrifices, should I accept them from your hands?’ says the Lord. 14 ‘Cursed is the cheat who has an acceptable male in his flock and vows to give it, but then sacrifices a blemished animal to the Lord. For I am a great king,’ says the Lord Almighty, ‘and my name is to be feared among the nations.

Notas al pie

  1. Malachi 1:1 Malachi means my messenger.