Makko 1 – LCB & CRO

Luganda Contemporary Bible

Makko 1:1-45

Yokaana Omubatiza Alongoosa Ekkubo

11:1 Mat 4:3Entandikwa y’Enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.

21:2 Mal 3:1; Mat 11:10; Luk 7:27Kyawandiikibwa mu kitabo kya nnabbi Isaaya nti,

“Laba ntuma omubaka wange akukulembere,

ateeketeeke ekkubo lyo;

31:3 Is 40:3; Yk 1:23eddoboozi ly’oyo ayogelera waggulu mu ddungu nti,

‘Muteeketeeke ekkubo lya Mukama,

mutereeze amakubo ge.’ ”

41:4 a Mat 3:1 b Bik 13:24 c Luk 1:77Yokaana yajja ng’abatiriza mu ddungu, ng’abuulira okubatiza okw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi. 5Ensi yonna ey’e Buyudaaya n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi, ne bagendanga gy’ali, n’ababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe. 61:6 Lv 11:22Yokaana yayambalanga ekyambalo eky’obwoya bw’eŋŋamira, ne yeesibanga olukoba olw’eddiba mu kiwato kye, era yalyanga nzige na mubisi gwa njuki. 71:7 Bik 13:25Yabuuliranga ng’agamba nti, “Waliwo omuntu omukulu era ansinga amaanyi ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula bukoba bwa ngatto ze. 81:8 Is 44:3; Yo 2:28; Bik 1:5; 2:4; 11:16; 19:4-6Nze mbabatiza na mazzi, naye ye alibabatiza na Mwoyo Mutukuvu.”

Okubatizibwa kwa Yesu n’Okukemebwa kwe

91:9 Mat 2:23Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n’ava e Nazaaleesi mu Ggaliraaya n’ajja, Yokaana n’amubatiza mu mugga Yoludaani. 101:10 Yk 1:32Awo Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, n’alaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo ng’ali ng’ejjiba ng’amukkako. 111:11 Mat 3:17Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa, ggwe, gwe nsanyukira ennyo.” 12Amangwago Mwoyo n’amutwala mu ddungu. 131:13 Mat 4:10N’amalayo ennaku amakumi ana ng’ali n’ensolo ez’omu nsiko, ng’akemebwa Setaani, kyokka nga bamalayika bamuweereza.

Yesu Ayita Abayigirizwa Abaasooka

141:14 a Mat 4:12 b Mat 4:23Oluvannyuma nga Yokaana Omubatiza amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n’ajja mu Ggaliraaya okubuulira Enjiri ya Katonda, 151:15 a Bag 4:4; Bef 1:10 b Bik 20:21ng’agamba nti, “Ekiseera kituukiridde, n’obwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.” 16Awo Yesu yali ng’ayita ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya, n’alaba Simooni ne muganda we Andereya nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja; kubanga baali bavubi. 17Yesu n’abagamba nti, “Mujje mungoberere nange ndibafuula abavubi b’abantu!” 18Amangwago ne baleka obutimba bwabwe ne bamugoberera. 19Bwe yeeyongerayo katono, n’alaba Yakobo ne Yokaana batabani ba Zebbedaayo, nga bali mu lyato baddaabiriza obutimba bwabwe. 20Amangwago n’abayita ne baleka kitaabwe Zebbedaayo mu lyato n’abapakasi, ne bagoberera Yesu.

Yesu Awonya Omusajja eyaliko Dayimooni

211:21 Mat 4:23; Mak 10:1Awo ne bayingira mu Kaperunawumu. Amangwago n’ayingira mu kuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, n’abayigiriza. 221:22 Mat 7:28, 29Ne beewuunya okuyigiriza kwe, kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakolanga. 23Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, n’awowoggana, 241:24 a Mat 8:29 b Mat 2:23; Luk 24:19; Bik 24:5 c Luk 1:35; Yk 6:69; Bik 3:14ng’agamba nti, “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.” 251:25 nny 34Awo Yesu n’aguboggolera ng’agamba nti, “Sirika era muveeko.” 261:26 Mak 9:20Awo omwoyo omubi ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako. 271:27 Mak 10:24, 32Buli omu ne yeewuunya, ne beebuuzaganya nti, “Kuyigiriza kwa ngeri ki kuno okuggya okujjudde obuyinza? So n’emyoyo emibi agiragira ne gimugondera.” 281:28 Mat 9:26Amangwago amawulire agamukwatako ne gasaasaana wonna mu byalo ebyetoolodde Ggaliraaya.

Yesu Awonya Nnyina wa Muka Simooni

291:29 nny 21, 23Amangwago ne bava mu kkuŋŋaaniro ne bagenda mu nnyumba ya Simooni ne Andereya nga bali ne Yakobo ne Yokaana. 30Ne basanga nga nnyina muka Simooni agalamidde mulwadde omusujja. Amangwago ne bakitegeeza Yesu. 311:31 Luk 7:14Bwe yamusemberera, n’amukwata ku mukono n’amuyimusa, omusujja ne gumuwonako, n’abaweereza!

Yesu Awonya Abalwadde Abangi

321:32 Mat 4:24Awo obudde bwe bwali buwungeera, ng’enjuba egwa, ne bamuleetera abalwadde bonna, n’abaaliko dayimooni. 33Ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku luggi. 341:34 a Mat 4:23 b Mak 3:12; Bik 16:17, 18Era Yesu n’awonya abalwadde bangi abaalina endwadde ez’enjawulo era n’abaaliko baddayimooni bangi n’ababagobako, ne baddayimooni teyabaganya kwogera, kubanga baali bamumanyi.

Yesu Asaba yekka mu Kifo eteri Bantu

351:35 Luk 3:21Enkeera ng’obudde tebunnalaba yesu n’azuukuka n’agenda yekka mu kifo ekyekusifu, okusaba. 36Awo Simooni ne be yali nabo ne bamunoonya, 37bwe baamulaba ne bamugamba nti, “Buli muntu akunoonya.” 381:38 Is 61:1Naye Yesu n’abagamba nti, “Tugende awalala mu byalo ebituliraanye, n’abeeyo mbabuulire, kubanga ekyo kye najjirira.” 391:39 a Mat 4:23 b Mat 4:24Awo n’abuulira mu makuŋŋaaniro ag’omu kitundu kyonna eky’e Ggaliraaya, era n’agoba ne baddayimooni.

Yesu Awonya Omugenge

401:40 Mak 10:17Awo omugenge1:40 ekigambo ekyakozesebwa mu Luyonaani kitegeeza endwadde zonna ez’olususu, si bigenge byokka n’ajja eri Yesu ne yeegayirira ng’afukamidde mu maaso ge, n’amugamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwo, oyinza okunnongoosa.” 41Yesu n’amusaasira, n’agolola omukono gwe, n’amukwatako, n’amugamba nti, “Nsiimye, longooka!” 42Amangwago ebigenge ne bimuwonako, n’aba mulongoofu. 43Awo Yesu n’amukuutira nnyo n’amusiibula, 441:44 a Mat 8:4 b Lv 13:49 c Lv 14:1-32ng’agamba nti, “Kino tokibuulirako muntu n’omu, wabula genda weeyanjule eri kabona, oweeyo n’ekirabo Musa kye yalagira okuweebwangayo, okuba obujulirwa gye bali.” 451:45 a Luk 5:15, 16 b Mak 2:13; Luk 5:17; Yk 6:2Naye omusajja n’atandika okwogera ku ebyo ebyamubaako, n’okubibunyisa. Yesu n’atasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, naye n’abeeranga mu bifo ebyekusifu. Abantu ne bajjanga gy’ali okuva mu njuyi zonna.

Knijga O Kristu

Marko 1:1-45

Uloga Ivana Krstitelja

(Mt 3:1-12; Lk 3:2-16; Iv 1:19-28)

1Ovo je početak Radosne vijesti o Božjemu Sinu Isusu Kristu. 2U Knjizi proroka Izaije Bog je rekao:

“Gledajte, šaljem pred vas svojega glasnika

i on će vam pripraviti put.1:2 Malahija 3:1.

3On je glas koji viče u pustinji:

‘Pripremite put za Gospodnji dolazak!

Poravnajte za njega staze!’”1:3 Izaija 40:3.

4Taj glasnik bio je Ivan Krstitelj. Živio je u pustinji i propovijedao kako se ljudi trebaju krstiti da pokažu kako su se odvratili od svojih grijeha i obratili se Bogu da im oprosti. 5Ljudi iz Jeruzalema i iz cijele Judeje putovali su k njemu u pustinju da ga vide i čuju. Ispovijedali su svoje grijehe, a on ih je krstio u rijeci Jordanu. 6Ivanova odjeća bila je istkana od devine dlake, a bio je opasan kožnim pojasom. Hranio se skakavcima i divljim medom. 7Propovijedao je: “Uskoro dolazi netko veći od mene, toliko velik da mu ja nisam dostojan ni robom biti.1:7 U grčkome: odvezati sandale. 8Ja vas krstim vodom, ali on će vas krstiti Svetim Duhom.”

Isusovo krštenje

(Mt 3:13-17; Lk 3:21-22; Iv 1:32-34)

9Jednog dana dođe Isus iz Nazareta u Galileji i Ivan ga krsti u rijeci Jordanu. 10Čim Isus iziđe iz vode, ugleda kako se otvaraju nebesa i kako Duh u obliku goluba silazi na njega. 11Začuje se glas: “Ti si moj ljubljeni Sin! Ti si moja radost!”

Isusove kušnje

(Mt 4:1-11; Lk 4:1-13)

12Odmah nakon toga Duh nagna Isusa da ode u pustinju. 13Tamo je ostao četrdeset dana i Sotona ga je kušao. Boravio je među divljim životinjama, a služili su mu anđeli.

Prvi učenici

(Mt 4:12-22; Lk 4:14-15; 5:2-11)

14Pošto je kralj Herod zatvorio Ivana, Isus ode u Galileju propovijedati Božju Radosnu vijest. 15“Napokon je došlo vrijeme,” naviještao je, “blizu je Božje kraljevstvo! Odvratite se od svojih grijeha i povjerujte Radosnoj vijesti!”

16Jednoga dana, prolazeći obalom Galilejskog jezera, opazi Šimuna i njegova brata Andriju kako mrežama hvataju ribu jer su po zanimanju bili ribari. 17Reče im: “Pođite za mnom i ja ću vas učiniti ribarima ljudi!”. 18Oni smjesta ostave svoje mreže te pođu za njim.

19Malo dalje uz obalu ugleda Zebedejeve sinove Jakova i Ivana kako u lađici krpaju mreže. 20Pozove i njih, a oni odmah ostave svojeg oca Zebedeja u lađi s nadničarima i pođu za njim.

Isus istjeruje nečistog duha

(Lk 4:31-37)

21Isus i njegovi sljedbenici stigoše u grad Kafarnaum. Odmah u subotu odu u sinagogu te je Isus ondje poučavao. 22Svi okupljeni bili su zadivljeni njegovim učenjem jer ih je poučavao kao onaj koji ima vlast, a ne kao pismoznanci.

23Tu se zatekao čovjek opsjednut nečistim duhom, koji počne vikati: 24“Zašto nas uznemiruješ, Isuse Nazarećanine? Zar si nas došao uništiti? Znam tko si: ti si Svetac Božji!”

25Isus mu zaprijeti: “Umukni i iziđi iz njega!” 26Nato on krikne, žestoko protrese čovjeka i iziđe iz njega.

27Svi nazočni silno se zaprepaste i počnu raspravljati o tome što se dogodilo. “Kakvo je to novo učenje?” uzbuđeno su pitali. “Ima takvu silnu vlast! Čak se i nečisti duhovi pokoravaju njegovim zapovijedima!” 28Vijest o tome što je učinio brzo se pronijela cijelom pokrajinom Galilejom.

Mnoga ozdravljenja

(Mt 8:14-17; Lk 4:38-41)

29Pošto iziđe iz sinagoge, Isus s Jakovom i Ivanom pođe u Šimunovu i Andrijinu kuću. 30Ondje je Šimunova punica ležala u velikoj vrućici te to odmah kazaše Isusu. 31On joj priđe, uhvati ju za ruku i podigne, a vrućica prestane. Žena stane ih posluživati.

32Uvečer, kad je sunce zašlo, dovedu mu sve bolesnike i opsjednute, 33pa se sav grad skupio pred vratima. 34Isus je iscijelio brojne bolesnike od najrazličitijih bolesti i brojnim zlodusima zapovjedio da iziđu iz svojih žrtava. Ali nije dopustio zlodusima da govore jer su znali tko je on.

Isus propovijeda u Galileji

(Lk 4:42-44)

35Drugog jutra ustao je prije zore, povukao se na pusto mjesto i ondje se molio. 36Šimun i ostali krenu ga potražiti. 37Kad ga pronađu, rekoše mu: “Svi te traže!”

38On im odgovori: “Hajdemo i dalje, u druga mjesta. I njima moram propovijedati poruku. Zbog toga sam došao!” 39Tako je proputovao cijelu Galileju propovijedajući po sinagogama i istjerujući zloduhe.

Isus iscjeljuje gubavca

(Mt 8:2-4; Lk 5:12-16)

40Jednom dođe k njemu neki gubavac, klekne pred njega i zamoli ga: “Ako hoćeš, možeš me iscijeliti!”

41Isus se sažali, ispruži ruku, dotakne ga i reče: “Hoću! Budi čist!” 42Gube odmah nestane i čovjek postane čist. 43Otpravljajući ga, Isus ga strogo upozori: 44“Nikome o tomu ne govori, već idi ravno svećeniku te sa sobom ponesi žrtveni dar prema Mojsijevu zakonu kao javno svjedočanstvo svojeg ozdravljenja.”

45Ali čovjek ode i počne svima govoriti što mu se dogodilo; zbog toga Isusa opkoli toliko mnoštvo da više nije mogao javno ući u bilo koji grad, već se morao zadržavati vani, na samotnim mjestima. A ljudi su stizali sa svih strana.