Makko 13 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Makko 13:1-37

Obubonero obw’Enkomerero

1Awo Yesu bwe yali ng’ava mu Yeekaalu omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Omuyigiriza, laba, amayinja ago, n’ebizimbe ebyo.”

213:2 Luk 19:44Yesu n’amuddamu nti, “Ebizembe ebyo eby’ekitalo obiraba? Ne bwe kiriba ki tewaliba jjinja na limu wano eririsigala ku linnaalyo.”

313:3 a Mat 21:1 b Mat 4:21Awo Yesu bwe yali ng’atudde awo ku lusozi olwa Zeyituuni, okwolekera yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama, ne bamubuuza nti, 4“Tutegeeze, ebintu byonna we birituukirira, era n’akabonero akalibaawo ng’ebyo byonna bigenda okutuukirira.”

513:5 nny 22; Yer 29:8; Bef 5:6; 2Bs 2:3, 10-12; 1Ti 4:1; 2Ti 3:13; 1Yk 4:6Yesu n’abagamba nti, “Mwekuume omuntu yenna tababuzaabuzanga. 6Bangi abalijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo,’ era balibuzaabuza bangi. 7Naye bwe muliwulira entalo, n’eŋŋambo ez’entalo, temutyanga. Kyetaaga ebyo byonna okubaawo naye enkomerero eriba tennatuuka. 8Kubanga amawanga galirwanagana, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era musisi aliyita mu bifo bingi, n’enjala nnyingi erigwa. Okulumwa ng’okw’okuzaala kuliba kutandika butandisi.”

913:9 Mat 10:17“Mwekuume mmwe. Balibawaayo mu mbuga z’amateeka ne mu makuŋŋaaniro, mulikubibwa, muliyimirira mu maaso ga bakabaka ne bagavana. Muliyimirira ku lwange, okubeera abajulirwa gye bali. 10Era Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna. 1113:11 Mat 10:19, 20; Luk 12:11, 12Bwe balibakwata ne babawaayo, temweraliikiriranga kya kuwoza. Kye munaaweebwanga okwogera mu kiseera ekyo kye munaayogeranga kubanga si mmwe muliba mwogera wabula Mwoyo Mutukuvu y’aliba ayogerera mu mmwe.”

1213:12 Mi 7:6; Mat 10:21; Luk 12:51-53“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w’omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe ne babatta. 1313:13 a Yk 15:21 b Mat 10:22Mulikyayibwa abantu bonna, olw’erinnya lyange, naye oyo aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero y’alirokolebwa.”

1413:14 Dan 9:27; 11:31; 12:11“Bwe mulabanga ekintu eky’omuzizo ekizikiriza, nga kiyimiridde mu kifo we kitasaanira (asoma bino, weetegereze) abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi. 15N’oyo alibeera waggulu ku nnyumba takkanga wadde okuyingira okubaako ky’atwala okuva mu nnyumba ye. 16N’oyo alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala bintu bye, wadde okukima yo olugoye lwe. 1713:17 Luk 23:29Naye ziribasanga abaliba embuto n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo. 18Naye musabe ekiseera ekyo kireme kuba kya butiti. 1913:19 a Mak 10:6 b Dan 9:26; 12:1; Yo 2:2Kubanga ekiseera ekyo kiriba kya kubonyaabonyezebwa okutabeerangawo kasookedde Katonda atonda eggulu n’ensi, n’okutuusa kaakano n’emirembe egigenda okujja.

20“Era singa Mukama teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandiwonyeewo muntu yenna, naye olw’abalonde be, ennaku ezo yazikendeezaako. 2113:21 Luk 17:23; 21:8Era omuntu yenna singa abagamba nti, ‘Mulabe, Kristo wuuli,’ temumukkirizanga. 2213:22 a Mat 7:15 b Yk 4:48; 2Bs 2:9, 10Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo, nga bagenderera okulimba n’abalonde ba Katonda. 2313:23 2Pe 3:17Naye mwekuume! Kubanga mbalabudde ng’ebintu bino byonna tebinnabaawo.

24“Ennaku ez’entiisa eyo nga ziweddeko,

“ ‘enjuba eriggyako ekizikiza,

era n’omwezi teguliyaka,

2513:25 Is 13:10; 34:4; Mat 24:29era, emmunyeenye zirikunkumuka,

n’aboobuyinza ab’omu bbanga balikankana.’ ”

2613:26 Dan 7:13; Mat 16:27; Kub 1:7“Olwo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira ku bire n’amaanyi mangi n’ekitiibwa kinene, 2713:27 Zek 2:6Era alituma bamalayika okukuŋŋaanya abalonde be okuva eri empewo ennya, n’okuva ensalo z’ensi gye zikoma okutuuka ensalo z’eggulu gye zikoma.”

Omutiini kye Guyigiriza

28“Muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera, nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka. 29Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo nga bibaawo, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi. 3013:30 a Luk 17:25 b Mak 9:1Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno tegugenda kuggwaako okutuusa ng’ebintu byonna bimaze okubaawo. 3113:31 Mat 5:18Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange biribeerera emirembe n’emirembe.”

Tewali Amanyi Lunaku wadde Ekiseera

3213:32 Bik 1:7; 1Bs 5:1, 2“Naye eby’olunaku olwo oba essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika mu ggulu wadde Omwana, okuggyako Kitaffe. 3313:33 1Bs 5:6Mwekuume, mutunule13:33 Ebiwandiiko ebirala bigamba mutunule era musabe kubanga temumanyi kiseera we kirituukira. 3413:34 Mat 25:14Ng’omusajja eyatambula olugendo n’ategekera abaddu be, buli omu n’amuwa obuyinza ng’omulimu gwe bwe guli, n’alagira omuggazi w’oluggi atunule alindirire.”

35“Noolwekyo mubeere beetegefu kubanga temumanyi ssemaka wakomerawo oba kawungeezi, oba mu ttumbi, oba ng’enkoko zikookolima, oba ng’obudde bukya, 36si kulwa ng’akomawo nga temumanyiridde, n’abasanga nga mwebase. 3713:37 Luk 12:35-40Kye mbagamba mmwe, kye ŋŋamba buli muntu, mwekuume.”