Makko 4 – LCB & HHH

Luganda Contemporary Bible

Makko 4:1-41

Olugero lw’Omusizi

14:1 Mak 2:13; 3:7Ate era n’atandika okuyigiriza ku lubalama lw’ennyanja. Ekibiina ky’abantu kinene nnyo ne bakuŋŋaana okumwetooloola. Kyeyava alinnya mu lyato n’ayigiriza ng’atudde omwo. 24:2 nny 11; Mak 3:23Yabayigirizanga ebintu bingi mu ngero. N’abayigiriza ng’agamba nti, 34:3 nny 26“Muwulirize. Waaliwo omulimi eyafuluma okusiga ensigo. 4Bwe yali ng’azimansa ng’asiga mu nnimiro, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo ennyonyi ne zijja ne zizirya. 5N’endala ne zigwa ku ttaka ery’ekyaziyazi awatali ttaka lingi, ezo ne zimera mangu kubanga tezaali mu ttaka gwanvu. 6Awo omusana bwe gwayaka ne zikalirawo, kubanga emirandira gyali kungulu. 7Endala ne zigwa mu maggwa. Awo ensigo ne zikula kyokka amaggwa ne gazitta ne zitabala bibala. 84:8 Yk 15:5; Bak 1:6Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ezo ne zibala ebibala, ezimu emirundi amakumi asatu, endala emirundi nkaaga, n’endala kikumi.”

94:9 nny 23; Mat 11:15N’abagamba nti, “Oyo alina amatu agawulira awulire.”

10Awo bwe yasigala yekka, abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abantu abalala, ne bamubuuza amakulu g’engero ezo ze yabagerera. 114:11 a Mat 3:2 b 1Ko 5:12, 13; Bak 4:5; 1Bs 4:12; 1Ti 3:7Yesu n’abagamba nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ekyama ekifa ku bwakabaka bwa Katonda ekyakisibwa abantu abalala abali ebweru waabwo.”

124:12 Is 6:9, 10; Mat 13:13-15“Balaba bulabi naye nga tebeetegereza,

era n’okuwulira bawulira naye tebategeera,

si kulwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.”

13“Kale obanga temutegedde makulu ga lugero luno olwangu bwe luti mulitegeera mutya endala ze ŋŋenda okweyambisa nga njigiriza? 144:14 Mak 16:20; Luk 1:2; Bik 4:31; 8:4; 16:6; 17:11; Baf 1:14Omusizi asiga ekigambo y’asiga. 154:15 Mat 4:10Ate ensigo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo, be bawulira ekigambo, amangwago Setaani n’ajja n’akibatwalako. 16Ate ensigo ezaagwa ku byaziyazi, gy’emitima gy’abantu abawulira ekigambo amangwago ne bakyaniriza n’essanyu. 17Naye tebalina mirandira, babeera bulungi okusooka, naye olutuukibwako ebizibu oba okuyigganyizibwa olw’ekigambo amangwago babivaako. 18Ate endala ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, 194:19 Mat 19:23; 1Ti 6:9, 10, 17; 1Yk 2:15-17naye okweraliikirira n’okusikirizibwa eby’obugagga n’okwegomba ebintu ebirala, bizikiriza ekigambo ne kitabala bibala. 20Ettaka eddungi gy’emitima gy’abantu abawulira ekigambo ne bakkiririza ddala era ne bavaamu ebibala, emirundi amakumi asatu, abalala emirundi nkaaga, n’abalala kikumi.”

214:21 Mat 5:15Awo Yesu n’ababuuza nti, “Waliwo omuntu akoleeza ettaala n’agivuunikako ekibbo oba n’agiteeka wansi w’ekitanda? Naye omuntu bw’akoleeza ettaala tagiteeka ku kikondo waggulu? 224:22 Yer 16:17; Mat 10:26; Luk 8:17; 12:2Kubanga buli kintu kyonna ekikolebwa mu kyama kaakano, ekiseera kirituuka ne kiragibwa mu lwatu. 234:23 nny 9; Mat 11:15Alina amatu agawulira awulire. 244:24 Mat 7:2; Luk 6:38Naye mwegendereze ebyo bye mbayigiriza. 254:25 Mat 13:12; 25:29Alina aliweebwa na buli atalina aliggyibwako n’ebyo by’alina.”

Olugero lw’Ensigo Ekula

264:26 Mat 13:24Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa n’omusizi asiga ensigo mu ttaka. 27Ekiro yeebaka, n’emisana ne yeekolera by’ayagala, mu kiseera ekyo kyonna ensigo ziba zimera, naye ate nga takimanyi. 28Ku bwalyo ettaka lireeta ekibala. Ensigo zisooka kusindika bulimi bwazo okuva mu ttaka, amatabi ne gajjako ebirimba by’eŋŋaano. 294:29 Kub 14:15Eŋŋaano bw’eyengera omusizi ayanguwa mangu n’akwata akayuuyo, kubanga amakungula gatuuse.”

304:30 Mat 13:24Awo Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tunaabugeraageranya na ki? Oba tukozese lugero ki okubunnyonnyola? 31Bufaananyizibwa n’akasigo aka kaladaali! Kubanga newaakubadde katono nnyo okusinga ensigo zonna ez’oku nsi, 32naye kavaamu omuti omunene nga gulina amatabi amanene, ennyonyi ez’omu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.”

334:33 Yk 16:12Yesu n’abuulira abantu ekigambo kya Katonda ng’akozesa engero nnyingi ezifaanana ng’ezo, nga bwe baasobolanga okuwulira. 344:34 Yk 16:25Yesu bwe yabanga ayigiriza ebibiina yakozesanga engero, naye bwe yaddanga ebbali n’abayigirizwa be n’abannyonnyola amakulu agali mu ngero ezo.

Yesu Akkakkanya Omuyaga

35Ku lunaku olwo obudde nga buwungedde Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuwunguke tulage emitala.” 364:36 nny 1; Mak 3:9; 5:2, 21; 6:32, 45N’aleka awo ekibiina, abayigirizwa be ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye. Abantu abamu ne babagobera mu maato agaabwe. 37Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta n’amayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi. 38Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?”

39N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’agamba ennyanja nti, “Tteeka, sirika.” Omuyaga ne gusirika n’ennyanja n’eteekera ddala.

404:40 Mat 14:31; Mak 16:14N’ababuuza nti, “Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?”

41Ne batya nnyo, ne beebuuza nti, “Ono ye ani, embuyaga n’ennyanja gwe bigondera?”

Habrit Hakhadasha/Haderekh

הבשורה על-פי מרקוס 4:1-41

1פעם אחרת, כשלימד ישוע על החוף, התאסף סביבו קהל עצום; האנשים נדחפו ונדחקו עד כי לא היה לו מקום לעמוד. ישוע התיישב בסירה שהכינו לו תלמידיו, וכל האנשים נשארו על החוף. 2בדרך כלל הוא לימד את הקהל בסיפורים ובמשלים, והנה אחד מהם: 3”שימו לב! איכר אחד יצא לזרוע. כשפיזר את הזרעים בשדה 4נפלו חלקם על השביל בצד הדרך, והציפורים באו וניקרו אותם. 5‏-6חלקם נפלו על אדמת סלעים ומיד הצמיחו נבטים יפים, אולם כעבור זמן קצר נבלו ומתו, מפני שלא יכלו להכות שורשים עמוקים. 7חלקם נפלו בין קוצים, ואלה חנקו את הצמחים הרכים. 8אולם חלק אחר מהזרעים נפל על אדמה טובה, ונשא פרי מבורך ורב פי שלושים, פי שישים ואפילו פי מאה. 9מי שמסוגל לשמוע, שיקשיב!“

10כשנשאר ישוע לבדו עם השנים־עשר ושאר התלמידים, הם שאלו אותו: ”רבי, למה התכוונת במשל?“

11‏-12”לכם מותר לדעת את סוד מלכות האלוהים,“ ענה להם ישוע, ”אך אלה שמחוץ למלכות האלוהים שומעים רק משלים. למרות שהם רואים ושומעים, הם אינם מבינים ואינם מאמינים באלוהים, ועל כן אין להם סליחת חטאים. 13אבל אם אינכם מבינים את המשל הפשוט הזה, כיצד תבינו את שאר המשלים שאני עומד לספר?

14”האיכר במשל הוא כל אדם שמספר לאחרים את בשורת אלוהים, שכן הוא מנסה לזרוע בלבם את דבר־אלוהים. 15השביל בצד מסמל את לב האנשים השומעים את דבר אלוהים, אך מיד בא השטן ומנסה להשכיח מלבם את אשר שמעו. 16אדמת הסלעים מסמלת את לבם של אלה השומעים את הבשורה ומקבלים אותה בהתלהבות ובשמחה, 17אך אינם מעמיקים ואינם מתבססים באמונתם. לכן ברגע שצצים קשיים ראשונים הם אינם מחזיקים מעמד.

18”אדמת הקוצים מסמלת את לבם של אלה השומעים את דבר אלוהים ומאמינים בו, 19אולם תוך זמן קצר תענוגות העולם והרדיפה אחר עושר והצלחה תופסים את המקום החשוב בלבם, ודוחקים הצידה את דבר אלוהים. משום כך לא רואים שום פרי בחייהם.

20”ואילו האדמה הטובה מסמלת את לבם של אלה המאמינים באמת בדבר־אלוהים, והפרי המבורך בחייהם רב, פי שלושים, פי שישים ואפילו פי מאה ממה שנזרע בלבם.“

21ישוע המשיך ואמר: ”כשאדם מדליק נר בחשכה, האם הוא מחביא את הנר הדולק מתחת למיטה, כדי שאיש לא יראה את האור? תפקיד הנר להאיר, ולכן שמים אותו במקום מרכזי – במקום שבו יביא תועלת רבה ביותר.

22”כל הנסתר עתה ייגלה בבוא העת. 23מי שאוזניים לו, שיקשיב!

24”קיימו באופן מעשי את מה שאתם שומעים. כפי שאתם מתנהגים עם אחרים כך יתנהגו איתכם. 25מי שיש לו – יינתן לו עוד; ומי שאין לו – גם המעט שבידו יילקח ממנו.“

26ישוע סיפר להם משל נוסף על מלכות אלוהים: ”איכר אחד זרע זרעים בשדה שלו, 27ולאחר שסיים את הזריעה הלך לדרכו. כעבור זמן מה צמחו הזרעים וגדלו ללא עזרת האיכר; 28האדמה הצמיחה בעצמה את הזרעים. תחילה צמח עלה ראשון, אחריו הגבעול וראש השיבולת, ולבסוף הבשילו הגרגרים. 29אז בא האיכר וקצר את התבואה.“

30”כיצד אוכל לתאר את מלכות אלוהים?“ שאל ישוע. ”למה אפשר לדמות את מלכות אלוהים? 31‏-32מלכות אלוהים דומה לגרגר זעיר של צמח החרדל. אף כי גרגר זה זעיר ביותר, הוא גדל להיות אחד הצמחים הגדולים ביותר, בעל ענפים ארוכים וחסונים, וציפורים שונות יכולות לבנות בצילו קן ומחסה.“ 33ישוע סיפר להם משלים רבים על דבר־אלוהים, לפי יכולת הבנתם. 34למעשה הוא לימד את הציבור רק במשלים, וכאשר נשאר עם התלמידים לבדם נהג לבאר להם אותם.

35לפנות ערב אמר ישוע לתלמידיו: ”הבה נעבור לגדה השנייה של הכינרת.“ 36הם עזבו את הקהל מאחוריהם והתרחקו מהמקום בסירה שבה ישב ישוע, אך הסירות האחרות שטו בעקבותיהם. 37לפתע פרצה סערה גדולה; גלים חזקים וגבוהים הכו בסירה ומילאו אותה מים עד שכמעט טבעה. 38באותו זמן ישן ישוע בשלווה בתוך הסירה. התלמידים העירו אותו בבהלה ופחד: ”רבי, קום! אנחנו עומדים לטבוע, ולך לא אכפת?“ 39ישוע קם, נזף ברוח ופקד על הים להירגע. מיד שקטה הרוח והים נרגע.

40לאחר מכן הוא פנה אל תלמידיו ושאל בתמיהה: ”מדוע נבהלתם כל־כך? עדיין אינכם מאמינים בי?“

41התלמידים נמלאו פחד ושאלו זה את זה: ”מיהו האיש הזה שאף הרוח והים נשמעים לו?“