Lukka 16 – LCB & HHH

Luganda Contemporary Bible

Lukka 16:1-31

Omuwanika Omukalabakalaba

116:1 Luk 15:13, 30Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Waaliwo omusajja omugagga ng’alina omuwanika we amulabiririra ebintu bye. Ne wabaawo abaamuloopera nti omuwanika oyo yali asaasaanya ebintu bye, ng’abidiibuuda. 2Mukama we n’amuyita n’amubuuza nti, ‘Biki ebyo bye nkuwulirako? Kale genda otegeke lipoota y’ebintu byange nga bwe biri ogindeetere. Omulimu gukufudde.’

3“Omuwanika n’alowooza mu mutima gwe, nga yeebuuza nti, ‘Kale kaakano nkole ntya? Mukama wange wuuno angoba ku mulimu. Sirina maanyi galima, n’okusabiriza kunkwasa ensonyi. 4Ekinaasobozesa abantu okunsembeza mu maka gaabwe, nga bwe ngobeddwa ku mulimu, nkifunye.’

5“N’agenda ng’ayita buli eyalina ebbanja ku mukama we. Gwe yasookerako n’amubuuza nti, ‘Ebbanja mukama wange ly’akubanja lyenkana wa obunene?’ ”

6“Omusajja n’addamu nti, ‘Ammanja endebe z’omuzigo kikumi mu ataano.’ Omuwanika n’amugamba nti, ‘Kwako empapula zo kw’obanjirwa ogende owandiike endebe amakumi ataano.’

7“Omuwanika n’adda ku wookubiri n’amubuuza nti, ‘Ggwe obanjibwa ki?’

“N’addamu nti, ‘Ebigera by’obuwunga bw’eŋŋaano kikumi.’ ”

“Omuwanika n’amugamba nti, ‘Kwako empapula zo kw’obanjirwa, owandiike endala osseeko ebigera kinaana.’

816:8 a Zab 17:14 b Zab 18:26 c Yk 12:36; Bef 5:8; 1Bs 5:5“Mukama we n’atenda nnyo omuwanika we atali mwesigwa olw’obukalabakalaba bwe. Kubanga abaana b’omulembe guno bagezigezi okusinga abaana b’omusana ab’omu mulembe gwabwe.”

Enkozesa y’Obugagga Entuufu

916:9 a nny 11, 13 b Mat 19:21; Luk 12:33“Era mbategeeza nti mwefunire emikwano mu bugagga obutali butuukirivu, bwe buliggwaawo balyoke babasembeze mu weema ezitaggwaawo. 1016:10 Mat 25:21, 23; Luk 19:17Omuntu omwesigwa mu kintu ekitono, abeera mwesigwa ne mu kinene; n’oyo ataba mwesigwa mu kitono era ne mu kinene taba mwesigwa. 1116:11 nny 9, 13Kale obanga temwesigibwa mu bugagga obutali butuukirivu, ani agenda okubeesiga mu bugagga obw’amazima? 12Obanga toli mwesigwa ku by’omulala, kale ani alikwesiga n’akukwasa ebibyo?

1316:13 nny 9, 11; Mat 6:24“Tewali muddu ayinza kuweereza bakulu babiri. Kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala, oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.”

Amateeka ga Musa n’Obwakabaka bwa Katonda

1416:14 a 1Ti 3:3 b Luk 23:35Awo Abafalisaayo, abaali abaluvu b’ensimbi, bwe baawulira ebigambo ebyo ne banyooma Yesu. 1516:15 a Luk 10:29 b 1Sa 16:7; Kub 2:23N’abagamba nti, “Mmwe mweraga mu bantu, naye Katonda amanyi emitima gyammwe. Okwerimbalimba kwammwe kubaweesa ekitiibwa mu maaso g’abantu, naye nga kya muzizo eri Katonda.

1616:16 a Mat 11:12, 13 b Mat 4:23“Yokaana Omubatiza bwe yali nga tannabuulira, amateeka n’obubaka bwa bannabbi byabuulirwa. Naye okuva olwo obwakabaka bwa Katonda bubuulirwa, ne buli muntu ayitibwa abuyingiremu mu bwangu ddala. 1716:17 Mat 5:18Naye kyangu eggulu n’ensi okuggwaawo okusinga n’akatundu k’ennukuta emu ey’amateeka okuggwaawo.

1816:18 Mat 5:31, 32; 19:9; Mak 10:11; Bar 7:2, 3; 1Ko 7:10, 11“Omusajja yenna agoba mukazi we n’awasa omulala aba ayenze; n’oyo awasa omukazi agobeddwa, naye aba ayenze.”

Omugagga ne Laazaalo

1916:19 Ez 16:49Awo Yesu n’abagamba nti, “Waaliwo omusajja omugagga ennyo, eyayambalanga engoye ez’effulungu ne linena era bulijjo ng’abeera mu masanyu era ng’alya ebyassava. 2016:20 Bik 3:2Waaliwo n’omusajja omwavu erinnya lye nga ye Laazaalo nga mulwadde ng’ajjudde amabwa ku mubiri gwe, eyateekebwanga ku mulyango gw’omusajja omugagga. 2116:21 Mat 15:27Laazaalo ne yeegombanga okulya obukunkumuka obwagwanga wansi nga buva ku mmeeza ya nnaggagga. N’embwa zajjanga ne zikomberera amabwa ga Laazaalo.

22“Ekiseera kyatuuka omusajja omwavu n’afa, bamalayika ne bamutwala mu kifuba kya Ibulayimu. Oluvannyuma n’omugagga naye n’afa, n’aziikibwa. 23Naye ng’ali eyo mu magombe mu kubonaabona, n’atunula waggulu n’alaba Laazaalo ng’ali mu kifuba kya Ibulayimu. 2416:24 a nny 30; Luk 3:8 b Mat 5:22N’akoowoola nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, ontumire Laazaalo oyo annyike olugalo Lwe mu mazzi, nkombeko, naye olulimi lumbabuukirira nnyo mu muliro guno ogumbonyaabonya!’

2516:25 a Zab 17:14 b Luk 6:21, 24, 25“Naye Ibulayimu n’amuddamu nti, ‘Mwana wange, jjukira nga mu biseera byo ng’okyali mulamu wafuna ebirungi bye weetaaganga, naye nga Laazaalo ye afuna bibi. Kaakano Laazaalo asanyusibwa naye gwe oli mu kubonaabona. 26Ate n’ekirala, wakati waffe nammwe waliwo olukonko luwanvu nnyo olutwawula, omuntu ali eno bw’ayagala okujja eyo akoma awo ku mugo gwalwo, n’oyo ali eyo ayagala okujja eno tasobola.’

27“Awo nnaggagga n’ayaziirana nti, ‘Ayi kitange Ibulayimu, nkwegayiridde ntumira Laazaalo oyo mu maka ga kitange, 2816:28 Bik 2:40; 20:23; 1Bs 4:6kubanga nninayo abooluganda bataano, abandabulire, bwe balifa baleme kujja mu kifo kino ekirimu okubonaabona okwenkanidde wano.’ 2916:29 a Luk 24:27, 44; Yk 5:45-47; Bik 15:21 b Luk 4:17; Yk 1:45Naye Ibulayimu n’amugamba nti, ‘Balina Musa ne bannabbi, kale bawulire abo.’

3016:30 nny 24; Luk 3:8“Omugagga n’addamu nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu, singa batumirwa omuntu ng’ava mu bafu, bajja kwenenya.’

31“Awo Ibulayimu n’amugamba nti, ‘Obanga tebagondera Musa ne bannabbi, newaakubadde alizuukira okuva mu bafu talibakkirizisa.’ ”

Habrit Hakhadasha/Haderekh

הבשורה על-פי לוקס 16:1-31

1ישוע סיפר לתלמידיו את המשל הבא: ”לעשיר אחד היה עובד שניהל את הונו. יום אחד הגיעו שמועות לאוזני העשיר שמנהל עסקיו בוגד בו ומבזבז את רכושו וכספו.

2”קרא אליו העשיר את המנהל ואמר: ’שמעתי שאתה מרמה אותי ומועל באמוני. הכן לי דו״ח על מצב העסקים, משום שאני עומד לפטר אותך‘.

3”מנהל העסקים חשב לעצמו: ’מה אעשה לאחר שמעבידי יפטר אותי? אין לי כוח לעבוד עבודה פיזית, ואילו לבקש נדבות זה לא בכבוד שלי. 4יש לי רעיון! אני יודע מה אעשה כדי שאנשים יאספו אותי אל בתיהם לאחר שיפטרו אותי‘.

5”הוא הזמין אליו כל אחד מהאנשים שהיו חייבים כסף לאדוניו. ’כמה אתה חייב לאדוני?‘ שאל את הראשון. 6’מאה חביות שמן‘, ענה בעל החוב. ’נכון. קח את שטר־החוב שלך, קרע אותו וכתוב שטר חדש על חמישים חביות בלבד!‘

7” ’וכמה אתה חייב לאדוני?‘ שאל מנהל העסקים את בעל החוב הבא. ’מאה שקי חיטה‘, השיב האיש. אמר לו מנהל העסקים: ’קח את השטר הזה וכתוב במקומו שטר התחייבות על שמונים שקים בלבד‘.

8”האיש העשיר התפעל מעורמתו של המנהל שלו, שהרי בני העולם הזה יותר פיקחים מבני האור. 9מוסר ההשכל הוא זה: השתמשו במשאבים החומריים שלכם כדי לעזור לאחרים ולהשקיע במערכות יחסים. כי כאשר רכושכם בעולם הזה יאזל לכם, חבריכם יקבלו אתכם בשמחה לביתכם הנצחי.

10”מי שמרמה בדבר פעוט ירמה בדבר גדול. מי שמוכיח את יושרו ונאמנותו בדבר פעוט יהיה ישר ונאמן גם בדברים גדולים. 11ואם אי־אפשר לסמוך עליכם ולהפקיד בידיכם עושר הבא מן העולם הזה, מי יפקיד בידיכם את העושר האמיתי הבא מן השמים? 12ואם אי־אפשר לסמוך עליכם במה שנוגע לרכושם של אחרים, מי ייתן לכם רכוש משלכם?

13”אינך יכול לשרת שני אדונים; אתה תשנא את האחד ותאהב את האחר, או להיפך – תהיה נאמן לאחד ותזלזל באחר. אינך יכול לעבוד את האלוהים ואת הכסף!“

14הפרושים אהבו מאוד את כספם ולכן לעגו לישוע.

15אולם ישוע אמר להם: ”בפני הציבור אתם מעמידים פני צדיקים תמימים, אבל אלוהים יודע היטב מה מתרחש בלבכם. העמדת הפנים שלכם רכשה לכם כבוד בעיני בני־אדם, אולם היא שנואה ומתועבת בעיני אלוהים.

16”התורה והנביאים התבשרו עד ימי יוחנן המטביל. מאז, בשורת מלכות האלוהים מוכרזת ואנשים מתאמצים להיכנס אליה. 17אולם נקל יותר שהשמים והארץ ייעלמו מאשר שפרט קטן בתורה יאבד מאמיתותו.

18”איש שמגרש את אשתו ומתחתן עם אחרת הוא נואף. גם מי שמתחתן עם גרושה הוא נואף.“

19”פעם היה איש עשיר,“ סיפר ישוע, ”שהתלבש בצורה מפוארת ובילה את ימיו בעונג, בשחצנות ובבזבוז. 20בשער ביתו המפואר שכב קבצן אחד שהיה מכוסה כולו פצעים. ’אלעזר‘ קראו לו. 21הוא השתוקק להשביע את רעבונו מהפירורים שנפלו משולחנו של העשיר, והכלבים היו באים ומלקקים את פצעיו. 22יום אחד מת אלעזר הקבצן, והמלאכים נשאוהו אל חיק אברהם אבינו. כעבור זמן־מה מת גם העשיר, 23אולם הוא נלקח אל הגיהינום, שם התענה עינויים גדולים. כשהרים את ראשו בכאב, ראה מרחוק את אלעזר בחיקו של אברהם.

24” ’אברהם, אבי‘, קרא העשיר, ’אנא, רחם עלי. שלח אלי את אלעזר כדי שיטבול את אצבעו במים ויקרר את לשוני, כי אני מתענה באש הנוראה הזאת‘.

25”אולם אברהם ענה לו: ’בני, אל תשכח שנהנית בחייך מכל טוב, ואילו אלעזר סבל עוני וחולי. עכשיו התהפך הגלגל – אלעזר מנוחם ואילו אתה מתענה. 26מלבד זאת, תהום גדולה מפרידה בינינו. איש מאיתנו אינו יכול לעבור אליכם ואיש מכם אינו יכול לעבור אלינו‘.

27‏-28” ’אם כך, אבי‘ התחנן העשיר, ’עשה לי טובה; שלח בבקשה את אלעזר אל בית אבי, כדי שיזהיר את חמשת אחי מפני המקום הנורא הזה‘.

29”אולם אברהם השיב לו: ’כתבי־הקודש הזהירו את אחיך פעמים רבות. אחיך יכולים לקרוא את דברי משה והנביאים בכל עת שירצו‘.

30” ’אני מכיר אותם היטב‘, אמר לו העשיר. ’הם לא יטרחו לקרוא את דברי הנביאים. אבל אם יבוא אליהם מישהו מן המתים הם יחזרו בתשובה‘.

31”אך אברהם השיב: ’אם הם לא הקשיבו למשה ולנביאים, הם לא יקשיבו גם למי שיקום מן המתים‘. “