Luusi 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Luusi 1:1-22

Nawomi ne Luusi

11:1 a Bal 2:16-18 b Lub 12:10; Zab 105:16 c Bal 3:30Awo olwatuuka mu nnaku ezo abalamuzi ze baafugiramu, enjala n’egwa mu nsi. Awo omusajja ow’e Besirekemu mu Yuda ne mukazi we, ne batabani be bombi, ne basengukira mu nsi ya Mowaabu. 21:2 Lub 35:19Erinnya ly’omusajja yali Erimereki, erya mukazi we Nawomi, n’amannya ga batabani be bombi, Maloni ne Kiriyoni. Baali Bayefulaasi1:2 Erinnya Bayefulaasi liva mu nju Erimereki mw’asibuka. Erimereki yabbula erinnya Efulaasi okuva mu nnyumba ye mu kifo gye yali abeera, okumpi n’e Besirekemu (4:11; Lub 35:19; 1Sa 17:12; Mi 5:2) ab’e Besirekemu mu Yuda, bwe baatuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera omwo.

3Naye Erimereki bba wa Nawomi n’afa; nnamwandu Nawomi n’asigalawo ne batabani be bombi. 41:4 Mat 1:5Batabani be baawasa ku bakazi Abamowaabu, omu Olupa, n’omulala Luusi, ne babeera eyo okumala emyaka nga kkumi.

5Oluvannyuma Maloni ne Kiriyoni ne bafa, Nawomi n’asigala nga talina baana wadde bba.

61:6 a Kuv 4:31; Yer 29:10; Zef 2:7 b Zab 132:15; Mat 6:11Bwe yawulira ng’ali mu nsi ya Mowaabu nti Mukama Katonda yajjira abantu be n’abawa emmere, n’agolokoka ne baka baana be okuddayo mu Isirayiri. 7Ye ne baka baana be, ne bava mu kifo mwe baali, ne bakwata ekkubo okuddayo mu nsi ya Yuda.

81:8 a Lus 2:20; 2Ti 1:16 b nny 5Awo Nawomi n’agamba baka baana be nti, “Mugende muddeeyo buli muntu mu nnyumba ya nnyina1:8 Abawala ne bannamwandu baabeeranga ne bannyaabwe (Lub 24:28, 67). Kitaawe wa Luusi yali akyali mulamu (2:11)., era Mukama Katonda abakolere ebyekisa, nga nammwe bwe mwakolera abaafa era ne bye mwakolera nze. 91:9 Lus 3:1Mukama Katonda abawe omukisa era buli omu ku mmwe, amuwe omusajja omulala.” N’alyoka abanywegera, nabo ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba amaziga, 10nga bagamba nti, “Nedda, tuligenda naawe ng’oddayo eri abantu bo.” 111:11 Lub 38:11; Ma 25:5Naye Nawomi n’abagamba nti, “Muddeeyo ewammwe bawala bange. Kiki ekibaagaza okugenda nange? Sikyasobola kuzaala baana balala bafuuke babba mmwe1:11 Ekyo kyogera ku mpisa y’Ekiyudaaya egamba nti nnamwandu atalina mwana ateekwa kufumbirwa muganda w’omugenzi bba (Lub 38:6-8; Ma 25:5-10). 12Mweddireyo ewammwe, bawala bange, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyafumbirwa. Ne bwe nnandifumbiddwa ne nzaala abaana aboobulenzi; 131:13 Bal 2:15; Yob 4:5; 19:21; Zab 32:4mwandibalindiridde okutuusa lwe bandikuze nga temunnafumbirwa? Nedda, bawala bange. Nnumwa nnyo okusinga mmwe, kubanga omukono gwa Mukama Katonda tegubadde nange.”

141:14 a Lus 2:11 b Nge 17:17; 18:24Bwe baawulira ekyo, ne baddamu okukaaba. Awo Olupa n’anywegera nnyazaala we, n’amusiibula. Naye Luusi namunywererako ddala.

151:15 Yos 24:14; Bal 11:24Awo Nawomi bwe yalaba ekyo, namugamba nti, “Laba, munno azzeeyo eri abantu be ne balubaale be, naawe kwata ekkubo omugoberere.” 161:16 a 2Bk 2:2 b Lus 2:11, 12Naye Luusi n’amwegayirira ng’agamba nti, “Tompaliriza kukuvaako, wadde obutakugoberera, kubanga gy’onoogendanga, nange gye nnaagendanga, gy’onooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo y’anaaberanga Katonda wange. 171:17 1Sa 3:17; 25:22; 2Sa 19:13; 2Bk 6:31Gy’olifiira nange gye ndifiira era eyo gye balinziika. Mukama Katonda ankangavvule nnyo bwe ndyawukana naawe wabula mpozi okufa.” 181:18 Bik 21:14Awo Nawomi bwe yalaba nga Luusi amaliridde okugenda naye, n’atayongerako kigambo kirala.

191:19 Mat 21:10Oluvannyuma bombi ne batambula okutuuka e Besirekemu. Bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, era abakazi ne beebuuza nti, “Ddala ono ye Nawomi?”

201:20 a Kuv 6:3 b nny 13; Yob 6:4Bwe yawulira ekyo, n’abaddamu nti, “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Mukama Ayinzabyonna yalumya obulamu bwange n’okukaawa bunkayiridde. 211:21 Yob 1:21Nagenda nnina ebintu bingi, naye Mukama Katonda ankomezzaawo nga sirina kantu, kale lwaki mumpita Nawomi? Katonda Ayinzabyonna yandeetera okubonaabona.”

221:22 a Kuv 9:31; Lus 2:23 b 2Sa 21:9Bw’atyo Nawomi n’akomawo e Besirekemu, okuva mu Mowaabu ne muka mwana we Luusi Omumowaabu, mu kiseera eky’okukungula sayiri1:22 Sayiri ye yasookanga okukungulwa. Eŋŋaano yakungulwanga wayiseewo wiiki nnyigiko (laba 2:23) nga kyakatandika.