Koseya 9 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Koseya 9:1-17

Okubonerezebwa kwa Isirayiri

19:1 a Is 22:12-13 b Kos 10:5Tosanyuka ggwe Isirayiri;

tojaguza ng’amawanga amalala,

kubanga tobadde mwesigwa eri Katonda wo,

weegomba empeera eya malaaya

ku buli gguuliro.

29:2 Kos 2:9Egguuliro n’essogolero tebiribaliisa,

ne wayini omusu alibaggwaako.

39:3 a Lv 25:23 b Kos 8:13 c Ez 4:13; Kos 7:11Tebalisigala mu nsi ya Mukama;

Efulayimu aliddayo e Misiri

n’alya emmere etali nnongoofu mu Bwasuli.

49:4 a Yer 6:20; Kos 8:13 b Kag 2:13-14Tebaliwaayo biweebwayo ebya wayini eri Mukama,

so ne ssaddaaka zaabwe tezirimusanyusa.

Ssaddaaka zaabwe ziriba ng’emmere ey’abakungubazi,

ne bonna abaliziryako balifuuka abatali balongoofu.

Emmere eyo eriba yaabwe bo,

so teriyingizibwa mu yeekaalu ya Mukama.

59:5 a Is 10:3; Yer 5:31 b Kos 2:11Kiki ky’olikola ku lunaku olw’embaga ezaalondebwa,

ku lunaku olw’embaga ya Mukama?

69:6 a Is 19:13 b Is 5:6; Kos 10:8Ne bwe baliwona okuzikirira,

Misiri alibakuŋŋaanya,

ne Menfisi alibaziika.

Eby’obugagga byabwe ebya ffeeza birizika,

n’eweema zaabwe zirimeramu amaggwa.

79:7 a Is 34:8; Yer 10:15; Mi 7:4 b Yer 16:18 c Is 44:25; Kgb 2:14; Ez 14:9-10Ennaku ez’okubonerezebwa zijja,

ennaku ez’okusasulirwamu ziri kumpi.

Ekyo Isirayiri akimanye.

Olw’ebibi byammwe okuba ebingi ennyo,

n’obukambwe bwammwe obungi,

nnabbi ayitibwa musirusiru,

n’oyo eyabikkulirwa mumuyita mugu wa ddalu.

89:8 Kos 5:1Nnabbi awamu ne Katonda wange

ye mukuumi wa Efulayimu,9:8 Efulayimu be bantu ba Katonda

newaakubadde nga waliwo emitego mu kkubo lye,

n’obukambwe mu nnyumba ya Katonda we.

99:9 a Bal 19:16-30; Kos 5:8; 10:9 b Kos 8:13Boonoonye nnyo nnyini

nga mu nnaku ez’e Gibea.

Katonda alijjukira obutali butuukirivu bwabwe,

n’ababonereza olw’ebibi byabwe.

109:10 a Kbl 25:1-5; Zab 106:28-29 b Yer 11:13; Kos 4:14We nasangira Isirayiri,

kyali nga kulaba zabbibu mu ddungu.

Bwe nalaba bajjajjammwe,

kyali nga kulaba ebibala ebisooka ku mutiini.

Naye bwe bajja e Baalipyoli,

beewonga eri ekifaananyi eky’ensonyi,

ne bafuuka ekyenyinnyalwa ng’ekifaananyi kye baayagala.

119:11 a Kos 4:7; 10:5 b nny 14Ekitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ne kigenda ng’ekinyonyi

nga tewali kuzaala, newaakubadde okuba olubuto newaakubadde okufuna olubuto.

129:12 a Kos 7:13 b Ma 31:17Ne bwe balikuza abaana baabwe,

ndibabaggyako bonna.

Ziribasanga

bwe ndibavaako.

139:13 Ez 27:3Nalaba Efulayimu

ng’asimbiddwa mu kifo ekirungi, nga Ttuulo bw’ali.

Naye Efulayimu alifulumya

abaana be ne battibwa.

149:14 nny 11; Luk 23:29Bawe Ayi Mukama Katonda.

Olibawa ki?

Leetera embuto zaabwe okuvaamu

obawe n’amabeere amakalu.

159:15 a Kos 4:15 b Kos 7:2 c Is 1:23; Kos 4:9; 5:2Olw’ebibi byabwe byonna mu Girugaali,

kyennava mbakyayira eyo.

Olw’ebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu,

kyendiva mbagoba mu nnyumba yange.

Siribaagala nate;

abakulembeze baabwe bonna bajeemu.

169:16 a Kos 5:11 b Kos 8:7 c nny 12Efulayimu balwadde,

emirandira gyabwe gikaze,

tebakyabala bibala.

Ne bwe balizaala abaana baabwe,

nditta ezzadde lyabwe lye baagala ennyo.

179:17 a Kos 4:10 b Ma 28:65; Kos 7:13Katonda wange alibavaako

kubanga tebamugondedde;

baliba momboze mu mawanga.