Lukka 6 – LCB & HHH

Luganda Contemporary Bible

Lukka 6:1-49

Yesu ye Mukama wa Ssabbiiti

16:1 Ma 23:25Awo ku lunaku lumu olwa Ssabbiiti, Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke, abayigirizwa be ne banoga ku birimba by’emmere ey’empeke ne babikunya mu ngalo zaabwe, ne balya. 26:2 Mat 12:2Naye Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Lwaki mukola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti?”

36:3 1Sa 21:6Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola, enjala bwe yamuluma n’abo be yali nabo? 46:4 Lv 24:5, 9Yayingira mu nnyumba ya Katonda, n’addira emigaati egy’okulaga, n’atoola n’alyako, n’awaako ne be yali nabo ne balya so ng’ekyo kyali tekikkirizibwa muntu yenna okuggyako bakabona.” 56:5 Mat 8:20N’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ye Mukama wa Ssabbiiti.”

Yesu Awonya Omusajja ow’Omukono Ogukaze

66:6 nny 1Ku lunaku lwa Ssabbiiti olulala Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro nga mulimu n’omusajja eyalina omukono ogukaze. 76:7 a Mat 12:10 b Mat 12:2Abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bamusimbako amaaso okulaba obanga anaawonya ku Ssabbiiti, babeeko n’ekintu kye baneekwasa bamuvunaane omusango. 86:8 Mat 9:4Naye Yesu n’ategeera ebirowoozo byabwe. N’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Situka oyimirire wakati wano.” N’asituka n’ayimirira.

9Yesu n’alyoka agamba Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Muleke mbabuuze; Kirungi okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Kirungi okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?”

10N’abeetoolooza amaaso kinnoomu, n’alyoka agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Omusajja n’agolola omukono gwe ne guwona. 116:11 Yk 5:18Naye ne bajjula obusungu, ne boogera bokka ne bokka kye banaakola Yesu.

Abatume Ekkumi n’Ababiri

126:12 Luk 3:21Awo olwatuuka mu nnaku ezo, Yesu n’alinnya waggulu ku lusozi okusaba, n’asaba ekiro kyonna eri Katonda. 136:13 Mak 6:30Obudde bwe bwakya, n’ayita abayigirizwa be n’abalondako kkumi n’ababiri, n’abafuula abatume. Amannya gaabwe ge gano:

14Simooni, gwe yatuuma Peetero, ne Andereya, muganda wa Simooni,

ne Yakobo,

ne Yokaana,

ne Firipo,

ne Battolomaayo,

156:15 Mat 9:9ne Matayo,

ne Tomasi,

ne Yakobo, omwana wa Alufaayo,

ne Simooni, ow’omu kibiina ky’obufuzi eky’Abazerote,6:15 Abazerote baali balwanirizi ba ddembe nga baagala eggwanga lyabwe okwefuga babeere n’Obwakabaka obwabwe

16ne Yuda, omwana wa Yakobo,

ne Yuda Isukalyoti, oluvannyuma eyamulyamu olukwe.

Yesu Ayigiriza era Awonya

176:17 Mat 4:25; 11:21; Mak 3:7, 8Awo Yesu bwe yava ku lusozi awamu nabo, n’ayimirira wansi w’olusozi mu lusenyi awatereevu, ekibiina kinene eky’abayigirizwa be, n’ekibiina kinene eky’abantu abaava mu Buyudaaya yonna ne Yerusaalemi n’ebitundu eby’oku lubalama lw’ennyanja olwa Ttuulo ne Sidoni, 18ne bajja okumuwuliriza n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe. Abo abaali batawaanyizibwa emyoyo emibi ne bawonyezebwa; 196:19 a Mat 9:20 b Mat 14:36; Mak 5:30; Luk 5:17era abantu bonna ne bafuba okumukwatako, kubanga amaanyi agawonya gaamuvangamu nga gawonya buli muntu.

206:20 Mat 25:34Awo Yesu n’atunuulira abayigirizwa be enkaliriza n’agamba nti,

“Mulina omukisa abaavu,

kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe.

216:21 a Is 55:1, 2; Mat 5:6 b Is 61:2, 3; Mat 5:4; Kub 7:17Mulina omukisa abalumwa enjala kaakano,

kubanga mulikkusibwa.

Mulina omukisa abakaaba kaakano,

kubanga muliseka.

226:22 a Yk 9:22; 16:2 b Is 51:7 c Yk 15:21Mulina omukisa bwe babakyawa, ne babeewala, ne babavuma,

ne basiiga erinnya lyammwe enziro,

olw’Omwana w’Omuntu.”

236:23 a Mat 5:12 b Mat 5:12“Musanyukanga ku lunaku olwo ne mujaguza, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga ebintu ebyo bajjajjammwe baabikola bannabbi abaabasooka.

246:24 a Yak 5:1 b Luk 16:25“Naye zibasanze mmwe abagagga,

kubanga mufunye essanyu lyammwe erijjuvu.

256:25 a Is 65:13 b Nge 14:13Zibasanze mmwe abalya ne mukkuta kaakano,

kubanga mulirumwa enjala.

Zibasanze mmwe abaseka kaakano,

kubanga mulikungubaga, ne mukaaba.

266:26 Mat 7:15Zibasanze mmwe abantu bonna bwe babawaana,

kubanga bwe batyo bajjajjammwe bwe baayisa bannabbi aboobulimba.”

276:27 nny 35; Mat 5:44; Bar 12:20“Naye mmwe abampuliriza mbagamba nti: Mwagalenga abalabe bammwe, n’ababakyawa mubayisenga bulungi. 286:28 Mat 5:44Ababakolimira mubasabirenga omukisa; ababayisa obubi mubasabirenga. 29Omuntu bw’akukubanga oluyi ku luba olumu, omukyusizanga n’akukuba ne ku lwokubiri! Omuntu bw’akunyagangako ekkooti yo, n’essaati yo ogimulekeranga. 306:30 Ma 15:7, 8, 10; Nge 21:26Omuntu yenna akusabanga omuwanga; era n’oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga kubikuddizza. 316:31 Mat 7:12Kye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga bwe mutyo.”

326:32 Mat 5:46“Bwe munaayagalanga abo ababaagala bokka, munaagasibwa ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bwe beeyisa bwe batyo. 33Bwe munaayisanga obulungi abo bokka ababayisa obulungi, munaagasibwa ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bwe bakola bwe batyo. 346:34 Mat 5:42Bwe munaawolanga abo bokka be musuubira okubasasula mmwe, munaagasibwangamu ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bawola bakozi ba bibi bannaabwe, basobole okusasulwa omuwendo gwe gumu. 356:35 a nny 27 b Bar 8:14 c Mak 5:7Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe! Mubayisenga bulungi! Muwolenga nga temusuubira kusasulwa magoba. Bw’etyo empeera yammwe eriba nnene era muliba baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo. Kubanga wa kisa eri abatasiima n’abakozi b’ebibi. 366:36 a Yak 2:13 b Mat 5:48; 6:1; Luk 11:2; 12:32; Bar 8:15; Bef 4:6; 1Pe 1:17; 1Yk 1:3; 3:1Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bw’ali ow’ekisa.”

Okusalira Abalala Emisango

376:37 a Mat 7:1 b Mat 6:14“Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango. Temusingisanga musango, nammwe muleme okusingibwa. Musonyiwenga era nammwe mulisonyiyibwa. 386:38 a Zab 79:12; Is 65:6, 7 b Mat 7:2; Mak 4:24Mugabenga nammwe muliweebwa. Ekigera ekirungi ekikattiddwa, ekisuukundiddwa, eky’omuyiika kiribakwasibwa. Kubanga ekigera kye mugereramu nammwe mwe muligererwa.”

396:39 Mat 15:14Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Ddala ddala omuzibe w’amaaso ayinza okukulembera muzibe munne? Bombi tebajja kugwa mu kinnya? 406:40 Mat 10:24; Yk 13:16Omuyizi tasaana kusinga amuyigiriza, kyokka bw’aba ng’atendekeddwa bulungi, buli muntu aliba ng’omusomesa we.”

41“Lwaki otunuulira akasasiro akali ku liiso lya muganda wo, naye n’otolaba kisiki kiri ku liiso lyo? 42Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Muganda wange, leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ naye nga ekisiki ekiri ku liryo tokiraba? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ku liiso lyo, olyoke olabe bulungi olwo oggyeko akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”

43“Omuti omulungi tegubala bibala bibi, so n’omuti omubi tegubala bibala birungi. 446:44 Mat 12:33Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Abantu tebanoga ttiini ku busaana so tebanoga mizabbibu ku mweramannyo. 456:45 Nge 4:23; Mat 12:34, 35; Mak 7:20Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu mutima gwe omulungi, n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu mutima gwe omubi. Kubanga akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima.”

Omuzimbi omugezi n’atali mugezi

466:46 a Yk 13:13 b Mal 1:6; Mat 7:21“Lwaki mumpita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ so nga bye mbagamba si bye mukola? 476:47 Luk 8:21; 11:28; Yak 1:22-25Buli ajja gye ndi n’awulira ebigambo byange, n’abikola, ka mbalage bw’afaanana. 48Afaanana ng’omuntu eyazimba ennyumba, eyasima omusingi wansi ennyo n’atuuka ku lwazi. Amataba bwe gajja, ne gajjuza omugga tegaasobola kunyeenya nnyumba eyo kubanga yazimbibwa bulungi. 49Naye omuntu awuliriza ebigambo byange n’atabikola, afaanana n’omusajja eyazimba ennyumba ku ttaka nga tasimye musingi. Omugga bwe gwajjula, ne gwanjaala, ne gukuba ennyumba n’egwa, era n’okugwa kw’ennyumba eyo kwali kunene nnyo.”

Habrit Hakhadasha/Haderekh

הבשורה על-פי לוקס 6:1-49

1באחת השבתות, כשעברו ישוע ותלמידיו בשדה, קטפו התלמידים שיבולים, הפרידו את המוץ ואכלו את הגרעינים. 2הדבר לא מצא־חן בעיני כמה פרושים אשר באו לישוע, ואלה קראו: ”מדוע תלמידיך קוטפים שיבולים בשבת? הלא הם מחללים את השבת!“

3השיב להם ישוע: ”האם מעולם לא קראתם מה עשה דוד המלך כשהוא ואנשיו היו רעבים? 4דוד נכנס לאוהל מועד, לקח את לחם הפנים – שעל־פי התורה היה מיועד לכוהנים בלבד – ואכל אותו עם אנשיו.“ 5ישוע עוד הוסיף: ”בן האדם הוא אדון השבת.“

6בשבת אחרת, כשלימד ישוע בבית־הכנסת, היה בקהל אדם שידו הימנית משותקת. 7הסופרים והפרושים רצו לראות אם ישוע ירפא את האיש בשבת, מפני שחיפשו סיבה להאשים אותו במשהו.

8ישוע ידע היטב את מחשבותיהם, ולכן אמר לבעל היד המשותקת: ”בוא ועמוד לפני כולם.“ האיש עשה כדבריו.

9ישוע פנה אל הסופרים והפרושים: ”יש לי שאלה אליכם: על־פי התורה, האם עלינו לעשות בשבת מעשים טובים, או מעשים רעים? האם עלינו להציל חיים בשבת, או להרסם?“

10ישוע הביט בעיני הנוכחים ואחר כך אמר לאיש שידו משותקת: ”הושט את ידך.“ האיש הושיט את ידו והיא נרפאה כליל. 11מעשה זה של ישוע עורר את זעם אויביו, והם החלו להתייעץ ביניהם מה לעשות לו.

12זמן קצר לאחר מכן יצא ישוע אל ההרים להתפלל, ובילה את כל הלילה בתפילה לאלוהים. 13עם עלות השחר הוא קרא אליו את תלמידיו, ובחר מתוכם שנים־עשר איש שיהיו מלוויו הקבועים. יותר מאוחר ישוע מינה את אלה להיות שליחים. 14אלה שמותיהם: שמעון (ישוע קרא לו גם פטרוס), ‎אַנְדְּרֵי (אחיו של שמעון), יעקב, יוחנן, פיליפוס, בר־תלמי, 15מתתיהו, תומא, יעקב (בן־חלפי), שמעון (מכת הקנאים), 16יהודה (בן־יעקב), יהודה איש־קריות (אשר מאוחר יותר הסגיר את ישוע).

17ישוע ירד איתם מההר, וכשהגיעו למקום נרחב הוא עמד מלכת. קהל גדול כבר ציפה לו שם; ביניהם תלמידיו הרבים ואנשים רבים שבאו ממרחקים להקשיב לדבריו ולהירפא ממחלותיהם. הם באו בהמוניהם מירושלים, מיהודה ומאזור צור וצידון. 18גם אנשים שהיו אחוזים רוחות רעות נרפאו.

19כל אחד ואחד מהם השתוקק לגעת בישוע, כי יצא ממנו כוח מרפא שריפא את כולם.

20ישוע פנה אל תלמידיו ואמר:

”אשריכם העניים, כי מלכות האלוהים שייכת לכם.

21אשריכם הרעבים עתה, כי תשבעו.

אשריכם הבוכים עתה, כי עוד תשמחו.

22אשריכם אם שונאים ומנדים אתכם,

ואם מקללים אתכם בגלל אמונתכם בבן־האדם.

23”שמחו ורקדו, כי מצפה לכם שכר רב בשמים! ואל תשכחו שכך רדפו גם את הנביאים!

24אך אוי לעשירים,

מפני שכבר קיבלתם את כל מה שמגיע לכם בעולם הזה.

25אוי לאלה שיש לכם את כל משאלות לבבכם,

כי יבוא יום שבו לא יהיה לכם דבר!

אוי לכם הצוחקים עתה,

כי לא רחוק היום שבו תתאבלו ותבכו!

26אוי לכם המקבלים מחמאות ושבחים מכל בני־האדם,

כי כך החניפו אבותיהם לנביאי השקר.

27”הקשיבו כולכם: אהבו את אויביכם, השיבו טובה לשונאיכם, 28ברכו את המקללים אתכם, והתפללו בעד אלה שלועגים לכם ומביישים אתכם.

29”אם מישהו יסטור לך על לחי אחת, הושט לו גם את הלחי השנייה. אם מישהו ייקח מעילך אל תמנע ממנו את חולצתך. 30תן מה שיש לך לכל המבקש, וכאשר לוקחים ממך דבר, אל תצטער ואל תדרוש אותו חזרה. 31עשו לאחרים את מה שהייתם רוצים שיעשו לכם.

32”אם אתם אוהבים רק את אלה שאוהבים אתכם, מה המיוחד בכך? גם הפושעים אוהבים את אלה שאוהבים אותם! 33ואם אתם עושים טובה רק לאלה שעושים לכם טובה – החושבים אתם שמגיע לכם פרס? גם הפושעים מחזירים טובה תחת טובה! 34אם אתם מלווים רק לאלה שיכולים להחזיר לכם, האם אתם עושים מעשה נעלה? גם הקמצנים והרשעים מלווים לאנשים כמותם תמורת שכר מלא.

35”עליכם לאהוב את אויביכם, לעשות מעשים טובים ולהלוות כספים בלי לצפות שיחזירו לכם. ואז שכרכם מאת אלוהים יהיה רב, וכך גם תוכיחו שאכן בניו אתם, שהרי אלוהים טוב גם לרשעים ולכפויי־טובה.

36”היו רחמנים כמו שאביכם שבשמים. 37אל תמתחו ביקורת על אחרים ואל תשפטו אותם, ואז לא ימתחו ביקורת עליכם ולא ישפטו אתכם. אל תאשימו איש, ואז לא יאשימו אתכם. סלחו לאחרים, ואז ייסלח גם לכם.

38”אם תתנו לאחרים תקבלו חזרה מידה יפה, גדושה ושופעת, כי במידה שאתם נותנים לאחרים יינתן לכם חזרה.“

39ישוע סיפר להם את המשל הבא: ”היכול עיוור להדריך עיוור? הלא שניהם יפלו לתוך בור! 40התלמיד אינו יודע יותר ממורו, אולם אם ילמד בשקידה ובחריצות יוכל להגיע לרמת ידיעותיו של המורה.

41”כיצד יכול אתה לראות שביב־עץ קטן בעין חברך, ולא להבחין בקרש הגדול שבעינך? 42איך אתה יוכל לומר לו: ’אחי, הרשה לי לסלק את השביב מעינך‘, בזמן שאינך רואה את הקרש הגדול שבעינך? צבוע שכמותך! סלק תחילה את הקרש מעינך, ורק לאחר מכן תוכל לסלק את שביב העץ מעין חברך!

43”עץ משובח אינו נותן פרי רקוב, כשם שעץ רקוב אינו נותן פרי משובח. 44את העץ מכירים לפי הפרי שהוא נותן. הרי התאנים לעולם אינן צומחות על שיחי קוצים, וענבים לעולם אינם צומחים על חוחים. 45אדם טוב מפיק מעשים טובים מהטוב שבלבו, בעוד שאדם רע מפיק מעשים רעים מהרוע שבלבו, שהרי אדם מדבר מתוך הממלא את לבו.

46”מדוע אתם קוראים לי ’אדון, אדון‘, ואינכם עושים את מה שאני אומר לכם? 47כל מי שבא אלי ואינו רק מקשיב לדברי, כי אם גם מקיים אותם, 48דומה לאדם שבנה את ביתו על יסודות איתנים החצובים בסלע. כשבא שיטפון, הבית עומד איתן כי נבנה היטב. 49אולם מי שמקשיב לדברי ואינו מקיים אותם, דומה לאדם שבנה את ביתו על אדמת־חול ללא יסודות. כשבא שיטפון הבית נהרס כליל.“