Makko 3 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Makko 3:1-35

13:1 Mat 4:23; Mak 1:21Awo Yesu n’ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze. 23:2 a Mat 12:10 b Luk 14:1Baali balindirira okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti balyoke bamuwawaabire. 3Yesu n’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati.” 4N’abagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Okuwonya bulamu oba okubuzikiriza?” Naye ne batamuddamu. 5Yesu n’abatunuulira ng’akambuwadde era nga munakuwavu nnyo olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agolola omukono gwe, ne guwona. 63:6 a Mat 22:16; Mak 12:13 b Mat 12:14Amangwago Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa n’Abakerodiyaani nga bwe banaamuzikiriza.

Ebibiina Bigoberera Yesu

73:7 Mat 4:25Awo Yesu n’abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja. Ekibiina kinene ekyava mu Ggaliraaya ne mu Buyudaaya ne kimugoberera. 83:8 Mat 11:21N’abalala ne bava mu kibuga Yerusaalemi, n’abalala mu Idumaya, n’abalala ne bava emitala w’omugga Yoludaani n’okwetooloola Ttuulo ne Sidoni ne bamugoberera. Ekibiina ky’abantu bwe baawulira bye yali akola ne bajja gy’ali. 9Yesu n’agamba abayigirizwa be eryato limubeere kumpi olw’ekibiina ekinene, ekibiina kireme kumunyigiriza. 103:10 a Mat 4:23 b Mat 9:20Kubanga yawonya bangi, bangi ne baagala okumugwira bamukwateko olw’endwadde zaabwe. 113:11 Mat 4:3; Mak 1:23, 24Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” 123:12 Mat 8:4; Mak 1:24, 25, 34; Bik 16:17, 18Naye n’agikomako gireme okumwatuukiriza.

Yesu Alonda Abayigirizwa Ekkumi n’Ababiri

133:13 Mat 5:1Awo Yesu n’alinnya ku lusozi, n’ayita abo be yayagala, ne bajja gy’ali. 143:14 Mak 6:30N’alonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira. 153:15 Mat 10:1N’abawa n’obuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi n’ababiri be yalonda be bano:

163:16 Yk 1:42Awo n’alonda ekkumi na babiri era be bano:

Simooni, gwe yatuuma “Peetero” ne

17Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana b’Okubwatuka.”

18Andereya,

ne Firipo,

ne Battolomaayo,

ne Matayo,

ne Tomasi,

ne Yakobo, omwana wa Alufaayo

ne Saddayo,

ne Simooni, Omukananaayo,

19ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe.

Yesu ne Beeruzebuli

203:20 a nny 7 b Mak 6:31Awo Yesu n’ayingira mu nnyumba ekibiina kinene ne bakuŋŋaanira nate w’ali, ye ne be yali nabo ne batasobola kulya. 213:21 Yk 10:20; Bik 26:24Awo baganda be bwe baakiwulira ne bagenda bamuggyeyo, kubanga baalowooza nti alaluse. 223:22 a Mat 15:1 b Mat 10:25; 11:18; 12:24; Yk 7:20; 8:48, 52; 10:20 c Mat 9:34Naye abannyonnyozi b’amateeka abaava e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, era obuyinza bwe bw’akozesa okugoba baddayimooni.”

233:23 a Mak 4:2 b Mat 4:10Awo Yesu n’abayita n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, “Setaani ayinza atya okugoba Setaani? 24Obwakabaka bwe bwawukana tebuyinza kubaawo. 25N’ennyumba eyawukanye, teyinza kubeerawo. 26Ne Setaani bw’atyo bw’alwanagana yekka na yekka tayinza kubaawo. Wabula yeezikiriza yekka. 273:27 Is 49:24, 25Naye tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu w’amaanyi, okunyaga ebintu bye nga tasoose kumusiba n’alyoka anyaga ebintu bye. 28Ddala ddala mbagamba nti buli kintu kyonna omuntu ky’akola kirisonyiyibwa abaana b’abantu, ebibi n’okuvvoola kwonna kwe bavvoola. 293:29 Mat 12:31, 32; Luk 12:10Naye buli alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa, emirembe n’emirembe naye alisingibwa omusango olw’ekibi eky’emirembe n’emirembe.”

30Yayogera atyo gye bali kubanga baagamba nti, “Aliko omwoyo omubi.”

Baganda ba Yesu ne Nnyina

313:31 nny 21Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy’ali ebweru nga baagala okumulaba. Awo ne bamutumira bamuyite ajje ayogere nabo. 32Ekibiina ky’abantu kyali kimwetoolodde, ne bamugamba nti, “Nnyoko ne baganda bo ne bannyoko bali wabweru bakunoonya.”

33Naye n’abaddamu nti, “Mmange ye ani, ne baganda bange be baani?”

34Awo bwe yeetoolooza amaaso abo abaali batudde nga bamwebunguludde, n’abagamba nti, “Bano be mulaba be bammange era be baganda bange! 35Kubanga buli muntu akola Katonda by’asiima ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

马可福音 3:1-35

治好手枯的人

1耶稣又进了会堂,那里有个人一只手是萎缩的。 2当时有好些人密切地监视耶稣,看祂是否会在安息日医治这个人,好找借口控告祂。

3耶稣对那一只手萎缩的人说:“起来,站在中间。” 4然后问众人:“在安息日应该行善还是作恶?救人还是害人?”他们都不吭声。

5耶稣生气地看着四周这些人,为他们的心刚硬而感到极其难过。祂对那人说:“把手伸出来!”那人一伸手,手就立刻复原了。 6法利赛人离开后,立刻和希律党的人策划怎样除掉耶稣。

群众跟随耶稣

7耶稣和门徒退到湖边,有一大群人从加利利来跟随祂。 8还有很多人听见耶稣所做的一切,就从犹太耶路撒冷以土买约旦河东,甚至泰尔西顿一带来找祂。 9耶稣见人多,就吩咐门徒为祂预备一条小船,以免人群拥挤祂。 10因为祂医好了很多人,凡有疾病的人都想挤过来摸祂。 11每当污鬼看见祂,就俯伏在祂面前,大喊:“你是上帝的儿子!” 12耶稣却严厉地吩咐它们不要泄露祂的身份。

选立十二使徒

13耶稣上了山,把合自己心意的人召集到跟前, 14从中选出十二个人,设立他们为使徒,让他们跟随自己,并且差遣他们出去传道, 15赐他们赶鬼的权柄。

16这十二位使徒是:西门——耶稣给他取名叫彼得17西庇太的儿子雅各雅各的兄弟约翰——耶稣给他们取名叫“半尼其”,就是“雷霆之子”的意思、 18安得烈腓力巴多罗买马太多马亚勒腓的儿子雅各达太、激进党人西门19及后来出卖耶稣的加略犹大

耶稣和别西卜

20耶稣刚进家门,人群又聚集起来,以致祂和门徒连吃饭的时间也没有。 21祂的亲属听见这个消息,就出来要拉住祂,因为人们说祂疯了。

22耶路撒冷下来的律法教师说:“祂被别西卜附体。”又说:“祂是靠鬼王赶鬼。”

23耶稣叫他们来,用比喻对他们说:“撒旦怎能驱逐撒旦呢? 24一个国内部自相纷争,必然崩溃。 25一个家内部自相纷争,必然破裂。 26同样,撒旦如果与自己为敌,自相纷争,就站立不住,必然灭亡。 27没有人能进入壮汉家里抢夺他的财物,除非先把那壮汉捆绑起来,才有可能抢劫他的家。

28“我实在告诉你们,世人一切的罪和亵渎的话都可以得到赦免, 29唯有亵渎圣灵的人永远得不到赦免,他们要永远担罪。” 30耶稣这样说是因为他们诬蔑祂被污鬼附身。

谁是耶稣的亲人

31这时候,耶稣的母亲和弟兄来了,他们站在外面,托人叫耶稣。 32有许多人围坐在耶稣身边,他们告诉祂说:“看啊!你的母亲和兄弟在外面找你。”

33耶稣说:“谁是我的母亲?谁是我的弟兄?” 34然后祂望着周围坐着的人说:“看啊!我的母亲、我的弟兄在这里。 35凡遵行上帝旨意的人就是我的弟兄、姊妹和母亲。”