Lukka 17 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Lukka 17:1-37

Ekibi, Okukkiriza, Omulimu

117:1 a Mat 5:29 b Mat 18:7Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebikemo ebireetera abantu okwonoona tebiyinza butajja, naye zimusanze omuntu oyo abireeta. 217:2 a Mak 10:24; Luk 10:21 b Mat 5:29Ekyandisinze kwe kusiba olubengo mu bulago bwe n’asuulibwa mu nnyanja okusinga okwesittaza omu ku baana bano abato. 317:3 a Mat 18:15 b Bef 4:32; Bak 3:13Mwekuume.

“Muganda wo bw’ayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga. 417:4 Mat 18:21, 22Ne bw’akusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi n’ajja gy’oli n’akwenenyeza, musonyiwenga.”

517:5 a Mak 6:30 b Luk 7:13Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “Twongereko okukkiriza.”

617:6 a Mat 13:31; 17:20; Luk 13:19 b Mat 21:21; Mak 9:23Mukama waffe n’abagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.

7“Naye ani ku mmwe, ng’omuddu we yaakakomawo okuva okulima oba okulunda endiga, amugamba nti, ‘Jjangu mangu otuule ku mmere?’ 817:8 Luk 12:37Tamugamba nti, ‘Teekateeka emmere yange, weerongoose olabike bulungi, olyoke ompeereze nga ndya era nga nnywa, bwe nnaamala naawe n’onywa era n’olya emmere yo?’ 9Mulowooza nti Mukama w’omuweereza oyo amwebaza olw’okugondera bye yalagirwa okukola? 1017:10 1Ko 9:16Nammwe bwe mutyo bwe mumalanga okutuukiriza ebyo ebyabagambibwa okukola, mugambenga nti, ‘Ffe abaddu bo abatasaanira tukoze omulimu gwaffe ogutugwanidde.’ ”

Abagenge Kkumi Bawonyezebwa

1117:11 a Luk 9:51 b Luk 9:51, 52; Yk 4:3, 4Awo Yesu bwe yali yeeyongerayo mu lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi, n’akwata ekkubo eriyita wakati wa Ggaliraaya ne Samaliya. 1217:12 a Mat 8:2 b Lv 13:45, 46Awo bwe yayingira mu kabuga akamu, abasajja kkumi nga bonna bagenge ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako 1317:13 Luk 5:5ne bakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa!”

1417:14 Lv 14:2; Mat 8:4Yesu bwe yabalaba n’abagamba nti, “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu.

1517:15 Mat 9:8Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye n’akomawo eri Yesu nga bw’aleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda. 1617:16 Mat 10:5N’agwa wansi ku bigere bya Yesu ng’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.

17Yesu n’agamba nti, “Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa? 18Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka y’akomyewo?” 1917:19 Mat 9:22Awo Yesu n’amugamba nti, “Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.”

Okujja kw’Obwakabaka bwa Katonda

2017:20 Mat 3:2Awo Abafalisaayo ne babuuza Yesu nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” Yesu n’abaddamu nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebulabika nga bujja, 2117:21 nny 23era abantu tebagenda kugamba nti, ‘Laba buubuno wano,’ oba nti, ‘Buubuli wali,’ kubanga obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.”

2217:22 a Mat 8:20 b Mat 9:15; Luk 5:35Oluvannyuma n’agamba abayigirizwa be nti, “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu, ku nnaku z’Omwana w’Omuntu, naye temulirulaba. 2317:23 Mat 24:23Balibagamba nti lwe luno era nti lwe luli temugendanga era temubagobereranga. 2417:24 Mat 24:27Kubanga ng’eggulu bwe limyansiza ku ludda olumu olw’eggulu ate ne limyansiza ku ludda olulala olw’eggulu, bw’atyo bw’aliba Omwana w’Omuntu ku lunaku lwe, 2517:25 a Mat 16:21 b Luk 9:22; 18:32 c Mak 13:30; Luk 21:32Naye okusooka kimugwanira okubonaabona mu bintu bingi, n’okugaanibwa, abantu ab’omulembe guno.

2617:26 Lub 7:6-24“Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, era bwe kityo bwe kiriba ne mu biseera by’Omwana w’Omuntu. 27Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu.

2817:28 Lub 19:1-28“Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba, 29okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro n’olunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu.

3017:30 Mat 10:23; 16:27; Kub 1:7“Bwe bityo bwe biriba ku lunaku, Omwana w’Omuntu lw’alirabikirako. 3117:31 Mat 24:17, 18; Mak 13:15-16Ku lunaku olwo omuntu yenna aliba waggulu ku nju, takkanga mu nju munda kuggyamu bintu bye. N’abo abaliba mu nnimiro tebaddangayo eka okubaako ne bye banonayo. 3217:32 Lub 19:26Mujjukire mukazi wa Lutti! 3317:33 Yk 12:25Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya. 34Mbagamba nti ku lunaku olwo abantu babiri baliba ku kitanda kimu, Omu alitwalibwa naye munne n’alekebwa. 3517:35 Mat 24:41Abantu babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa. 36Abasajja babiri baliba mu nnimiro, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa.”

3717:37 Mat 24:28Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, nga batwalibwa wa?”

Yesu n’abaddamu nti, “Awaba ekifudde awo ensega17:37 Empungu mu Luyonaani, naye e Buganda okusinga tulina nsega we zirikuŋŋaanira!”