Lukka 3 – LCB & NIVUK

Luganda Contemporary Bible

Lukka 3:1-38

Yokaana Omubatiza alongoosa ekkubo

13:1 a Mat 27:2 b Mat 14:1Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’okufuga kwa Kayisaali Tiberiyo, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye gavana wa Buyudaaya, Kerode nga y’afuga Ggaliraaya, muganda we Firipo nga y’afuga Italiya ne Tirakoniti, ne Lusaniya nga y’afuga Abireene, 23:2 a Mat 26:3; Yk 18:13; Bik 4:6 b Mat 3:1 c Luk 1:13Ana ne Kayaafa nga be Bakabona Abasinga Obukulu, Yokaana, mutabani wa Zaakaliya ng’ali mu ddungu, n’afuna obubaka obuva eri Katonda. 33:3 nny 16; Mak 1:4Yokaana n’atambulanga ng’agenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ng’ategeeza abantu obubaka obw’okubatizibwa obw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi, 4nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti,

“Eddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu nti,

Mulongoose ekkubo lya Mukama,

Muluŋŋamye amakubo ge;

5Buli kiwonvu kirijjuzibwa,

na buli lusozi n’akasozi birisendebwa,

na buli ekyakyama kirigololwa,

n’obukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ez’omuseetwe.

63:6 Zab 98:2; Is 40:3-5; 42:16; 52:10; Luk 2:30Abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”

73:7 a Mat 12:34; 23:33 b Bar 1:18Kyeyava agamba abantu abajjanga gy’ali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? 83:8 Is 51:2; Luk 19:9; Yk 8:33, 39Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu. 93:9 Mat 3:10Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”

103:10 nny 12, 14Ekibiina ne kimumubuuza nti, “Kale tukole ki?”

113:11 Is 58:7Yokaana n’abaddamu ng’agamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, n’oyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”

123:12 Luk 7:29Awo abasolooza b’omusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?”

133:13 Luk 19:8Yokaana n’abaddamu nti, “Temusoloozanga muwendo gusukka ku ogwo ogwalagibwa.”

143:14 Kuv 23:1; Lv 19:11Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?”

Yokaana n’abagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, n’empeera ebaweebwa ebamalenga.”

153:15 a Mat 3:1 b Yk 1:19, 20; Bik 13:25Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo. 163:16 a nny 3; Mak 1:4 b Yk 1:26, 33; Bik 1:5; 11:16; 19:4Yokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu; 173:17 a Is 30:24 b Mat 13:30; 25:41n’olugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye n’okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.” 18Yokaana n’abuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bw’ababuulira Enjiri.

193:19 nny 1Naye Yokaana bwe yanenya Kerode, omufuzi, olw’okutwala Kerodiya eyali muka muganda we, n’olw’ebibi ebirala Kerode bye yali akoze, 203:20 Mat 14:3, 4; Mak 6:17-18ate ku ebyo byonna Kerode n’ayongerako na kino: n’akwata Yokaana n’amuggalira mu kkomera.

Okubatizibwa kwa Yesu

213:21 Mat 14:23; Mak 1:35; 6:46; Luk 5:16; 6:12; 9:18, 28; 11:1Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu n’abatizibwa. Yesu n’asaba, eggulu ne libikkuka, 223:22 a Is 42:1; Bik 10:38 b Mat 3:17 c Mat 3:17Mwoyo Mutukuvu n’amukkako mu kifaananyi eky’ejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”

Olulyo lwa Yesu

233:23 a Mat 4:17; Bik 1:1 b Luk 1:27Yesu yali awezezza emyaka ng’amakumi asatu bwe yatandika omulimu gwe. Yesu nga bwe kyalowoozebwa, yali mwana wa Yusufu:

ne Yusufu nga mwana wa Eri, 24Eri nga mwana wa Mattati,

ne Mattati nga mwana wa Leevi, ne Leevi nga mwana wa Mereki,

ne Mereki nga mwana wa Yanayi, ne Yanayi nga mwana wa Yusufu,

25ne Yusufu nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Amosi,

ne Amosi nga mwana wa Nakkumu, ne Nakkumu nga mwana wa Esuli,

ne Esuli nga mwana wa Naggayi, 26ne Naggayi nga mwana wa Maasi,

ne Maasi nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Semeyini,

ne Semeyini nga mwana wa Yoseki, ne Yoseki nga mwana wa Yoda,

273:27 Mat 1:12ne Yoda nga mwana wa Yokanaani, ne Yokanaani nga mwana wa Lesa,

ne Lesa nga mwana wa Zerubbaberi, ne Zerubbaberi nga mwana wa Seyalutyeri,

ne Seyalutyeri nga mwana wa Neeri, 28ne Neeri nga mwana wa Mereki,

ne Mereki nga mwana wa Addi, ne Addi nga mwana wa Kosamu,

ne Kosamu nga mwana wa Erumadamu, ne Erumadamu nga mwana wa Eri,

29ne Eri nga mwana wa Yoswa, ne Yoswa nga mwana wa Eryeza,

ne Eryeza nga mwana wa Yolimu, ne Yolimu nga mwana wa Mattati,

ne Mattati nga mwana wa Leevi,

30ne Leevi nga mwana wa Simyoni, ne Simyoni nga mwana wa Yuda,

ne Yuda nga mwana wa Yusufu, ne Yusufu nga mwana wa Yonamu,

ne Yonamu nga mwana wa Eriyakimu,

313:31 2Sa 5:14; 1By 3:5ne Eriyakimu nga mwana wa Mereya, ne Mereya nga mwana wa Menna,

ne Menna nga mwana wa Mattasa, ne Mattasa nga mwana wa Nasani,

ne Nasani nga mwana wa Dawudi, 32ne Dawudi nga mwana wa Yese,

ne Yese nga mwana wa Obedi, ne Obedi nga mwana wa Bowaazi,

ne Bowaazi nga mwana wa Salumooni, ne Salumooni nga mwana wa Nakusoni,

333:33 Lus 4:18-22; 1By 2:10-12ne Nakusoni nga mwana wa Amminadaabu, ne Aminadaabu nga mwana wa Aluni,

ne Aluni nga mwana wa Kezulooni, ne Kezulooni nga mwana wa Pereezi,

ne Pereezi nga mwana wa Yuda, 343:34 Lub 11:24, 26ne Yuda nga mwana wa Yakobo,

ne Yakobo nga mwana wa Isaaka, ne Isaaka nga mwana wa lbulayimu,

ne Ibulayimu nga mwana wa Teera, ne Teera nga mwana wa Nakoli,

35ne Nakoli nga mwana wa Serugi, ne Serugi nga mwana wa Lewu,

ne Lewu nga mwana wa Peregi, ne Peregi nga mwana wa Eberi,

ne Eberi nga mwana wa Seera, 363:36 a Lub 11:12 b Lub 5:28-32ne Sera nga mwana wa Kayinaani,

ne Kayinaani nga mwana wa Alupakusaadi, ne Alupakusaadi nga mwana wa Seemu,

ne Seemu nga mwana wa Nuuwa, ne Nuuwa nga mwana wa Lameka,

37ne Lameka nga mwana wa Mesuseera, ne Mesuseera nga mwana wa Enoki,

ne Enoki nga mwana wa Yaledi, ne Yaledi nga mwana wa Makalaleri,

ne Makalaleri nga mwana wa Kayinaani, 383:38 Lub 5:1, 2, 6-9ne Kayinaani nga mwana wa Enosi,

ne Enosi nga mwana wa Seezi, ne Seezi nga mwana wa Adamu,

ne Adamu nga mwana wa Katonda.

New International Version – UK

Luke 3:1-38

John the Baptist prepares the way

1In the fifteenth year of the reign of Tiberius Caesar – when Pontius Pilate was governor of Judea, Herod tetrarch of Galilee, his brother Philip tetrarch of Iturea and Traconitis, and Lysanias tetrarch of Abilene – 2during the high-priesthood of Annas and Caiaphas, the word of God came to John son of Zechariah in the wilderness. 3He went into all the country around the Jordan, preaching a baptism of repentance for the forgiveness of sins. 4As it is written in the book of the words of Isaiah the prophet:

‘A voice of one calling in the wilderness,

“Prepare the way for the Lord,

make straight paths for him.

5Every valley shall be filled in,

every mountain and hill made low.

The crooked roads shall become straight,

the rough ways smooth.

6And all people will see God’s salvation.” ’3:6 Isaiah 40:3-5

7John said to the crowds coming out to be baptised by him, ‘You brood of vipers! Who warned you to flee from the coming wrath? 8Produce fruit in keeping with repentance. And do not begin to say to yourselves, “We have Abraham as our father.” For I tell you that out of these stones God can raise up children for Abraham. 9The axe has been laid to the root of the trees, and every tree that does not produce good fruit will be cut down and thrown into the fire.’

10‘What should we do then?’ the crowd asked.

11John answered, ‘Anyone who has two shirts should share with the one who has none, and anyone who has food should do the same.’

12Even tax collectors came to be baptised. ‘Teacher,’ they asked, ‘what should we do?’

13‘Don’t collect any more than you are required to,’ he told them.

14Then some soldiers asked him, ‘And what should we do?’

He replied, ‘Don’t extort money and don’t accuse people falsely – be content with your pay.’

15The people were waiting expectantly and were all wondering in their hearts if John might possibly be the Messiah. 16John answered them all, ‘I baptise you with3:16 Or in water. But one who is more powerful than I will come, the straps of whose sandals I am not worthy to untie. He will baptise you with3:16 Or in the Holy Spirit and fire. 17His winnowing fork is in his hand to clear his threshing-floor and to gather the wheat into his barn, but he will burn up the chaff with unquenchable fire.’ 18And with many other words John exhorted the people and proclaimed the good news to them.

19But when John rebuked Herod the tetrarch because of his marriage to Herodias, his brother’s wife, and all the other evil things he had done, 20Herod added this to them all: he locked John up in prison.

The baptism and genealogy of Jesus

21When all the people were being baptised, Jesus was baptised too. And as he was praying, heaven was opened 22and the Holy Spirit descended on him in bodily form like a dove. And a voice came from heaven: ‘You are my Son, whom I love; with you I am well pleased.’

23Now Jesus himself was about thirty years old when he began his ministry. He was the son, so it was thought, of Joseph,

the son of Heli, 24the son of Matthat,

the son of Levi, the son of Melki,

the son of Jannai, the son of Joseph,

25the son of Mattathias, the son of Amos,

the son of Nahum, the son of Esli,

the son of Naggai, 26the son of Maath,

the son of Mattathias, the son of Semein,

the son of Josek, the son of Joda,

27the son of Joanan, the son of Rhesa,

the son of Zerubbabel, the son of Shealtiel,

the son of Neri, 28the son of Melki,

the son of Addi, the son of Cosam,

the son of Elmadam, the son of Er,

29the son of Joshua, the son of Eliezer,

the son of Jorim, the son of Matthat,

the son of Levi, 30the son of Simeon,

the son of Judah, the son of Joseph,

the son of Jonam, the son of Eliakim,

31the son of Melea, the son of Menna,

the son of Mattatha, the son of Nathan,

the son of David, 32the son of Jesse,

the son of Obed, the son of Boaz,

the son of Salmon,3:32 Some early manuscripts Sala the son of Nahshon,

33the son of Amminadab, the son of Ram,3:33 Some manuscripts Amminadab, the son of Admin, the son of Arni; other manuscripts vary widely.

the son of Hezron, the son of Perez,

the son of Judah, 34the son of Jacob,

the son of Isaac, the son of Abraham,

the son of Terah, the son of Nahor,

35the son of Serug, the son of Reu,

the son of Peleg, the son of Eber,

the son of Shelah, 36the son of Cainan,

the son of Arphaxad, the son of Shem,

the son of Noah, the son of Lamech,

37the son of Methuselah, the son of Enoch,

the son of Jared, the son of Mahalalel,

the son of Kenan, 38the son of Enosh,

the son of Seth, the son of Adam,

the son of God.