Lukka 11 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Lukka 11:1-54

Yesu Ayigiriza Okusaba

111:1 a Luk 3:21 b Yk 13:13Awo olwatuuka Yesu ng’ali mu kifo ekimu ng’asaba, bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusaba nga Yokaana bwe yayigiriza abayigirizwa be.”

211:2 Mat 3:2N’abagamba nti, “Bwe mubanga musaba mugambanga nti,

“ ‘Kitaffe,11:2 Ebitabo ebimu bigamba Kitaffe ali mu ggulu

Erinnya lyo litukuzibwe,

obwakabaka bwo bujje.

3Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey’olunaku.

411:4 a Mat 18:35; Mak 11:25 b Mat 26:41; Yak 1:13Era otusonyiwe ebyonoono byaffe,

nga naffe bwe tusonyiwa abatukolako ebisobyo.

So totutwala mu kukemebwa.’ ”

5Ate n’abagamba nti, “Singa omu ku mmwe alina mukwano gwe, n’ajja gy’ali ekiro mu ttumbi n’amugamba nti, ‘Mukwano gwange, nkusaba ompoleyo emigaati esatu, 6kubanga nfunye omugenyi, mukwano gwange avudde lugendo, naye sirina kyakulya kya kumuwa.’ ”

7“Oli ali munda mu nju bw’ayanukula nti, ‘Tonteganya. Twasibyewo dda, ffenna n’abaana bange twebisse. Noolwekyo siyinza kugolokoka kaakano ne mbaako kye nkuwa.’ 811:8 Luk 18:1-6Naye mbategeeza nti, Newaakubadde nga tagolokoka n’amuyamba nga mukwano gwe, naye, singa akonkona n’amwetayirira, alwaddaaki agolokoka n’amuwa by’amusabye.

911:9 Mat 7:7“Bwe ntyo mbagamba nti, musabe munaaweebwa, munoonye mulizuula, mukonkone era munaggulirwawo. 10Kubanga buli asaba, aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, era n’oyo akonkona aggulirwawo.

11“Ani ku mmwe kitaawe w’omwana, omwana we ng’amusabye ekyennyanja, mu kifo ky’ekyennyanja n’amuwa omusota? 12Oba ng’amusabye eggi n’amuwa enjaba? 13Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?”

Yesu ne Beeruzebuli

1411:14 Mat 9:32, 33Lwali lumu Yesu n’agoba dayimooni ku musajja eyali tayogera. Dayimooni bwe yamuvaako, omusajja oyo n’ayogera, ekibiina ky’abantu ne beewuunya. 1511:15 a Mak 3:22 b Mat 9:34Naye abantu abamu ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni, kubanga amaanyi g’akozesa agaggya wa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni!” 1611:16 Mat 12:38Abalala ne bamusaba akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa.

1711:17 Mat 9:4Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, kwe kubagamba nti, “Obwakabaka bwe bulwanagana bwokka, buba bwolekedde kuzikirira, amaka bwe gayawukanamu gokka ne gokka gasasika. 1811:18 Mat 4:10Noolwekyo, singa Setaani yeerwanyisa yekka obwakabaka bwe buyinza butya okuyimirirawo? Kubanga mugamba nti ngoba baddayimooni ku lwa Beeruzebuli. 19Era obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli kale abaana bammwe bo babagoba ku bw’ani? Be bagenda okubasalira omusango. 2011:20 a Kuv 8:19 b Mat 3:2Naye obanga ngoba baddayimooni mu buyinza bwa Katonda, ekyo kikakasa nti obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.

21“Kubanga omuntu ow’amaanyi bw’akuuma amaka ge, nga yenna yeesibye ebyokulwanyisa eby’amaanyi, tewaba ayinza kumutwalako bintu bye. 22Naye omuntu omulala amusinza amaanyi bw’amulumba amuggyako ebyokulwanyisa bye, bye yali yeesiga, n’atwala ebintu bye byonna, n’abigabira abalala.

2311:23 Mat 12:30; Mak 9:40; Luk 9:50“Oyo atali ku ludda lwange, mulabe wange, n’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.

24“Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwummulira. Bwe gubulwa, gugamba nti, ‘Nzija kuddayo mu nnyumba mwe nava.’ 25Bwe guddayo gusanga ennyumba ng’eyereddwa era nga ntegeke. 2611:26 2Pe 2:20Kyeguva gugenda ne gufunayo emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingirira omuntu oyo. Kale embeera y’omuntu oyo ey’oluvannyuma n’ebeera mbi nnyo okusinga eyasooka.”

2711:27 Luk 23:29Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera ebigambo ebyo, omukazi eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu nti, “Lulina omukisa olubuto olwakuzaala, n’amabeere kwe wayonka!”

2811:28 a Beb 4:12 b Nge 8:32; Luk 6:47; 8:21; Yk 14:21Naye Yesu n’addamu nti, “Weewaawo, naye balina omukisa abo bonna abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”

Akabonero ka Yona

2911:29 a nny 16; Mat 12:38 b Yon 1:17; Mat 16:4Awo abantu bwe beeyongera okukuŋŋaana abangi, Yesu n’abayigiriza ng’agamba nti, “Omulembe guno mulembe mubi. Gunoonya akabonero, naye tegujja kukaweebwa okuggyako akabonero aka Yona. 30Kubanga Yona nga bwe yali akabonero eri abantu b’e Nineeve, n’Omwana w’Omuntu, bw’ajja okuba eri ab’omulembe guno. 3111:31 1Bk 10:1; 2By 9:1Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, naye oyo asinga Sulemaani ali wano. 3211:32 Yon 3:5Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona Naye laba asinga Yona ali wano.”

Ettaala y’Omubiri

3311:33 Mat 5:15; Mak 4:21; Luk 8:16“Omuntu takoleeza ttaala n’agikweka, oba n’agivuunikako ekibbo! Naye agiwanika ku kikondo ky’ettaala n’emulisiza bonna abayingira basobole okulaba. 34Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo. Eriiso bwe liba eddamu, n’omubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana. Naye eriiso bwe liba eddwadde, omubiri gwo gujjula ekizikiza. 35Noolwekyo weekuume ekizikiza kireme kugoba musana oguli mu ggwe. 36Singa omubiri gwo gwonna gujjula omusana, ne gutabaamu kizikiza n’akatono gujja kwakaayakana nga gwe bamulisizzaamu ettaala.”

3711:37 Luk 7:36; 14:1Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, Omufalisaayo n’amuyita okulya emmere mu maka ge, bw’atyo n’agenda n’ayingira n’atuula okulya. 3811:38 Mak 7:3, 4Naye Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba nga Yesu atandise okulya nga tasoose kunaaba mu ngalo, ne yeewuunya.

3911:39 a Luk 7:13 b Mat 23:25, 26; Mak 7:20-23Awo Mukama waffe n’amugamba nti, “Mmwe Abafalisaayo, munaaza kungulu ku kikopo ne ku ssowaani, naye nga munda wammwe mujjudde omululu n’ebitali bya butuukirivu. 4011:40 Luk 12:20; 1Ko 15:36Basirusiru mmwe eyakola ebweru si ye yakola ne munda? 4111:41 a Luk 12:33 b Bik 10:15Naye singa munaddira ebiri munda ne mubiwaayo ng’ekiweebwayo, olwo buli kintu kinaaba kirongoofu eri Katonda.

4211:42 a Luk 18:12 b Ma 6:5; Mi 6:8 c Mat 23:23“Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kyonna kye mufuna, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, naye ne mutassaayo mwoyo ku bwenkanya n’okwagala Katonda. Kirungi okukola ebyo byonna, naye era n’ebirala temusaanye kubiragajjalira.

4311:43 Mat 23:6, 7; Mak 12:38-39; Luk 14:7; 20:46“Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga mwagala nnyo okutuula ku ntebe ez’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro, era n’okulamusibwa mu butale ng’abantu babawa ekitiibwa.

4411:44 Mat 23:27“Zibasanze! Kubanga muli ng’amalaalo, agatalabika abantu kwe batambulira ng’ekiri munda tebakimanyi.”

4511:45 Mat 22:35Omu ku bannyonnyozi b’amateeka n’amwanukula nti, “Omuyigiriza bw’oyogera bw’otyo naffe oba ng’atuvumiddemu.”

4611:46 Mat 23:4Yesu n’amuddamu nti, “Nammwe zibasanze abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mutikka abantu emigugu emizito egy’amateeka g’eddiini, so nga mmwe temusobola na kukwata na lugalo lwammwe ku migugu egyo.

47“Zibasanze! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, so nga bajjajjammwe be baabatta. 4811:48 Mat 23:29-32; Bik 7:51-53Noolwekyo mulaga nga bwe muwagira ebikolwa bya bajjajjammwe eby’obutemu. Bo batta ate mmwe ne muzimba ebijjukizo. 4911:49 a 1Ko 1:24, 30; Bak 2:3 b Mat 23:34Noolwekyo Katonda mu magezi ge, kyeyava agamba nti, ‘Ndibaweereza bannabbi n’abatume, abamu balibatta n’abalala balibayigganya.’ 50Era ab’omulembe guno kyemuliva muvunaanibwa olw’omusaayi gwa bannabbi bonna okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, 5111:51 a Lub 4:8 b 2By 24:20, 21 c Mat 23:35, 36okuva ku musaayi gwa Aberi okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w’ekyoto ky’ebiweebwayo ne yeekaalu. Mmwe ab’omulembe guno mbategeeza nti mugenda kuvunaanibwa olw’ebyo byonna.

5211:52 Mat 23:13“Zibasanze, mmwe abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mwafuna ekisumuluzo eky’amagezi naye mmwe bennyini ne mutayingira, ate ne muziyiza n’abalala okuyingira.”

53Yesu bwe yava mu nnyumba eyo, Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne batandika okumuteganya n’okumukambuwalira ennyo n’okumubuuza ebibuuzo bingi awatali kusalako, 5411:54 Mat 12:10; Mak 12:13nga bamutega bamukwase mu bigambo kwe banaasinziira okumukwata.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

路加福音 11:1-54

教導門徒禱告

1有一天,耶穌在某地禱告完畢,有個門徒對祂說:「主啊,請教導我們禱告,像約翰教他的門徒一樣。」

2耶穌對他們說:「你們應該這樣禱告,

『天父,願人都尊崇你的聖名,

願你的國度降臨,

願你的旨意在地上成就,

就像在天上成就一樣11·2 有古卷無「願你的旨意在地上成就,就像在天上成就一樣」。

3願你天天賜給我們日用的飲食。

4求你饒恕我們的罪,

因為我們也饒恕那些虧欠我們的人。

不要讓我們遇見誘惑,

拯救我們脫離那惡者11·4 有古卷無「拯救我們脫離那惡者」。。』」

5耶穌又對他們說:「假設你在半夜跑去朋友家請求說,『朋友,請借給我三個餅吧, 6因為有一位朋友遠道而來,我家沒有什麼可以招待他。』 7那個人在屋裡應聲說,『請別打攪我,門已經鎖上了,我和孩子們也已經上床了,我不能起來給你拿餅。』

8「我告訴你們,那人雖不念朋友之情,但是倘若你不肯甘休,繼續請求,他最終會起來滿足你的願望。

9「我告訴你們,祈求,就會給你們;尋找,就會尋見;叩門,就會給你們開門。 10因為凡祈求的,就得到;尋找的,就尋見;叩門的,就給他開門。

11「你們中間做父親的,如果孩子要餅,你會給他石頭嗎?11·11 有古卷無「如果孩子要餅,你會給他石頭嗎?」要魚,你會給他蛇嗎? 12要雞蛋,你會給他蠍子嗎? 13你們雖然邪惡,尚且知道把好東西給兒女,天父豈不更要賜聖靈給那些求祂的人嗎?」

耶穌和別西卜

14有一次,耶穌趕出一個使人啞巴的鬼。鬼一出去,啞巴就能說話了,大家都很驚奇。 15有人卻說:「祂是靠鬼王別西卜趕鬼。」 16還有些人想試探耶穌,要求祂行個神蹟證明自己是上帝派來的。

17耶穌知道他們的心思,就說:「一個國內部自相紛爭,必然滅亡;一個家內部自相紛爭,必然崩潰。 18同樣,若撒旦內部自相紛爭,牠的國怎能維持呢?你們說我是靠別西卜趕鬼, 19若我是靠別西卜趕鬼,你們的子弟又是靠誰趕鬼呢?因此,他們要審判你們。 20但若我是靠上帝的能力趕鬼,就是上帝的國已降臨在你們中間了。

21「壯漢全副武裝地看守自己的住宅,他的財物會很安全。 22但是,來了一個比他更強壯的人,把他制伏後,奪去他所依靠的武裝,並把他搶來的東西分給了人。 23誰不與我為友,就是與我為敵;誰不和我一起收聚,就是故意拆散。

24「有個污鬼離開了牠以前所附的人,在乾旱無水之地四處遊蕩,尋找安歇之處,卻沒有找到。於是牠說,『我要回到老地方。』 25牠回去後,看見裡面打掃得又乾淨又整齊, 26就去帶來了七個比自己更邪惡的鬼一起住在那裡。那人的下場比從前更慘了。」

誰更有福

27耶穌說話的時候,人群中有個婦人高喊:「生你養你的人真有福啊!」

28耶穌回答說:「但那聽了上帝的話又去遵行的人更有福。」

可悲的邪惡世代

29這時聚集的人越來越多,耶穌說:「這是一個邪惡的世代,人們只想看神蹟,但除了約拿的神蹟以外,再沒有神蹟給他們看。 30正如約拿成了尼尼微人的神蹟,人子也要成為這世代的神蹟。

31「在審判的日子,南方的女王和這世代的人都要起來11·31 起來」或作「復活」,下同32節。,她要定這個世代的罪,因為她曾不遠千里來聽所羅門王的智言慧語。看啊!這裡有一位比所羅門王更偉大。

32「在審判的日子,尼尼微人和這世代的人都要起來,尼尼微人要定這個世代的罪,因為他們聽到約拿的宣告,就悔改了。看啊!這裡有一位比約拿更偉大。

燈的比喻

33「沒有人點了燈卻將它放在地窖裡或斗底下,人總是把燈放在燈臺上,讓進來的人可以看見光。 34你的眼睛就是身體的燈,你的眼睛明亮,全身就光明;你的眼睛昏花,全身就黑暗。 35因此要小心,不要讓你心裡的光變為黑暗。 36如果你全身光明、毫無黑暗,你整個人就熠熠生輝,好像有燈光照在你身上。」

譴責法利賽人

37耶穌說完這番話後,有一個法利賽人來請祂吃飯,祂便應邀入席。 38這位法利賽人看見耶穌飯前沒有行猶太人洗手的禮儀,十分詫異。 39主對他說:「你們法利賽人洗淨杯盤的外面,你們裡面卻充滿了貪婪和邪惡。 40愚蠢的人啊,人裡外不都是上帝所創造的嗎? 41只要你們發自內心地去施捨,一切對你們都是潔淨的。

42「法利賽人啊,你們有禍了!你們將薄荷、茴香、各樣蔬菜獻上十分之一,卻忽略了上帝的公義和仁愛。後者是你們本該做的,前者也不可忽略。

43「法利賽人啊,你們有禍了!你們喜歡在會堂裡坐首位,又喜歡在街市上聽到別人的問候。 44你們有禍了!因為你們就像沒有墓碑的墳墓,人們從上面走過也不知道。」

譴責律法教師

45一位律法教師對耶穌說:「老師,你這話把我們也侮辱了!」

46耶穌回答說:「你們這些律法教師也有禍了!你們把沉重難負的擔子放在別人肩上,自己卻連一根指頭也不肯動。

47「你們有禍了,你們為先知修造墳墓,而他們正是被你們祖先殺害的! 48所以你們是見證人,你們讚同祖先的行為,因為他們殺了先知,你們為先知造墳墓。 49因此,充滿智慧的上帝說,『我要差遣先知和使徒到他們那裡,有些要被殺害,有些要遭迫害』, 50-51使創世以來,自亞伯一直到在祭壇和聖所之間被殺的撒迦利亞等眾先知的血債,都由這個世代承擔。我實在告訴你們,這些罪責都要由這個世代承擔。

52「律法教師啊,你們有禍了!你們拿走了知識的鑰匙,自己不進去,還阻擋那些正要進去的人。」

53耶穌離開那裡後,法利賽人和律法教師開始激烈地反對祂,用各種問題刁難祂, 54伺機找把柄陷害祂。