Lukka 22 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Lukka 22:1-71

Yuda Alya mu Yesu Olukwe

122:1 Yk 11:55Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa eyitibwa Okuyitako yali esembedde. 222:2 Mat 12:14Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka baali bakola kaweefube okusala amagezi okutta Yesu, naye nga batya abantu okusasamala. 322:3 a Mat 4:10; Yk 13:2 b Mat 10:4Awo Setaani n’ayingira mu Yuda Isukalyoti eyali omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, 422:4 nny 52; Bik 4:1; 5:24n’agenda eri bakabona abakulu n’abakuumi ba Yeekaalu abakulu, n’ateesa nabo nga bw’anaamuwaayo gye bali. 522:5 Zek 11:12Ne basanyuka nnyo, era ne bakkiriza okumusasula. 6Yuda n’akkiriza okuwaayo Yesu, n’anoonya akakisa konna mw’anaamuweerayo gye bali nga tewali kibiina.

Ekyekiro eky’Enkomerero

722:7 Kuv 12:18-20; Ma 16:5-8; Mak 14:12Awo olunaku olw’Emigaati Egitazimbulukuswa, okuttirwa omwana gw’endiga ogw’embaga y’Okuyitako, ne lutuuka. 822:8 Bik 3:1, 11; 4:13, 19; 8:14Yesu n’atuma Peetero ne Yokaana n’abagamba nti, “Mugende mututegekere ekyekiro kyaffe eky’okuyitako, tujje tukirye.”

9Ne bamubuuza nti, “Oyagala tukitegekere wa?”

10Yesu n’abaddamu nti, “Munaaba mwakayingira mu kibuga, mujja kulaba omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi ng’atambula. Mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw’anaayingira, 11mugambe nnyinimu nti, ‘Omuyigiriza atutumye gy’oli ng’agamba nti: Ekisenge ky’abagenyi kiruwa mwe nnaaliira Okuyitako n’abayigirizwa bange?’ 12Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu nga kitegekeddwa bulungi. Omwo mwe muba mutegekera.”

1322:13 Luk 19:32Ne balaga mu kibuga, ne basanga buli kimu nga Yesu bwe yabagamba. Ne bateekateeka Okuyitako.

1422:14 a Mak 6:30 b Mat 26:20; Mak 14:17, 18Awo ekiseera ky’okulya bwe kyatuuka, Yesu n’atuula n’abayigirizwa be okulya. 1522:15 Mat 16:21Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebbanga eryo lyonna mbadde ndowooza nnyo ku Kyekiro kino eky’Okuyitako, nga njagala nkirye nammwe nga sinnaba kubonyaabonyezebwa. 1622:16 Luk 14:15; Kub 19:9Kubanga mbagamba nti sigenda kuddayo kulya nammwe Okuyitako okutuusa lwe kulituukirizibwa mu bwakabaka bwa Katonda.”

17Awo Yesu n’addira ekikompe ky’envinnyo, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agamba nti, “Mukwate, munyweko mwenna. 18Kubanga mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ng’obwakabaka bwa Katonda buzze.”

1922:19 Mat 14:19Ate n’atoola omugaati, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’abagabira ng’agamba nti, “Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe muti nga munzijukira.”

2022:20 Kuv 24:8; Is 42:6; Yer 31:31-34; Zek 9:11; 2Ko 3:6; Beb 8:6; 9:15Bwe baamala okulya ekyekiro, n’addira nate ekikompe era mu ngeri y’emu n’akibakwasa ng’agamba nti, “Ekikompe kino ke kabonero ak’endagaano ya Katonda empya ekakasibwa mu musaayi gwange oguyiyibwa ku lwammwe. 2122:21 Zab 41:9Naye muwulire kino. Omuntu agenda okundyamu olukwe atudde wano nange ku mmere. 2222:22 a Mat 8:20 b Bik 2:23; 4:28Kigwanira Omwana w’Omuntu, okufa nga Katonda bwe yateekateeka. Naye zimusanze omuntu oyo amulyamu olukwe.” 23Awo abayigirizwa ne batandika okwebuuzaganya bokka na bokka nti ani ku bo ayinza okukola ekintu ng’ekyo!

Empaka ku Bukulu

2422:24 Mak 9:34; Luk 9:46Era ne batandika okuwakana bokka ne bokka, ani asinga ekitiibwa mu bo? 25Naye Yesu n’abagamba nti, “Bakabaka b’abamawanga bafuga abantu baabwe, n’ab’obuyinza ne babazunza mu kino na kiri, naye abafugibwa tebalina kya kukola wabula okubayita abayambi baabwe. 2622:26 a 1Pe 5:5 b Mak 9:35; Luk 9:48Naye mu mmwe tekisaanira kuba bwe kityo. Oyo asinga ekitiibwa mu mmwe asaana yeeyisenga ng’asembayo, n’omukulembeze mu mmwe asaana abeere ng’omuweereza wammwe. 2722:27 Mat 20:28; Luk 12:37Mu nsi muno omukungu y’atula ku mmeeza abaddu be ne bamuweereza. Naye wano mu ffe nze muweereza wammwe. 28Naye mmwe mubadde wamu nange mu biseera bino eby’okugezesebwa kwange, 2922:29 Mat 25:34; 2Ti 2:12era kubanga Kitange ampadde obwakabaka, noolwekyo mbaatulira kati nti mbawadde ekifo 3022:30 a Luk 14:15 b Mat 19:28okutuula n’okulya era n’okunywera ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange obwo, era mulituula ku ntebe ne mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri.

3122:31 a Yob 1:6-12 b Am 9:9“Simooni, Simooni, Setaani asabye okukuwewa ng’eŋŋaano, 3222:32 a Yk 17:9, 15; Bar 8:34 b Yk 21:15-17naye ggwe nkusabidde okukkiriza kwo kuleme kukuggwaamu. Era bw’olimala okwenenya, yamba mu kuzimba n’okunyweza okukkiriza kwa baganda bo.”

3322:33 Yk 11:16Awo Peetero n’addamu nti, “Mukama wange, neeteeseteese okusibirwa awamu naawe mu kkomera, era n’okufiira awamu naawe.”

34Yesu n’amuddamu nti, “Peetero, nkutegeeza nti leero ononneegaana emirundi esatu enkoko nga tennakookolima.”

3522:35 Mat 10:9, 10; Luk 9:3; 10:4Awo Yesu n’ababuuza nti, “Bwe nabatuma okubuulira Enjiri, ne mutatwala nsimbi wadde ensawo, oba omugogo omulala ogw’engatto, mwalina okwetaaga ekintu kyonna?” Ne baddamu nti, “Nedda.”

36Yesu n’abagamba nti, “Naye kaakano alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n’ensawo ng’ey’omusabiriza bwe mutyo. Atalina kitala, atunde ku ngoye ze akyegulire! 3722:37 Is 53:12Kubanga mbagamba nti kyetaagisa okutuukirizibwa mu nze ekyawandiikibwa nti, ‘Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka,’ ebinkwatako biteekwa okutuukirira.”

38Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, wano tulinawo ebitala bibiri!” N’abaddamu nti, “Bimala!”

Yesu asaba ku lusozi olwa Zeyituuni

3922:39 a Luk 21:37 b Mat 21:1Awo Yesu n’afuluma mu kibuga awamu n’abayigirizwa be n’akwata ekkubo erigenda ku lusozi olwa Zeyituuni nga bwe yali empisa ye. 4022:40 Mat 6:13Bwe yatuuka eyo n’agamba abayigirizwa be nti, “Musabe Katonda, muleme kuwangulwa kukemebwa.” 4122:41 Luk 18:11Ye n’abavaako akabanga ng’awakasukwa ejjinja, n’afukamira n’asaba nti, 4222:42 a Mat 20:22 b Mat 26:39“Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula ky’oyagala kye kiba kikolebwa.” 4322:43 Mat 4:11; Mak 1:13Awo malayika eyava mu ggulu n’ajja n’amugumya. 44Yali mu kunyolwa kunene nnyo okw’omwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo n’atuuyana n’entuuyo ezamuvaamu ne ziba ng’amatondo g’omusaayi, era ne gatonnya wansi.

45Bwe yayimuka ng’amaze okusaba n’addayo eri abayigirizwa be, naye n’abasanga nga beebase, olw’ennaku eyali ebakutte. 4622:46 nny 40N’abagamba nti, “Lwaki mwebase? Muzuukuke, musabe, muleme kuwangulwa kukemebwa.”

Yesu Akwatibwa

47Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, ekibiina ky’abantu ne batuuka nga Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi n’ababiri, y’abakulembedde. Yuda n’ajja butereevu awali Yesu, n’amunywegera. 48Naye Yesu n’amugamba nti, “Yuda, Omwana w’Omuntu omulyamu olukwe ng’omugwa mu kifuba?”

4922:49 nny 38Abayigirizwa abalala bwe baalaba ekyali kigenda okubaawo ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tubateme n’ebitala byaffe?” 50Era omu ku bo n’atemako n’ekitala okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu. 51Naye Yesu n’abagamba nti, “Temwongera kubalwanyisa.” N’akwata ku kutu kw’omusajja, n’amuwonya!

5222:52 nny 4Yesu kwe kukyukira bakabona abakulu, n’abakulu b’abakuumi ba Yeekaalu, n’abakulembeze b’Abayudaaya abaali bakulembedde ekibiina ky’abantu, n’abagamba nti, “Ndi munyazi, n’okujja ne mujja gye ndi nga mwambalidde ebitala n’emiggo? 5322:53 a Mat 26:55 b Yk 12:27 c Mat 8:12; Yk 1:5; 3:20Lwaki temwankwatira mu Yeekaalu? Nabeeranga omwo buli lunaku. Naye nammwe eno ye ssaawa yammwe, n’ekizikiza we kiragira obuyinza bwakyo.”

Peetero Yeegaana Yesu

5422:54 a Mat 26:57; Mak 14:53 b Mat 26:58; Mak 14:54; Yk 18:15Awo ne bakwata Yesu ne bamutwala mu nnyumba ya Kabona Asinga Obukulu. Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga. 55Bwe baamala okukuma omuliro wakati mu luggya ne batuula okwota; Peetero naye n’atuula wakati mu bo, n’ayota omuliro. 56Omuwala omuweereza n’amulengera ng’omuliro gumumulisizza, n’amutunuulira enkaliriza, okutuusa lwe yagamba nti, “Omusajja ono yali ne Yesu!”

57Peetero ne yeegaana nti, “Omukazi, oyo gw’oyogerako nze simumanyi.”

58Bwe waayitawo akabanga omuntu omulala n’alaba Peetero n’amugamba nti, “Naawe oli omu ku bo.” Peetero ne yeegaana nti, “Nedda, ssebo, si bwe kiri.” 5922:59 Luk 23:6Bwe waali wayiseewo ng’essaawa nnamba, omuntu omu n’ayogera ng’akakasa nti, “Ddala n’ono yali wamu ne Yesu kubanga naye Mugaliraaya.” 60Peetero n’addamu nti, “Omusajja, by’oyogerako sibimanyi!” Peetero bwe yali akyayogera enkoko n’ekookolima. 6122:61 a Luk 7:13 b nny 34Mu kaseera ako Mukama waffe n’akyuka n’atunuulira Peetero. Peetero n’ajjukira Yesu kye yagamba nti, “Enkoko eneeba tennakookolima ononneegaana emirundi esatu.” 62Awo Peetero n’afuluma okuva mu luggya n’akaaba nnyo amaziga!

Abaserikale Baduulira Yesu

63Awo abasajja abaali bakuuma Yesu ne batandika okumuduulira n’okumukuba. 64Ne bamusiba ekitambaala ku maaso ne bamukuba ebikonde, oluvannyuma ne bamubuuza nti, “Nnabbi! yogera ani akukubye?” 6522:65 Mat 16:21Ne bamuvuma n’ebigambo ebirala bingi.

Yesu mu Maaso g’Olukiiko Olukulu

6622:66 a Mat 5:22 b Mat 27:1; Mak 15:1Enkeera mu makya Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, nga lulimu bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya, ne lutuula. Yesu n’aleetebwa mu maaso g’Olukiiko olwo.

67Ne bamubuuza nti, “Obanga ggwe Kristo, tubuulire.”

Yesu n’abaddamu nti, “Bwe nnaababuulira temujja kunzikiriza, 6822:68 Luk 20:3-8ne bwe nnaababuuza ebibuuzo temujja kunnyanukula. 6922:69 Mak 16:19Naye ekiseera kituuse, Nze, Omwana w’Omuntu, okutuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna.”

7022:70 a Mat 4:3 b Mat 27:11; Luk 23:3Bonna ne baleekaana nti, “Kwe kugamba nti ggwe Mwana wa Katonda?”

Yesu n’abaddamu nti, “Nga bwe mugambye bwe ntyo bwe ndi.”

71Ne bagamba nti, “Ate twetaagira ki obujulizi obulala? Kubanga ffe ffennyini twewuliridde ng’ebigambo bino biva mu kamwa ke.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

路加福音 22:1-71

猶大出賣耶穌

1除酵節,又名逾越節,快到了。 2祭司長和律法教師因為害怕百姓,便密謀如何殺害耶穌。 3這時,撒旦進入加略猶大的心,這人原是十二使徒之一。 4他去見祭司長和聖殿護衛長,商議如何把耶穌出賣給他們, 5他們喜出望外,答應給猶大一筆酬金。 6猶大同意了,便伺機找百姓不在的場合將耶穌交給他們。

最後的晚餐

7除酵節到了,那天要宰殺逾越羊羔。 8耶穌差派彼得約翰出去,說:「你們為我們準備逾越節吃的晚餐。」

9他們問:「你要我們到哪裡去預備呢?」

10耶穌回答說:「你們進城的時候,一個男子會扛著一瓶水迎面走來,你們要跟著他,他進哪所房子,你們也進去, 11對房子的主人說,『老師問你客房在哪裡,祂要和門徒在裡面吃逾越節的晚餐。』 12那主人會帶你們到樓上一間佈置整齊的大房間,你們就在那裡預備吧。」

13他們進了城,所遇見的果然和耶穌所說的一樣。他們便在那裡預備逾越節的晚餐。

設立聖餐

14晚餐時,耶穌和使徒們一同坐席。 15耶穌對他們說:「我一直盼望在受難之前和你們同吃這個逾越節的宴席。 16我告訴你們,在這宴席成就在上帝的國度之前,我不會再吃這宴席了。」

17祂接過杯來,祝謝後,說:「你們拿去分著喝吧。 18我告訴你們,在上帝的國降臨之前,我不會再喝這葡萄酒了。」

19接著,祂拿起餅來,祝謝後,掰開遞給他們,說:「這是我為你們犧牲的身體,你們今後也要這樣做,以紀念我。」

20飯後,祂又舉起杯來,說:「這杯是用我的血立的新約,這血是為你們流的。

21「但是看啊,那出賣我之人的手和我的手都在桌子上。 22按照所定的,人子要死去,但那出賣人子的人有禍了!」 23他們開始彼此追問誰會出賣耶穌。

誰最偉大

24門徒又開始爭論他們當中誰最偉大。 25耶穌對他們說:「外族人有君王統治他們,那些統治者被稱為恩主, 26但你們不可這樣。相反,你們中間地位最高的,要像最卑微的;做首領的,要像服侍人的。 27坐著吃飯的和伺候的哪個地位高呢?難道不是坐著的那個嗎?然而,我在你們當中是服侍人的。

28「在我患難之時,你們一直在我身邊, 29所以,我父怎樣將國賜給我,我也照樣將國賜給你們, 30使你們在我的國中和我一同坐席,並且坐在寶座上審判以色列的十二個支派。」

預言彼得不認主

31耶穌說:「西門西門!撒旦已經要求像篩麥子一樣篩你們, 32但我已經為你禱告了,叫你不至於失去信心。你回頭以後,要讓你的弟兄剛強。」

33西門·彼得說:「主啊,我願意和你一起坐牢,一起受死!」

34耶穌說:「彼得,我告訴你,明早雞叫之前,你會三次不認我。」

35耶穌又問門徒:「我派你們出去的時候,無錢袋、背包和鞋子,你們有任何缺乏嗎?」

他們答道:「沒有。」

36耶穌說:「但現在如果有錢袋或背包,都要帶著;如果沒有刀劍,要賣掉衣服買刀劍。 37我告訴你們,『祂要被列在罪犯中』這句經文必在我身上應驗,因為聖經上有關我的事情快要實現了。」

38他們說:「主啊,請看,這裡有兩把刀。」耶穌說:「夠了。」

橄欖山上的禱告

39耶穌離開,像往常一樣前往橄欖山,門徒也跟去了。 40到了山上,祂對門徒說:「你們要禱告,以免陷入誘惑!」

41然後,祂獨自走到離門徒約有扔一塊石頭那麼遠的地方跪下禱告: 42「父啊,若你願意,求你撤去此杯,然而,願你的旨意成就,而非我的意願。」 43有一位從天上來的天使向祂顯現,給祂加添力量。

44祂心中極其悲痛,禱告更懇切,汗珠如血滴在地上。

45祂禱告完後,便起身回到門徒那裡,看見他們因憂愁而疲憊地睡著了, 46就說:「你們為什麼睡覺呢?要起來禱告,以免陷入誘惑!」

耶穌被捕

47耶穌還在說話的時候,十二使徒中的猶大已帶著一群人趕到,他上前親吻耶穌。 48耶穌對他說:「猶大,你用親吻的暗號來出賣人子嗎?」

49跟隨耶穌的人見他們來勢洶洶,就說:「主啊,我們該拔刀抵抗嗎?」 50其中一人拔刀朝大祭司的奴僕砍過去,削掉了他的右耳。

51耶穌卻說:「住手!夠了!」於是祂摸那奴僕的耳朵,治好了他, 52然後對前來抓祂的祭司長、聖殿護衛長和長老說:「你們像對付強盜一樣拿著刀棍來抓我嗎? 53我天天和你們一起在聖殿裡,你們沒有抓我。但現在正是黑暗當權、你們得勢的時候了!」

彼得不認主

54他們把耶穌押到大祭司的府第。彼得遠遠地跟在後面。

55他們在庭院當中生起了火,圍坐取暖,彼得也坐在他們中間。 56有個婢女看見彼得坐在火堆邊,打量他一番後,說:「這人是與耶穌一夥的!」

57彼得卻否認說:「你這女子,我不認識祂。」

58過了一會兒,又有個人看見了彼得,就說:「你也是跟他們一夥的!」

彼得說:「你這人,我不是!」

59大約一小時之後,又有人指著彼得肯定地說:「這人確實是和耶穌一夥的,因為他也是加利利人。」

60彼得說:「你這人,我不知道你在說什麼!」話才出口,雞就叫了。

61這時,主轉過頭來望著彼得彼得想起主對他說的話:「明早雞叫之前,你會三次不認我。」 62他就到外面,痛哭起來。

在公會受審

63看守耶穌的人嘲弄祂,毆打祂, 64蒙住祂的眼睛,對祂說:「說預言吧!是誰在打你?」 65還說了許多侮辱祂的話。

66天亮後,民間的長老、祭司長和律法教師聚在一起,把耶穌押到他們的公會, 67對祂說:「如果你是基督,就告訴我們。」

耶穌說:「即使我告訴你們,你們也不會相信。 68如果我問你們,你們也不會回答。 69但從今以後,人子要坐在全能上帝的右邊。」

70他們都問:「那麼,你是上帝的兒子嗎?」耶穌回答說:「你們說我是。」

71他們說:「我們還需要什麼見證呢?我們已經聽見祂自己說的了。」