Lukka 18 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Lukka 18:1-43

Olugero lwa Nnamwandu n’Omulamuzi

118:1 Is 40:31; Luk 11:5-8; Bik 1:14; Bar 12:12; Bef 6:18; Bak 4:2; 1Bs 5:17Awo Yesu n’agerera abayigirizwa be olugero ng’agamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo, ng’agamba nti, 2“Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, nga tatya Katonda era nga tafa ku muntu yenna. 318:3 Is 1:17Mu kibuga ekyo mwalimu nnamwandu eyajjanga ew’omulamuzi oyo buli lunaku ng’amwegayirira nti, ‘Nnamula n’omulabe wange.’

4“Omulamuzi n’amala ebbanga ng’akyagaanyi. Naye oluvannyuma n’agamba mu mutima gwe nti, ‘Newaakubadde nga sitya Katonda era nga sirina muntu gwe nzisaamu kitiibwa, 518:5 Luk 11:8naye olwokubanga nnamwandu ono aneetayiridde nnyo, nzijja kumumalira ensonga ze, kubanga ajja kunkooya olw’okuneetayirira ng’ajja gye ndi buli lunaku!’ ”

618:6 Luk 7:13Awo Mukama waffe n’agamba nti, “Muwulire omulamuzi atali wa mazima bw’agamba. 718:7 Kuv 22:23; Zab 88:1Kale Katonda talisingawo nnyo kulamula abantu be, be yeerondera, abamukaabirira emisana n’ekiro ate ng’abagumiikiriza? 818:8 a Mat 8:20 b Mat 16:27Mbagamba nti agenda kubalamula mangu. Naye Omwana w’Omuntu, bw’alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”

918:9 a Luk 16:15 b Is 65:5Awo Yesu n’agerera olugero luno abo abeerowooza nga batuukirivu nga banyoomoola n’abantu abalala, n’agamba nti, 1018:10 Bik 3:1“Abantu babiri baayambuka mu Yeekaalu okusaba, omu yali Mufalisaayo n’omulala nga muwooza. 1118:11 Mat 6:5; Mak 11:25Omufalisaayo n’ayimirira n’atandika okusaba nga yeeyogerako nti, ‘Nkwebaza, Katonda, kubanga sifaanana ng’abantu abalala: ab’omululu, abalyazaamaanyi, abenzi, oba omuwooza ono. 1218:12 a Is 58:3; Mat 9:14 b Mal 3:8; Luk 11:42Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, era mpaayo eri Katonda, ekimu eky’ekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’

1318:13 a Is 66:2; Yer 31:19; Luk 23:48 b Luk 5:32; 1Ti 1:15“Naye omuwooza n’ayimirira wala n’atasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ng’asaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ng’asaba nti, ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’

1418:14 Mat 23:12; Luk 14:11“Mbagamba nti omusajja ono, omuwooza ye yaddayo eka ng’asonyiyiddwa ebibi bye. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”

Yesu n’Abaana Abato

15Lumu ne wabaawo abaaleetera Yesu abaana baabwe abato abakwateko abawe omukisa. Naye abayigirizwa bwe baakiraba ne bajunga abaabaleeta. 16Naye Yesu abaana n’abayita, n’agamba nti, “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga abali nga bano be b’obwakabaka bwa Katonda. 1718:17 Mat 11:25; 18:3Ddala ddala mbagamba nti atayaniriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, talibuyingiramu n’akatono.”

Omukungu Omugagga

1818:18 Luk 10:25Awo omu ku bakulembeze b’Abayudaaya n’abuuza Yesu nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” 19Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ompita omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka. 2018:20 Kuv 20:12-16; Ma 5:16-20; Bar 13:9Amateeka ogamanyi nti, ‘Toyendanga, tottanga, tobbanga, tolimbanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ”

21N’amuddamu nti, “Amateeka ago gonna ngagondedde ebbanga lyonna okuva mu buto bwange.”

2218:22 a Bik 2:45 b Mat 6:20Yesu bwe yawulira ebyo, n’amugamba nti, “Okyabulako ekintu kimu. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, olibeera n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”

23Naye bwe yawulira ebigambo ebyo n’agenda ng’anakuwadde nnyo, kubanga yali mugagga nnyo. 2418:24 Nge 11:28Yesu bwe yamulaba ng’anakuwadde nnyo, n’ayogera nti, “Nga kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”

26Abo abaawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?”

2718:27 Mat 19:26Yesu n’addamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”

2818:28 Mat 4:19Peetero n’amugamba nti, “Ffe twalekawo ebyaffe byonna ne tukugoberera!”

29Yesu n’addamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti teri muntu n’omu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olw’obwakabaka bwa Katonda, 3018:30 a Mat 12:32 b Mat 25:46atalifuna mirundi mingi n’okusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.”

Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe

3118:31 a Luk 9:51 b Zab 22; Is 53 c Mat 8:20Awo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa. 3218:32 Luk 23:1Ajja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu, 3318:33 a Mat 16:21 b Bik 2:23 c Mat 16:21 d Mat 16:21balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”

3418:34 Mak 9:32; Luk 9:45Naye abayigirizwa be tebaategeera ky’agamba, amakulu gaakyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera bye yayogera.

Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso Omusabiriza

3518:35 Luk 19:1Awo Yesu bwe yali ng’asemberera Yeriko, ne wabaawo omusajja omuzibe w’amaaso eyali atudde ku kkubo ng’asabiriza. 36Awo omusajja oyo bwe yawulira ng’ekibiina ky’abantu bayitawo, n’abuuza nti, “Kiki ekyo?” 3718:37 Luk 19:4Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi ye ayitawo.”

3818:38 a nny 39; Mat 9:27 b Mat 17:15; nny 13Omuzibe w’amaaso n’akoowoola nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!” 3918:39 nny 38Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike, kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Omwana wa Dawudi, onsaasire!”

40Awo Yesu n’ayimirira, n’alagira, omusajja bamumuleetere. Bwe yasembera, Yesu n’amubuuza nti, 41“Kiki ky’oyagala nkukolere?” Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, njagala nziremu okulaba!” 4218:42 Mat 9:22Yesu n’amugamba nti, “Ddamu okulaba. Okukkirizakwo kukuwonyezza.” 4318:43 Mat 9:8; Luk 13:17Amangwago n’addamu okulaba, n’agoberera Yesu ng’atendereza Katonda. Bonna abaakiraba ne batendereza Katonda.