Lukka 9 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Lukka 9:1-62

Yesu Atuma Ekkumi n’Ababiri

19:1 a Mat 10:1 b Mat 4:23; Luk 5:17Awo olunaku lwali lumu Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri bonna awamu, n’abawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu n’okuwonya endwadde. 29:2 Mat 3:2N’abawa obuyinza n’abatuma bagende bategeeze abantu ebigambo by’obwakabaka bwa Katonda era bawonye n’abalwadde. 39:3 Luk 10:4; 22:35N’abalagira nti, “Temwetwalira kintu kyonna nga mugenda, wadde omuggo, oba ensawo, oba emmere, wadde ffeeza wadde essaati ebbiri. 4Na buli nnyumba mwe muyingiranga, mubeerenga omwo, era mwe muba muvanga. 59:5 Mat 10:14Bwe muyingiranga mu kibuga, abantu baamu ne batabaaniriza, mubaviirenga, era bwe mubanga mufuluma mu kibuga ekyo mukunkumulanga enfuufu ku bigere byammwe, ebe omujulirwa eri bo.” 6Ne bagenda nga bava mu kibuga ekimu nga badda mu kirala, nga babuulira Enjiri buli wamu era nga bawonya.

Kerode Asoberwa

79:7 a Mat 14:1 b Mat 3:1 c nny 19Awo Kerode eyali afuga Ggaliraaya bwe yawulira ebintu ebyo byonna, n’asoberwa, kubanga abantu abamu baali bagamba nti, “Yokaana azuukidde mu bafu,” 89:8 a Mat 11:14 b nny 19; Yk 1:21n’abalala nti, “Eriya yali alabise,” n’abalala nti, “Omu ku bannabbi ab’edda azuukidde mu bafu.” 99:9 Luk 23:8Naye Kerode ne yeebuuza nti, “Yokaana namutemako omutwe; naye ate kale ono ye ani gwe mpulirako ebigambo bino byonna?” N’ayagala okulaba Yesu.

Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ettaano

109:10 a Mak 6:30 b Mat 11:21Awo abatume bwe baakomawo ne bategeeza Yesu bye baakola. Yesu n’abatwala mu kyama ne bagenda bokka mu kibuga ekiyitibwa Besusayida. 119:11 nny 2; Mat 3:2Naye ebibiina bwe baakitegeera ne kimugoberera. Yesu n’abaaniriza, n’abayigiriza ebigambo ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda, n’abaali abalwadde n’abawonya.

12Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ekkumi n’ababiri ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Abantu bagambe bagende mu bibuga ebyetoolodde wano ne mu byalo beefunire we banaafuna ku mmere n’okusula, kubanga wano tuli mu ttale jjereere.”

13Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya!”

Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Wano tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri, mpozi nga tugenda tugulire abantu bano bonna emmere.” 14Waaliwo abasajja ng’enkumi ttaano. Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mutuuze abantu mu bibiina by’abantu ng’amakumi ataano buli kimu.” 15Abayigirizwa ne bakola bwe batyo, bonna ne batuula. 169:16 Mat 14:19Awo Yesu n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’atunula eri eggulu, ne yeebaza, n’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja, n’awa abayigirizwa be bagabule abantu. 17Bonna ne balya ne bakkuta, era obutundutundu obwalema bwe bwakuŋŋaanyizibwa ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri.

Peetero Ayatula nti Yesu ye Kristo

189:18 Luk 3:21Lwali lumu Yesu bwe yali ng’asaba yekka kyokka nga n’abayigirizwa be bali awo, n’ababuuza nti, “Ebibiina bimpita ani?” 199:19 a Mat 3:1 b nny 7, 8Ne baddamu nti, “Abamu bagamba nti Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, ate nga waliwo abagamba nti omu ku bannabbi ab’edda y’azuukidde.”

209:20 Yk 1:49; 6:66-69; 11:27Yesu kwe kubabuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?”

Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo wa Katonda.”

219:21 Mat 16:20; Mak 8:30Awo Yesu n’abakuutira, ng’abalagira obutakitegeezaako muntu yenna, 229:22 a Mat 8:20 b Mat 16:21 c Mat 27:1, 2 d Bik 2:23; 3:13 e Mat 16:21 f Mat 16:21n’abategeeza nti, “Kigwanidde, Omwana w’Omuntu, okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakulembeze b’Abayudaaya, ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, naye ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa!”

239:23 Mat 10:38; Luk 14:27Era bonna n’abagamba nti, “Omuntu yenna ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka yeetikke omusaalaba gwe buli lunaku, angoberere! 249:24 Yk 12:25Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe, alibufiirwa. Na buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibulokola. 25Kubanga omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, naye n’afiirwa obulamu bwe? 269:26 a Mat 10:33; Luk 12:9; 2Ti 2:12 b Mat 16:27Buli alinkwatirwa ensonyi, nze n’ebigambo byange, n’Omwana w’Omuntu, alimukwatirwa ensonyi, bw’alijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.

27“Naye ddala ddala mbagamba nti abamu ku abo abayimiridde wano waliwo abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda.”

Okufuusibwa

289:28 a Mat 4:21 b Luk 3:21Awo nga wayiseewo ng’ennaku munaana, Yesu n’atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne bambuka ku lusozi okusaba. 29Bwe yali ng’asaba endabika y’amaaso ge n’ekyusibwa, ebyambalo bye ne byeruka ne bitukula nnyo era ne byakaayakana. 30Awo abantu babiri ne balabika nga banyumya ne Yesu, omu yali Musa n’omulala Eriya, 319:31 2Pe 1:15abaali bamasamasa mu kitiibwa kyabwe nga boogera ku kufa kwa Yesu, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemi. 329:32 Mat 26:43Peetero ne banne otulo twali tubakutte era nga beebase, Bwe baazuukuka ne balaba ekitiibwa kya Yesu n’abantu ababiri abaali bayimiridde naye. 339:33 Luk 5:5Awo Musa ne Eriya bwe baali bagenda, Peetero nga tamanyi ne kyayogera, n’agamba nti, “Mukama wange kirungi ffe okubeera wano. Ka tuzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo, endala ya Musa n’endala ya Eriya!”

34Naye yali akyayogera ebyo ekire ne kibabikka, abayigirizwa ne bajjula okutya nga kibasaanikidde. 359:35 a Is 42:1 b Mat 3:17Eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange, gwe nneeroboza, mumuwulirize!” 369:36 Mat 17:9Eddoboozi bwe lyasiriikirira, Yesu n’asigalawo yekka. Abayigirizwa abo bye baalaba ne bye baawulira ne babikuuma mu mitima gyabwe, ne batabibuulirako muntu yenna mu kiseera ekyo.

Yesu Awonya Omwana Eyaliko Dayimooni

37Awo enkeera bwe baakomawo nga bava ku lusozi, ekibiina ekinene ne kijja okusisinkana Yesu. 38Omusajja eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu ng’agamba nti, “Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina. 39Kubanga ddayimooni buli bbanga amukwata n’amuwowogganya, era n’amukankanya n’abimba ejjovu n’amusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi. 40Neegayiridde abayigirizwa bo bamumugobeko, naye ne batasobola.”

419:41 Ma 32:5Awo Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo.”

42Omulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni n’amusuula wansi n’amukankanya nnyo. Yesu n’aboggolera omwoyo omubi n’awonya omwana, n’amuddiza kitaawe. 43Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya eby’ekitalo ebyo Yesu bye yali akola, n’agamba abayigirizwa be nti, 449:44 nny 22“Muwulirize nnyo kye ŋŋenda okubagamba. Omwana w’Omuntu, agenda kuliibwamu olukwe.” 459:45 Mak 9:32Naye abayigirizwa tebaategeera ky’agambye n’amakulu gaakyo. Kubanga kyali kibakwekebbwa, baleme okutegeera ate nga batya okukimubuuza.

469:46 Luk 22:24Awo empaka ne zisituka mu bayigirizwa ba Yesu, nga bawakanira aliba omukulu mu bo. 479:47 Mat 9:4Naye Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’addira omwana omuto n’amuyimiriza w’ali. 489:48 a Mat 10:40 b Mak 9:35N’abagamba nti, “Buli muntu asembeza omwana ono omuto mu linnya lyange ng’asembezezza Nze, na buli ansembeza aba asembezezza oyo eyantuma. Oyo asembayo okuba owa wansi mu mmwe, ye mukulu okubasinga.”

499:49 Luk 5:5Awo Yokaana n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo ne tugezaako okumuziyiza kubanga tayita naffe.”

509:50 Mat 12:30; Luk 11:23Naye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga kubanga oyo atalwana nammwe abeera ku ludda lwammwe.”

519:51 a Mak 16:19 b Luk 13:22; 17:11; 18:31; 19:28Awo ekiseera eky’okulinnya kwe mu ggulu bwe kyali kisembedde, n’amalirira okugenda e Yerusaalemi. 529:52 Mat 10:5N’atuma ababaka mu maaso ne balaga mu kibuga ky’Abasamaliya okumutegekera. 53Naye abantu b’eyo ne batamwaniriza, kubanga yali amaliridde okulaga mu Yerusaalemi. 549:54 a Mat 4:21 b 2Bk 1:10, 12Abayigirizwa Yakobo ne Yokaana bwe baakiraba ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tuyite omuliro okuva mu ggulu gubazikirize?” 55Naye Yesu n’akyuka n’abanenya. 56Ne bagenda mu kabuga akalala.

579:57 nny 51Awo bwe baali bali mu kkubo omu ku bo n’amugamba nti, “Nnaakugobereranga wonna w’onoogendanga.”

589:58 Mat 8:20Yesu n’amugamba nti, “Ebibe birina obunnya bwabyo mwe bisula, n’ennyonyi zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu, talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”

599:59 Mat 4:19N’agamba omusajja omulala nti, “Ngoberera.”

Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange.”

609:60 Mat 3:2Yesu n’amugamba nti, “Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda olangirire obwakabaka bwa Katonda.”

619:61 1Bk 19:20N’omulala n’agamba Yesu nti, “Nnaakugobereranga Mukama wange. Naye sooka ondeke mmale okusiibula ab’omu maka gange.”

62Naye Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna akwata ekyuma ekirima mu ngalo ze ate n’atunula emabega, tasaanira bwakabaka bwa Katonda.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

路加福音 9:1-62

差遣十二使徒

1耶穌召集了十二個使徒,賜他們能力和權柄可以醫病趕鬼, 2又差遣他們出去宣講上帝國的福音、醫治病人。 3耶穌叮囑他們:「出門的時候,什麼也不要帶,不要帶手杖、背包、乾糧、金錢,也不要帶兩件衣服。 4有人家接待你們,就住下來,一直住到你們離開。 5如果有人不歡迎你們,你們在離開那城的時候,就把腳上的塵土跺掉,作為對他們的警告。」

6使徒領命出發,走遍各個鄉村,到處宣揚福音,替人治病。

希律的困惑

7耶穌的事蹟很快便傳到希律耳中,令他十分困惑,因為有人說:「約翰死而復活了」, 8有人說:「以利亞顯現了」,還有人說:「古代的某個先知復活了」。 9希律說:「約翰已經被我斬首,這個行奇事的人到底是誰呢?」於是他想見耶穌。

五餅二魚的神蹟

10使徒回來後,向耶穌報告了他們所行的事。隨後耶穌帶著他們悄悄地來到伯賽大城。 11但百姓發現了耶穌的行蹤,隨即也趕來了。耶穌接待他們,向他們宣講天國的福音,醫好了有病的人。 12黃昏將近,十二個使徒過來對耶穌說:「請遣散眾人,好讓他們到附近的村莊去借宿找吃的,因為這地方很偏僻。」

13耶穌對他們說:「你們給他們吃的吧。」

使徒們說:「我們只有五個餅和兩條魚,除非我們去買食物才夠這麼一大群人吃。」 14當時那裡約有五千男人。

耶穌便對使徒說:「讓這些人分組坐下,每組大約五十人。」 15於是使徒安排眾人都坐好。 16耶穌拿起那五個餅、兩條魚,舉目望著天祝謝後,掰開遞給門徒,讓他們分給眾人。 17大家都吃飽了,把剩下的零碎收拾起來,竟裝滿了十二個籃子。

彼得宣告耶穌是基督

18有一次,耶穌獨自禱告的時候,門徒也在旁邊。

耶穌問他們:「人們說我是誰?」

19他們答道:「有人說你是施洗者約翰,也有人說你是以利亞,或是一位復活的古代先知。」

20耶穌對他們說:「那麼,你們說我是誰?」

彼得回答說:「你是上帝所立的基督。」

21耶穌鄭重地吩咐他們不許洩露祂的身分, 22又說:「人子必須受許多苦,被長老、祭司長和律法教師棄絕,殺害,但必在第三天復活。」

跟從主的代價

23耶穌又教導眾人說:「如果有人要跟從我,就應當捨己,天天背起他的十字架跟從我。 24因為想救自己生命的,必失去生命;但為了我而失去生命的,必得到生命。 25人若賺得全世界,卻失去自己或喪掉自己,又有什麼益處呢? 26如果有人以我和我的道為恥,將來人子在自己、天父和聖天使的榮耀中降臨時,也必以這人為恥。 27我實在告訴你們,有些站在這裡的人在有生之年就必看見上帝的國。」

登山變象

28講完這些話後大約八天,耶穌帶著彼得約翰雅各一同到山上禱告。 29耶穌在禱告的時候,容貌改變了,衣裳潔白發光。 30忽然,摩西以利亞二人在跟耶穌交談。 31二人在榮光中顯現,談論有關耶穌離世的事情,就是祂在耶路撒冷將要成就的事。 32彼得和兩個同伴都睏得睡著了,他們醒來後,看見了耶穌的榮光以及站在祂身邊的兩個人。 33摩西以利亞要離開時,彼得對耶穌說:「老師,我們在這裡真好!讓我們搭三座帳篷,一座給你,一座給摩西,一座給以利亞。」其實彼得並不知道自己在說什麼。 34他的話還沒說完,有一朵雲彩飄來,籠罩他們,他們進入雲彩中,都很害怕。 35雲彩中有聲音說:「這是我的兒子,是我揀選的,你們要聽從祂!」 36聲音消逝了,門徒只見耶穌獨自在那裡。那些日子,他們對這事都絕口不提,沒有告訴任何人。

山下趕鬼

37次日,他們來到山下,有一大群人迎接耶穌。 38人群中有一個人高聲喊叫:「老師,求求你看看我的兒子吧!他是我的獨生子, 39鬼控制著他,他常常突然狂喊亂叫、抽搐、口吐白沫,倍受折磨,無休無止。 40我曾求過你的門徒把鬼趕出去,但他們都無能為力。」

41耶穌回答說:「唉!這又不信又敗壞的世代啊!我要跟你們在一起容忍你們多久呢?把你的兒子帶來吧。」

42那孩子走過來時,鬼又把他摔倒,使他抽搐,耶穌立刻斥責污鬼,把那孩子治好了,交給他父親。 43大家看見了上帝的大能,都很驚奇。

再次預言受難

他們正為耶穌所做的一切驚訝不已時,耶穌對門徒說: 44「你們要牢記人子所說的話,因為祂將要被交到人的手裡。」 45但門徒不明白這句話的意思,因為還沒有向他們顯明,他們聽不懂,又不敢追問耶穌。

論地位

46門徒開始議論他們當中誰最偉大。 47耶穌知道他們的心思,就叫了一個小孩子來,讓他站在自己身旁, 48然後對門徒說:「任何人為了我的緣故接待這樣一個小孩子,就是接待我;接待我,就是接待差我來的那位。你們當中最卑微的其實是最偉大的。」

49約翰說:「老師,我們看見有人奉你的名趕鬼,就阻止他,因為他不是和我們一起跟從你的。」 50耶穌卻對他說:「你不要阻止他,因為不反對你們的,就是支持你們的。」

不肯接待耶穌的村莊

51耶穌被接回天家的日子快到了,祂決定前往耶路撒冷52祂先派人到撒瑪利亞的一個村莊去預備食宿, 53撒瑪利亞人見他們是上耶路撒冷去的,不肯接待他們。 54祂的門徒雅各約翰見狀,說:「主啊,你要我們9·54 有古卷加「像以利亞一樣」。叫天上的火降下來燒死他們嗎?」 55耶穌轉過身來責備他們9·55 有古卷在「責備他們」之後有「說,『你們的心如何,你們自己不知道,人子來是為了拯救人,不是為了毀滅人。』」56接著,一行人改道去另一個村子。

跟從主的代價

57在路上有人對耶穌說:「無論你往哪裡去,我都要跟從你。」

58耶穌對他說:「狐狸有洞,飛鳥有窩,人子卻沒有安枕之處。」

59耶穌又對另一個人說:「跟從我!」但是那人說:「主啊,請讓我先回去安葬我的父親。」

60耶穌說:「讓死人去埋葬他們的死人吧,你只管去傳揚上帝國的福音。」

61又有一個人說:「主啊!我願意跟從你,但請讓我先回去向家人告別。」

62耶穌說:「手扶著犁向後看的人不配進上帝的國。」