Luusi 2 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Luusi 2:1-23

Luusi Asisinkana Bowaazi

12:1 a Lus 3:2, 12 b Lus 1:2 c Lus 4:21Nawomi yalina mulamu we, ng’ava mu kika kya bba, Erimereki, nga mugagga, erinnya lye nga ye Bowaazi. 22:2 nny 7; Lv 19:9; 23:22; Ma 24:19Awo Luusi Omumowaabu n’agamba Nawomi nti, “Ka ŋŋende mu nnimiro okulonda ebirimba bya sayiri, ngoberere oyo anankwatirwa ekisa2:2 Okulonda emmere y’empeke esigaridde mu nnimiro kyali kya bannamwandu, n’abaana enfuuzi, n’abagenyi (Lv 19:9; 23:22; Ma 24:19).” Nawomi n’amuddamu nti, “Genda, muwala wange.” 3Amangwago, n’agenda, n’atandika okulonda mu nnimiro abakunguzi we bayise. Awo ne yesanga ng’atuuse mu nnimiro ya Bowaazi, ow’omu kika kya Erimereki.

42:4 a Bal 6:12; Luk 1:28; 2Bs 3:16 b Zab 129:7-8Mu kiseera kye kimu Bowaazi n’atuuka okuva e Besirekemu, n’agamba abakunguzi be nti, “Mukama Katonda abeere nammwe.”

Nabo ne bamuddamu nti, “Naawe Mukama Katonda akuwe omukisa.”

5Awo Bowaazi n’abuuza nampala wa bakunguzi be nti, “Omuwala ono w’ani?” 62:6 Lus 1:22N’amuddamu nti, “Ono ye muwala Omumowaabu eyajja ne Nawomi okuva e Mowaabu. 7Atwegayiridde alondelonde abakunguzi we bayise mu binywa, era asiibye akola okuva obw’enkya okutuusa essaawa eno, okuggyako akabanga akatono ke yawumuddemu.”

8Awo Bowaazi n’agamba Luusi nti, “Wuliriza, muwala ggwe. Togendanga n’olondanga mu nnimiro endala yonna, tovanga mu eno, naye obeeranga wamu nabaweereza bange abawala. 9Gendereranga ennimiro basajja bange mwe bamaze okukungula, era ogobererenga abawala. Abasajja mbalagidde obutakutawanya. Era ennyonta bw’ekulumanga, onywenga ku mazzi abasajja ge basenye.”

102:10 a 1Sa 25:23 b Zab 41:1 c Ma 15:3Awo Luusi bwe yawulira ebyo, n’avuunama ku ttaka, ng’agamba nti, “Ng’ondaze ekisa mu maaso go, n’onfaako nze, munnaggwanga.” 112:11 a Lus 1:14 b Lus 1:16-17Naye Bowaazi n’addamu nti, “By’okoledde nnyazaala wo kasookedde balo afa, ne bwe waleka kitaawo ne nnyoko era n’abantu bo n’ojja mu nsi ey’abantu botomanyi, babintegezezza byonna. 122:12 a 1Sa 24:19 b Zab 17:8; 36:7; 57:1; 61:4; 63:7; 91:4 c Lus 1:16Mukama Katonda wa Isirayiri gwe weeyuna wansi w’ebiwaawaatiro bye, akusasule olw’ebyo by’okoze, era akuwe empeera ennene ddala.”

13Awo Luusi n’addamu nti, “Nneeyongere okulaba ekisa mu maaso go mukama wange, kubanga oyogedde ebigambo ebyekisa eri omuweereza wo era emmeeme yange ogizizza mu nteeko wadde nga sigwanira kuba omu ku baweereza bo.”

142:14 nny 18Ekiseera ekyokulya bwe kyatuuka, Bowaazi n’agamba Luusi nti, “Jjangu okoze omugaati gwo mu wayini akatuuse2:14 Wayini akatuuse kyali kyakunywa ekitabuddwamu wayini akayirira n’omuzigo omutono..”

Awo Luusi bwe yatuula wansi, Bowaazi n’amuwa sayiri ensiike, n’alya, n’akkuta, n’emulemera nawo. 15Oluvannyuma ng’okulya kuwedde, n’agolokoka agende alonde, era Bowaazi n’alagira abaddu be nti, “Ne bw’anaalonda mu binywa temumugaana. 16Wakiri, mumuleke yerondere mu miganda so temumuwuuna.”

17Awo Luusi n’alonda mu nnimiro okutuuka akawungeezi, oluvannyuma n’awuula ne sayiri gye yali akuŋŋaanyizza, n’aweza nga kilo kkumi na ssatu. 182:18 nny 14Yonna n’agyetikka, n’agitwala mu kibuga, ne nnyazaala we n’agiraba. Era yamuleetera ne ku mmere gye yali afissizzaawo.

192:19 nny 10; Zab 41:1Nnyazaala we yasanyuka nnyo, era n’amubuuza nti, “Wakoze mu nnimiro y’ani leero? Aweebwe omukisa oyo akukwatiddwa ekisa!” Awo Luusi n’abuulira nnyazaala we nannyini nnimiro mwe yakoze, n’erinnya ly’omwami nga ye Bowaazi.

202:20 a Lus 3:10; 2Sa 2:5; Nge 17:17 b Lus 3:9, 12; 4:1, 14Nawomi namugamba nti, “Mukama Katonda atalekanga kulaga kisa eri abalamu n’abafu, amuwe omukisa. Anti omusajja oyo muganda waffe ddala, era y’omu ku banunuzi2:20 Omununuzi, ye yali muganda w’omugenzi ow’ennyumba ow’okumpi ennyo, era ye yali ateekwa okununula ettaka lyonna ery’omugenzi. Omununuzi yali ateekwa okuwasa nnamwandu, nnamwandu bwe yabanga tazadde baana (Ma 25:5-10) baffe ddala.”

21Luusi Omumowaabu n’ayongerako nti, “N’okuŋŋamba yaŋŋambye nti nkolere wamu n’abakozi be okutuusa lwe balimala eby’okukungula bye.”

22Awo Nawomi n’agamba Luusi muka mwana we nti, “Kijja kuba kirungi nnyo muwala wange, okubeeranga kumpi nabaweereza be abakazi, kubanga singa onoogenda mu nnimiro y’omulala akabi kayinza okukutuukako.”

232:23 Ma 16:9Awo Luusi n’abeeranga kumpi n’abaweereza ba Bowaazi ng’alonda okutuusa amakungula ga sayiri n’eŋŋaano bwe gaggwa, n’abeeranga wamu ne nnyazaala we.