Makko 11 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Makko 11:1-33

Yesu Ayingira mu Yerusaalemi n’Ekitiibwa

111:1 a Mat 21:17 b Mat 21:1Awo Yesu n’abayigirizwa be, bwe baali basemberedde Besufaage ne Besaniya ebiriraanye Yerusaalemi, nga batuuse ku lusozi olwa Zeyituuni, Yesu n’atuma abayigirizwa be babiri babasooke mu maaso. 211:2 Kbl 19:2; Ma 21:3; 1Sa 6:7N’abalagira nti, “Mugende mu kyalo ekituli mu maaso, bwe munaaba mwakakituukamu mujja kulaba omwana gw’endogoyi oguteebagalwangako nga gusibiddwa awo. Mugusumulule mugundeetere wano. 3Era omuntu yenna bw’ababuuza gye mugutwala, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe y’agwetaaga, era tujja kugukomyawo mangu.’ ”

411:4 Mak 14:16Abaatumibwa ne bagenda, ne balaba omwana gw’endogoyi nga guyimiridde ku luguudo, naye nga gusibiddwa ku muguwa wabweru w’ennyumba. Bwe baali bagusumulula, 5abamu ku bantu abaali bayimiridde awo ne bababuuza nti, “Abange, omwana gw’endogoyi, musumulula gwa ki?” 6Abayigirizwa ne baddamu nga Yesu bwe yabagamba, ne balyoka babakkiriza okugutwala. 7Omwana gw’endogoyi ne baguleetera Yesu. Abayigirizwa be ne baddira ebyambalo byabwe ne babyaliira ku mugongo gwayo, Yesu n’agwebagala. 8Awo abantu bangi abaali mu kibiina ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo mwe yali agenda okuyita, abalala ne bamenya amatabi g’emiti mu nnimiro ezaali okumpi, nago ne bagaalira mu luguudo. 911:9 Zab 118:25, 26; Mat 23:39Abaali mu maaso ge n’abaali emabega we, bonna ne baleekaanira waggulu nti:

“Ozaana!”

“Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama!11:9 Eno y’emu ku Zabbuli ezayimbibwanga okujjukira Embaga ey’Okuyitako

1011:10 Luk 2:14“Atenderezebwe olw’okukomyawo obwakabaka bwa jjajjaffe Dawudi n’okubuwa omukisa!”

“Ozaana! Ayi ali waggulu ennyo!”

1111:11 Mat 21:12, 17Awo Yesu n’atuuka mu Yerusaalemi, n’ayingira mu Yeekaalu. N’atunula, ne yeetoolooza amaaso wonna, naye obudde bwali buyise, n’afuluma n’agenda e Besaniya n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri.

Yesu Akolimira Omuti Ogutabala

12Enkeera bwe baali bava e Besaniya, Yesu n’alumwa enjala. 1311:13 Luk 13:6-9N’alengera omutiini, nga guddugazza bulungi amalagala, n’agendayo alabe obanga anaasangako ebibala. Yagenda okugutuukako nga kuliko makoola meereere, kubanga si kye kyali ekiseera kyagwo okubaako ebibala. 14Awo Yesu n’agamba omuti nti, “Omuntu yenna alemenga okuddayo okulya ekibala kyo!” Abayigirizwa be ne bamuwulira ng’akyogera.

Yesu Alongoosa Yeekaalu

15Bwe baatuuka mu Yerusaalemi n’ayingira mu Yeekaalu, n’atandika okugobamu abaali batundiramu n’abaali baguliramu, n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi, n’avuunika n’entebe z’abatunzi b’amayiba. 16Era n’ataganya muntu kuyisa kintu kyonna. 1711:17 a Is 56:7 b Yer 7:11N’abayigiriza ng’agamba nti, “Tekyawandiikabwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kusabiramu amawanga?’ Naye mmwe mugifudde mpuku y’abanyazi.”

1811:18 a Mat 21:46; Mak 12:12; Luk 20:19 b Mat 7:28Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakiwulira, ne batandika okusala amagezi balabe bwe bayinza okumuzikiriza. Baali bamutya engeri ekibiina kyonna bwe kyali kyewuunya okuyigiriza kwe. 1911:19 Luk 21:37Obudde bwe bwawungeera Yesu n’abayigirizwa be ne bafuluma mu kibuga.11:19 Abalambuzi abajjanga ku mikolo egy’enjawulo mu Yerusaalemi, baali beetaaga okugula ebisolo eby’okuwaayo ku mbaga ezo ng’ebiragiro bwe byali ebyabaweebwa mu mateeka. Abasuubuzi baali bafudde oluggya Bannamawanga we baakuŋŋaaniranga mu Yeekaalu akatale, ekyali ekikyamu

Eky’okuyiga ku Mutiini Ogwakala

20Awo enkeera mu makya abayigirizwa be ne balaba omuti omutiini Yesu gwe yakolimira nga gukaze okuviira ddala ku kikolo! 2111:21 Mat 23:7Peetero n’ajjukira n’agamba Yesu nti, “Omuyigiriza, laba omutiini gwe wakolimira gukaze!”

22Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mukkiririze mu Katonda. 2311:23 Mat 21:21Ddala ddala mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ n’atabuusabuusa mu mutima gwe, naye n’aba n’okukkiriza, ky’ayogedde kirituukirira. 2411:24 Mat 7:7Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli. 2511:25 Mat 6:14Bwe mubanga mugenda okusaba musonyiwenga omuntu yenna gwe mulinako ensonga, ne Kitammwe ali mu ggulu alyoke abasonyiwe ebyonoono byammwe. 26Naye bwe mutaasonyiwenga, ne Kitammwe ali mu ggulu talibasonyiwa byonoono byammwe.”

Yesu Abuuzibwa Obuyinza gy’Abuggya

27Yesu n’abayigirizwa be bwe baakomawo mu Yerusaalemi yali atambulatambula mu Yeekaalu, bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali 28ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza bino? Era ani yakuwa obuyinza okukola bino?”

29Naye Yesu n’abaddamu nti, “Bwe munaamala okunziramu ekibuuzo kyange kimu, nange n’ababuulira eyampa obuyinza obwo! 30Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu oba kwava eri bantu? Munziremu!”

31Ne bakubaganya ebirowoozo bokka na bokka nti, “Bwe tuddamu nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’ 3211:32 Mat 11:9Naye, ate bwe tuddamu nti, ‘Kwava eri bantu.’ ” Baali batya ekibiina ky’abantu. Kubanga buli muntu yalowooza Yokaana okuba nnabbi.

33Ne baddamu Yesu nti, “Tetumanyi.”

Awo Yesu n’abaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza obunkoza ebintu ebyo gye mbuggya.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

马可福音 11:1-33

骑驴进耶路撒冷

1耶稣和门徒将近耶路撒冷,快到橄榄山附近的伯法其伯大尼两个村庄时,祂派了两个门徒, 2对他们说:“你们去前面的村庄,一进村就会看见一头从来没有人骑过的驴驹拴在那里,你们把它解开牵来。 3若有人问你们为什么这样做,就说,‘主要用它,很快会把它送回来。’” 4他们进了村子,果然看见有一头驴驹拴在街道旁一户人家的门外,就上前解开它。 5旁边站着的几个人就问他们:“你们为什么要解开这头驴驹?”

6门徒依照耶稣的吩咐回答,那些人就让他们牵走了。 7他们把驴驹牵到耶稣面前,将自己的外衣搭在驴背上,耶稣就骑了上去。 8很多人把衣服铺在路上,有人将田间的树枝砍下来铺在路上。 9大家前呼后拥,高声欢呼:

“和散那11:9 和散那”原意是“拯救我们”,此处有“赞美”的意思。

奉主名来的当受称颂!

10那将要来临的我祖大卫的国度当受称颂!

和散那归于至高之处的上帝!”

11耶稣进了耶路撒冷,来到圣殿,巡视各处。那时天色已晚,耶稣便和十二门徒出城前往伯大尼

咒诅无花果树

12第二天,他们离开伯大尼后,耶稣饿了。 13祂远远看见有一棵枝叶茂盛的无花果树,就走过去找果子吃。到了树下,却什么也找不到,只有满树的叶子,因为当时不是收无花果的季节。 14祂对那棵树说:“愿无人再吃你的果子!”祂的门徒都听见了这句话。

洁净圣殿

15他们来到耶路撒冷后,耶稣进入圣殿,赶走了里面做买卖的人,推翻了兑换钱币之人的桌子和卖鸽子之人的凳子, 16不准人抬着货物穿过圣殿。 17祂教导他们说:“圣经上不是记载‘我的殿必称为万民祷告的殿’吗?你们竟把它变成了贼窝。”

18祭司长和律法教师听到这番话后,就策划如何杀害耶稣,只是有些怕祂,因为百姓都对祂的教导感到惊奇。 19到了傍晚,耶稣和门徒去了城外。

无花果树的教训

20早上,他们又经过那棵无花果树,看见它连根都枯了。 21彼得想起昨天发生的事,就对耶稣说:“老师,你看!昨天你咒诅的无花果树已经枯了。”

22耶稣说:“要对上帝有信心。 23我实在告诉你们,不论何人,只要有信心,毫不疑惑,就是对这座山说,‘从这里挪开,投进大海里!’也必定为他成就。 24所以我告诉你们,你们祷告时无论求什么,只要相信已经得到了,就必得到。 25你们站着祷告的时候,若想起有人得罪了你们,就要饶恕他。这样,你们天上的父也会饶恕你们的过犯。 26你们如果不饶恕别人,你们天上的父也不会饶恕你们的过犯。11:26 有些古卷无此节。

质问耶稣的权柄

27他们再次回到耶路撒冷。耶稣在圣殿里行走的时候,祭司长、律法教师和长老上前质问祂: 28“你凭什么权柄做这些事?谁授权给你了?”

29耶稣说:“我也要问你们一个问题,你们回答了,我就告诉你们我凭什么权柄做这些事。 30约翰的洗礼是从天上来的还是从人来的?请回答我!”

31他们彼此议论说:“如果我们说‘是从天上来的’,祂一定会问,‘那你们为什么不信他?’ 32如果我们说‘是从人来的’,又怕触怒百姓,因为他们都相信约翰真的是先知。” 33于是,他们回答说:“我们不知道。”耶稣说:“我也不告诉你们我凭什么权柄做这些事。”