Makko 10 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Makko 10:1-52

Enteekateeka ya Katonda ku Bufumbo

110:1 a Mak 1:5; Yk 10:40; 11:7 b Mat 4:23; Mak 2:13; 4:2; 6:6, 34Awo n’agolokoka n’ava eyo n’alaga mu kitundu kya Buyudaaya okusukka emitala wa Yoludaani. Ebibiina ne bimuguberera era naye n’abayigiriza nga bwe yakolanga bulijjo.

210:2 Mak 2:16Abamu ku Bafalisaayo ne bajja ne bamubuuza balyoke bamukwase, nga babuuza nti, “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we?”

3Yesu n’addamu nti, “Musa yagamba atya ku nsonga eyo?” 410:4 Ma 24:1-4; Mat 5:31Ne bamuddamu nti, “Musa yawa omusajja olukusa okuwandiikira mukyala we ebbaluwa emugoba.”

510:5 Zab 95:8; Beb 3:15Yesu n’abagamba nti, “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, kyeyava abawandiikira etteeka lino. 610:6 Lub 1:27; 5:2Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja n’omukazi. 7Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n’agenda n’agattibwa ne mukazi we. 810:8 Lub 2:24; 1Ko 6:16Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu. 9Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga.”

10Bwe baali mu nnyumba, abayigirizwa be, ne bongera okumubuuza ku nsonga eyo. 1110:11 Mat 5:32; Luk 16:18Yesu n’abagamba nti, “Omusajja bw’agobanga mukazi we n’awasa omukazi omulala, aba ayenze. 1210:12 Bar 7:3; 1Ko 7:10, 11N’omukazi bw’ayawukananga ne bba n’afumbirwa omusajja omulala naye aba ayenze.”

Yesu Awa Abaana Omukisa

13Awo Yesu ne bamuleetera abaana abato abakwateko, naye abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta. 1410:14 Mat 25:34Kyokka Yesu bwe yabiraba n’anyiigira nnyo abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Abaana mubaleke bajje gye ndi, temubagaana kubanga abali nga bano, be bannannyini bwakabaka bwa Katonda. 1510:15 Mat 18:3Ddala ddala mbagamba nti omuntu yenna atakkiriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, tagenda kubuyingira n’akatono.” 1610:16 Mak 9:36Awo n’asitula abaana n’abassaako emikono gye, n’abawa omukisa.

1710:17 a Mak 1:40 b Luk 10:25; Bik 20:32Awo Yesu bwe yali ng’atambula, omusajja n’ajja gy’ali ng’adduka, n’amufukaamirira n’amubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, nsaanidde kukola ki okufuna obulamu obutaggwaawo?”

18Yesu n’amuddamu nti, “Ompitira ki omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka. 1910:19 Kuv 20:12-16; Ma 5:16-20Amateeka gano ogamanyi. ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ” 20N’amuddamu nti, “Omuyigiriza, ebyo byonna simenyangako na kimu okuva mu buvubuka bwange.”

2110:21 a Bik 2:45 b Mat 6:20; Luk 12:33 c Mat 4:19Yesu n’amutunuulira enkaliriza, n’amwagala. N’amugamba nti, “Waliwo ekintu kimu kyokka ekikubulako, era kye kino: genda otunde ebintu byonna by’olina, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”

22Bwe yawulira ebigambo ebyo n’anyiikaala, n’agenda ng’anakuwadde, kubanga yali mugagga nnyo.

2310:23 Zab 52:7; 62:10; 1Ti 6:9, 10, 17Yesu n’amutunuulira ng’agenda, n’alyoka akyukira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Nga kizibu nnyo abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”

2410:24 Mat 7:13, 14Kino ne kibeewuunyisa nnyo. Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Abaana abaagalwa, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 2510:25 Luk 12:16-20Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”

26Ne beewuunya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Olwo kale ani ayinza okulokolebwa!”

2710:27 Mat 19:26Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abaddamu nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka.”

2810:28 Mat 4:19Awo Peetero n’agamba Yesu nti, “Tweresa byonna ne tukugoberera.”

29Yesu n’amuddamu nti, “Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu n’omu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ng’amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka n’amayumba olw’okunjagala n’okubuulira Enjiri, 3010:30 a Mat 6:33 b Mat 12:32 c Mat 25:46ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu n’okuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo. 3110:31 Mat 19:30Naye bangi aboolubereberye baliba abooluvannyuma, n’ab’oluvannyuma baliba aboolubereberye.”

Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe

3210:32 Mak 3:16-19Awo bwe baali nga bali mu kkubo, nga bagenda e Yerusaalemi, Yesu ng’akulembeddemu, abayigirizwa be ne bamuvaako emabega nga bamugoberera naye nga bajjudde okutya n’okweraliikirira. Yesu n’abazza wa bbali, n’abannyonnyola byonna ebyali bijja okumutuukako nga batuuse mu Yerusaalemi. 3310:33 a Luk 9:51 b Mat 8:20 c Mat 27:1, 2N’ababuulira nti, “Bwe tunaatuuka eyo, Omwana w’Omuntu aliweebwayo, atwalibwe mu maaso ga bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka. Bajja kumusalira omusango ogw’okufa era balimuwaayo eri Abamawanga bamusalire ekibonerezo eky’okufa. 3410:34 a Mat 16:21 b Bik 2:23; 3:13 c Mat 16:21 d Mat 16:21Bajja kumuduulira bamuwandire n’amalusu bamukube embooko era bamutte, naye nga wayiseewo ennaku ssatu alizuukira.”

Okusaba kwa Yakobo ne Yokaana

35Awo Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo ne bajja eri Yesu ne boogera naye mpola mu kyama nti. “Omuyigiriza, waliwo ekintu kye tukusaba otukolere.”

36N’ababuuza nti, “Kiki ekyo?”

3710:37 Mat 19:28Ne bamuddamu nti, “Tusaba mu bwakabaka bwo tutuule ku ntebe eziriraanye eyiyo, omu atuule ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono?”

3810:38 a Yob 38:2 b Mat 20:22 c Luk 12:50Naye Yesu n’abaddamu nti, “Kye musaba temukitegeera! Musobola okunywa ku kikompe eky’okubonaabona kye ŋŋenda okunywako? Oba okubatizibwa mu kubonaabona nga bwe ŋŋenda okubatizibwa?”

3910:39 Bik 12:2; Kub 1:9Ne bamuddamu nti, “Tusobola.” Yesu n’abagamba nti, “Okunywa ku kikompe kyange mugenda kukinywako era mulibatizibwa ne mu kubatizibwa kwange. 40Naye sirina buyinza kubatuuza ku ntebe eziriraanye eyange. Enteekateeka eyo yamala dda okukolebwa.”

41Abayigirizwa bali ekkumi bwe baategeera Yakobo ne Yokaana kye baasaba, ne babanyiigira nnyo. 42Yesu n’abayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga, n’abakulu baabwe bakuluusanya abantu, 4310:43 Mak 9:35naye mu mmwe si bwe kiri bwe kityo. Yenna ayagala okuba omukulembeze mu mmwe, asaanira abeerenga muweereza wa banne. 44Ne buli ayagala okuba omwami mu mmwe, asaana abeere muddu wa banne bonna. 4510:45 a Mat 20:28 b Mat 20:28N’Omwana w’Omuntu, teyajja ku nsi kuweerezebwa, wabula okuweereza abalala, era n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”

Yesu Azibula Battimaayo Amaaso

46Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu Yeriko. Oluvannyuma bwe baali bava mu kibuga ekibiina kinene ne kibagoberera. Waaliwo omusajja omuzibe w’amaaso, erinnya lye Battimaayo (mutabani wa Timaayo) eyasabirizanga, eyali atudde ku mabbali g’oluguudo. 4710:47 a Mak 1:24 b Mat 9:27Awo Battimaayo bwe yategeera nga Yesu Omunnazaaleesi ajja okuyita we yali, n’atandika okuleekaana nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!”

48Abamu ku bantu abaali mu kibiina ne bamuboggolera nti, “Sirika! Totuleekaanira!” Naye ye ne yeeyongera bweyongezi okukoowoola ng’addiŋŋana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, onsaasire!”

49Yesu n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumuyite.” Ne bayita omuzibe w’amaaso nti, “Guma omwoyo, situka akuyita!” 50Battimaayo n’asuula eri ekikooti kye, n’asituka mangu n’ajja eri Yesu.

5110:51 Mat 23:7Yesu n’amubuuza nti, “Oyagala nkukolere ki?” Omuzibe w’amaaso n’addamu nti, “Ayi Omuyigiriza, njagala nsobole okulaba!”

5210:52 a Mat 9:22 b Mat 4:19Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangwago omusajja n’azibuka amaaso, n’agoberera Yesu.