Makko 7 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Makko 7:1-37

Obulombolombo bw’Abayudaaya

1Awo abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka abamu abaali bavudde e Yerusaalemi ne bakuŋŋaanira awali Yesu. 27:2 Bik 10:14, 28; 11:8; Bar 14:14Ne balaba abamu ku bayigirizwa be nga balya tebanaabye mu ngalo. 37:3 nny 5, 8, 9, 13; Luk 11:38Kubanga Abafalisaayo n’Abayudaaya bonna tebaalyanga nga tebasoose kunaaba mu ngalo n’obwegendereza ng’empisa zaabwe bwe zaali. 47:4 Mat 23:25; Luk 11:39Era bwe baddanga eka nga bava mu katale, ekyo kye baasookanga okukola nga tebannaba kukwata ku kyakulya kyonna. Waliwo n’obulombolombo obulala bwe baagobereranga ng’okulongoosa ensuwa zaabwe, n’ebikopo, n’ebbinika n’essowaani, n’ebirala bingi.

57:5 nny 3; Bag 1:14; Bak 2:8Awo Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne babuuza Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera mpisa za bajjajjaffe ez’edda? Kubanga balya nga tebanaabye mu ngalo.”

6Yesu n’abaddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Nnabbi Isaaya yaboogerako bulungi ebyobunnabbi bwe yagamba nti,

“ ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa,

naye emitima gyabwe tegindiiko.

77:7 Is 29:13Okusinza kwabwe tekuliimu nsa;

kubanga bayigiriza bulombolombo bwabwe.’

87:8 nny 3Muleka ebiragiro ebiva eri Katonda ne mugoberera obulombolombo bw’abantu.”

97:9 nny 3N’abagamba nate nti, “Munyooma ekiragiro kya Katonda, ne muggumiza obulombolombo bwammwe. 107:10 a Kuv 20:12; Ma 5:16 b Kuv 21:17; Lv 20:9Musa yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ Era n’agamba nti, ‘Omuntu yenna ayogera obubi ku kitaawe oba nnyina anattibwanga.’ 117:11 Mat 23:16, 18Naye mmwe mugamba nti kituufu omuntu okulagajjalira bakadde be nga bali mu kwetaaga n’abagamba bugambi nti, ‘Mmunsonyiwe, kubanga kye nandibawadde ye Korubaani7:11 Korubaani kitegeeza ekintu ekyawuddwako okuweebwa Katonda. Korubaani kyakozesebwanga mu mateeka ga Musa okukubiriza abaana okufaayo ku bazadde baabwe, ate n’abayigiriza b’amateeka baakozesanga ekirayiro kya Korubaani okufuga abagoberezi baabwe.’ ” 12“Omuntu temumukkiriza kubeerako ky’akolera kitaawe oba nnyina. 137:13 a Beb 4:12 b nny 3Bwe mutyo munyooma ekigambo kya Katonda mulyoke mutuukirize obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa. N’ebirala bingi ebiri ng’ebyo bye mukola.”

Ebyonoona Omuntu

14Awo Yesu n’ayita ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Mmwe mwenna, mumpulirize, era mutegeere. 15Ebintu ebiyingira mu muntu si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe bye bizoonoona. 16(Omuntu alina amatu agawulira awulirize.)”

177:17 Mak 9:28Yesu n’aviira ekibiina n’ayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu g’ebigambo bye yayogera. 18N’abaddamu nti, “Nammwe temutegedde? Temutegeera nti buli kintu ekiyingira mu muntu si kye kimwonoona? 197:19 a Bar 14:1-12; Bak 2:16; 1Ti 4:3-5 b Bik 10:15Olw’okuba nga tekiyingira mu mutima gwe naye kiyingira mu lubuto lwe ne kiryoka kigenda mu kabuyonjo.” Mu kwogera atyo Yesu yakakasa nga buli kyakulya bwe kiri ekirongoofu.

20Era n’ayongerako na bino nti, “Ebirowoozo by’omuntu bye bimwonoona. 21Kubanga mu mutima gw’omuntu mwe muva ebirowoozo ebibi eby’obukaba, n’obubbi, n’obutemu, n’obwenzi, 227:22 Mat 20:15n’okwegomba, n’omutima omubi, n’obukuusa, n’obumenyi bw’amateeka, n’obuggya, n’okusekeeterera, n’obusirusiru. 23Ebibi bino byonna biva munda mu muntu ne bimwonoona.”

Okukkiriza kw’Omukazi Omusulofoyiniiki

247:24 Mat 11:21Awo Yesu n’alaga mu bitundu by’e Ttuulo, n’atayagala kitegeerekeke nti ali mu bitundu ebyo, naye ne kitasoboka. 257:25 Mat 4:24Omukazi eyalina muwala we ng’aliko omwoyo omubi, olwawulira nga Yesu yaakatuuka, n’ajja eri Yesu, n’agwa ku bigere bye. 26Omukazi teyali Muyudaaya, yali Musulofoyiniiki, n’amwegayirira agobe dayimooni ku mwana we.

27Yesu n’agamba omukazi nti, “Omwana asaana asoke akkute, kubanga tekiba kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”

28Naye omukazi n’amuddamu nti, “Ekyo bwe kiri, ssebo, naye era n’embwa ezibeera wansi mu mmeeza, ziweebwa ku bukunkumuka obuva ku ssowaani z’abaana.”

29Yesu n’amugamba nti, “Olw’ekigambo ekyo, weddireyo eka, kubanga dayimooni avudde ku muwala wo.”

30Omukazi bwe yaddayo eka yasanga muwala we agalamidde awo ku kitanda, nga muteefu era nga dayimooni amuvuddeko.

317:31 a nny 24; Mat 11:21 b Mat 4:18 c Mat 4:25; Mak 5:20Yesu bwe yava mu Ttuulo n’agenda e Sidoni, eyo gye yava n’addayo ku nnyanja ey’e Ggaliraaya ng’ayitira mu “Bibuga Ekkumi” (Dekapoli). 327:32 a Mat 9:32; Luk 11:14 b Mak 5:23Awo ne bamuleetera omusajja omuggavu w’amatu ate nga tayogera, abantu bonna ne beegayirira Yesu amusseeko emikono gye amuwonye.

337:33 Mak 8:23Yesu n’aggya omusajja mu bantu n’amulaza wabbali, n’assa engalo ze mu matu g’omusajja; n’awanda amalusu, n’agasiiga n’olunwe lwe ku lulimi lw’omusajja. 347:34 a Mak 6:41; Yk 11:41 b Mak 8:12Awo Yesu n’atunula waggulu n’assa ekikkowe, n’alyoka alagira omusajja nti, “Efasa!” ekitegeeza nti, “Gguka.” 357:35 Is 35:5, 6Amangwago amatu g’omusajja ne gagguka n’awulira buli kintu era n’ayogera bulungi!

367:36 Mat 8:4Yesu n’akuutira ekibiina baleme kutegeezaako balala ku bigambo ebyo okubisaasaanya, naye bo ne beeyongera okutegeeza. 37Kye yakola kyali kibayitiriddeko. Ne boogera nga batenda Yesu nti, “Buli ky’akola kya kyewuunyo, aggula n’amatu ga bakiggala n’ayogeza ne bakasiru!”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

马可福音 7:1-37

传统与诫命

1有法利赛人和一些律法教师从耶路撒冷来见耶稣。 2他们看到祂的门徒有些吃饭前没有照礼仪洗手。 3因为法利赛人和所有的犹太人都拘守祖先的传统,总是先照礼仪洗手之后才吃饭; 4从市场回来也要先洁净自己,然后才吃饭。他们还拘守许多其他规矩,如洗杯、罐、铜器等。

5他们质问耶稣:“为什么你的门徒违背祖先的传统,竟用不洁净的手吃饭呢?”

6耶稣回答说:“以赛亚先知针对你们这些伪君子所说的预言一点不错,正如圣经上说,

“‘这些人嘴上尊崇我,

心却远离我。

7他们的教导无非是人的规条,

他们敬拜我也是枉然。’

8你们只知拘守人的传统,却无视上帝的诫命。” 9耶稣又对他们说:“你们为了拘守自己的传统,竟巧妙地废除了上帝的诫命。 10摩西说,‘要孝敬父母’,又说,‘咒骂父母的,必被处死。’ 11你们却认为人若对父母说,‘我把供养你们的钱财已经全部奉献给上帝了’, 12他就可以不奉养父母。 13你们就是这样为了拘守传统而废除上帝的道,类似的情形还有很多。”

内心的污秽

14耶稣又召集众人,教导他们说:“我的话,你们要听明白, 15从外面进去的不会使人污秽,只有从人里面发出来的才会使人污秽。 16有耳可听的,都应当听!”

17耶稣离开众人,进了屋子,门徒问祂这比喻的意思。 18耶稣说:“你们也不明白吗?你们不知道吗?从外面进去的,不会使人污秽, 19因为不能进入他的心,只能进他的肠胃,最后会排出来,也就是说所有的食物都是洁净的。 20从人里面发出来的才使人污秽, 21因为从里面,就是从人的心里能够生出恶念、苟合、偷盗、谋杀、 22通奸、贪婪、邪恶、诡诈、放荡、嫉妒、毁谤、骄傲、狂妄。 23这一切恶事都是从里面生出来的,能使人污秽。”

外族妇人的信心

24耶稣从那里启程去泰尔西顿地区。祂进了一户人家,原本不想让人知道,却无法避开人们的注意。 25-26当时有一个妇人的小女儿被污鬼附身,她听见耶稣的事,就来俯伏在祂脚前,恳求祂赶出她女儿身上的鬼。这妇人是希腊人,来自叙利亚腓尼基

27耶稣对她说:“要先让儿女们吃饱,因为把儿女的食物丢给狗吃不合适。”

28妇人说:“主啊,你说的对,但桌子下的狗也吃孩子们掉下来的碎渣呀!”

29耶稣说:“因为你这句话,你回去吧,鬼已经离开你的女儿了。”

30她回到家里,见女儿躺在床上,鬼已经离开了。

医治聋哑的人

31耶稣离开泰尔地区,经过西顿,来到低加坡里地区的加利利湖。 32有人带着一个又聋又哑的人来见耶稣,恳求祂把手按在这个人身上。 33耶稣就带他离开众人走到一边,用指头伸进他的耳朵,又吐唾沫抹他的舌头, 34望天长叹,对他说:“以法大!”意思是“开了吧!” 35他的耳朵立刻开了,舌头灵活了,说话也清楚了。 36耶稣吩咐他们不要将这事告诉人。可是耶稣越是这样吩咐,他们越是极力宣扬, 37听见的人都十分惊奇,说:“祂做的事好极了,甚至叫聋子听见,哑巴说话!”