Makko 16 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Makko 16:1-20

116:1 Luk 23:56; Yk 19:39, 40Oluvannyuma lwa Ssabbiiti, Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo, ne bagula ebyakaloosa eby’okusiiga omulambo gwa Yesu. 2Mu makya nnyo ku lunaku olusooka olwa wiiki ng’enjuba yaakavaayo, ne bagenda nabyo ku ntaana. 316:3 Mak 15:46Awo ne bagenda nga bwe beebuuzaganya gye banaggya omuntu anaabayiringisiza ejjinja eddene lityo okuliggya ku mulyango gw’entaana.

4Naye bwe baatuukawo, ne balaba ng’ejjinja lyayiringisiddwa. Ejjinja lyali ddene nnyo. 516:5 Yk 20:12Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omusajja omuvubuka, ng’ayambadde engoye enjeru, ng’atudde ku ludda olwa ddyo! Ne bawuniikirira nnyo!

616:6 Mak 1:24Naye n’abagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa. 716:7 a Yk 21:1-23 b Mak 14:28Kale mugende mutegeeze abayigirizwa be, ne Peetero, ebigambo bino nti, ‘Yesu abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ”

8Awo abakazi abo ne badduka emisinde mingi okuva ku ntaana, nga batidde nnyo, nga bwe bakankana, ne batabaako n’omu gwe bategeeza olw’okutya.

Yesu Alabikira Maliyamu Magudaleene

916:9 Yk 20:11-18Ku lunaku olusooka olwa wiiki, Yesu kwe yazuukirira, n’asooka okulabikira Maliyamu Magudaleene, omukazi gwe yagobako baddayimooni omusanvu. 10Maliyamu n’agenda eri abayigirizwa, n’abasanga nga bakaaba era nga bakungubaga. 1116:11 nny 13, 14; Luk 24:11N’ababuulira nti Yesu amulabyeko era mulamu! Naye ne batamukkiriza!

Yesu Alabikira Abayigirizwa Ababiri

1216:12 Luk 24:13-32Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu ng’ali mu kifaananyi kirala n’alabikira abayigirizwa babiri bwe baali nga batambula mu kkubo nga bagenda mu kyalo. 13Oluvannyuma nabo ne bagenda ne bategeeza abalala, naye nabo tebaakikkiriza.

Yesu Alabikira Abayigirizwa be Ekkumi n’Omu

1416:14 Luk 24:36-43Oluvannyuma Yesu n’alabikira abayigirizwa ekkumi n’omu bwe baali nga balya. N’abanenya olw’obutakkiriza bwabwe, n’olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe kubanga tebakkiriza abo abaali bamulabyeko ng’amaze okuzuukira.

1516:15 Mat 28:18-20; Luk 24:47, 48N’abagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna. 1616:16 Yk 3:16, 18, 36; Bik 16:31Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga. 1716:17 a Mak 9:38; Luk 10:17; Bik 5:16; 8:7; 16:18; 19:13-16 b Bik 2:4; 10:46; 19:6; 1Ko 12:10, 28, 30Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya. 1816:18 a Luk 10:19; Bik 28:3-5 b Bik 6:6Banaakwatanga ku misota, era bwe banaanywanga ekintu kyonna ekyobutwa tekiibakolengako kabi, era banasanga emikono gyabwe ku balwadde ne babawonya.”

Yesu Atwalibwa mu Ggulu

1916:19 a Luk 24:50, 51; Yk 6:62; Bik 1:9-11; 1Ti 3:16 b Zab 110:1; Bar 8:34; Bak 3:1; Beb 1:3Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n’atwalibwa mu ggulu n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 20Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama n’abeeranga nabo, n’anywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ng’abakozesanga eby’amagero.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

馬可福音 16:1-20

耶穌復活

1過了安息日,抹大拉瑪麗亞雅各的母親瑪麗亞撒羅米買了香料,要去抹耶穌的遺體。 2週日清早,太陽剛剛升起,她們就去墳墓那裡。 3途中她們彼此議論說:「誰能替我們滾開墓口那塊大石頭呢?」 4她們抬頭一看,那塊大石頭已經滾到一旁。 5她們進了墳墓,看見一位身穿潔白長袍的青年坐在右邊,嚇了一跳。 6那青年對她們說:「不要害怕,你們要找那位被釘十字架的拿撒勒人耶穌嗎?祂已經復活了,不在這裡。你們看!這是安放祂的地方。 7你們快回去,告訴祂的門徒,特別是彼得,『祂先你們一步去了加利利,你們將在那裡見到祂,正如祂以前所說的一樣。』」

8她們從墳墓出來,跑走了,戰戰兢兢,疑惑不已,什麼也沒有告訴他人,因為她們很害怕。

耶穌顯現

9耶穌在週日清晨復活後,首先向抹大拉瑪麗亞顯現,耶穌曾在她身上趕出七個鬼。 10瑪麗亞趕到門徒那裡,看見他們仍然在哭泣哀悼, 11就告訴他們耶穌已經復活了,還向她顯現過,但他們不相信。

12此後,有兩個門徒在去鄉下的路上,看到耶穌以另一種形像向他們顯現。 13他們回去告訴其他的門徒,但門徒還是不相信。

最後的使命

14後來,當十一位門徒在一起吃飯的時候,耶穌向他們顯現,責備他們又不信又固執,因為他們不肯相信那些人在祂復活後見過祂。 15耶穌又對他們說:「你們要到世界各地去,向全人類傳揚福音。 16相信並接受洗禮的人必定得救,不肯相信的人必被定罪。 17必有神蹟隨著信我的人,他們能奉我的名趕鬼,說新的方言, 18又能用手拿蛇,萬一喝了什麼毒物,也不會受害。他們把手按在病人身上,病人就可痊癒。」 19主耶穌說完這些話,就被接回天上,坐在上帝的右邊。 20門徒出去到處傳揚福音,主和他們一同工作,藉著神蹟證實他們所傳的道。