Koseya 7 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Koseya 7:1-16

17:1 a Kos 6:4 b nny 13 c Kos 4:2na buli lwe nawonyanga Isirayiri,

ebibi bya Efulayimu ne birabika,

n’ebikolwa eby’ekyejo ebya Samaliya nabyo ne birabika.

Balimba,

bamenya ne bayingira mu mayumba,

era batemu abateega abantu mu makubo.

27:2 a Yer 14:10; Kos 8:13 b Yer 2:19Naye tebalowooza

nga nzijukira ebikolwa byabwe byonna ebibi.

Ebibi byabwe bibazingizza,

era mbiraba.

37:3 Kos 4:2; Mi 7:3“Kabaka asanyukira obutali butuukirivu bwabwe,

n’abakungu basanyukira obulimba bwabwe.

47:4 Yer 9:2Bonna benzi;

bali ng’ekyoto ekyaka omuliro,

omufumbi w’emigaati gw’ateetaaga kuseesaamu

okutuusa obutta bw’agoye, lwabuusa ku kyoto ne buzimbulukuka.

57:5 Is 28:1, 7Ku lunaku kabaka lw’agabula embaga,

abakungu ettamiiro lya wayini ne libalwaza,

kabaka ne yeegatta n’abanyoomi.

67:6 Zab 21:9Emitima gyabwe gyokerera nga oveni

mu busungu bwabwe;

Obusungu bwabwe bubuguumirira ekiro kyonna;

mu makya ne bwaka ng’omuliro.

77:7 nny 16Bonna bookya nga oveni,

era bazikiriza abakulembeze baabwe.

Bakabaka baabwe bonna bagudde;

tewali n’omu ku bo ankowoola.

87:8 nny 11; Zab 106:35; Kos 5:13“Efulayimu yeegattika ne bannaggwanga;

Efulayimu mugaati oguyiddeko oluuyi olumu.

97:9 Is 1:7; Kos 8:7Bannaggwanga banyuunyunta amaanyi ge

naye takimanyi.

Mu nviiri ze mulimu envi,

naye takiraba.

107:10 a Kos 5:5 b Is 9:13Okwekulumbaza kwa Isirayiri kwe kubalumiriza,

naye newaakubadde ng’ebyo byonna bimutuuseeko

tadda eri Mukama Katonda we

newaakubadde okumunoonya.

117:11 a Kos 11:11 b Kos 5:13; 12:1“Efulayimu ali ng’ejjiba,

alimbibwalimbibwa mangu era talina magezi;

bakaabira Misiri,

era bagenda eri Obwasuli.

127:12 Ez 12:13Bwe baliba balaga eyo, ndibasuulako akatimba,

era ndibassa wansi ng’ennyonyi ez’omu bbanga.

Bwe ndiwulira nga bakuŋŋaana, ndibaziyiza.

137:13 a Kos 9:12 b Yer 14:10; Ez 34:4-6; Kos 9:17 c nny 1; Mat 23:37Zibasanze,

kubanga bawabye ne banvaako.

Baakuzikirira

kubanga banjemedde.

Njagala nnyo okubanunula,

naye banjogerako eby’obulimba.

147:14 a Yer 3:10 b Am 2:8 c Kos 13:16Tebankaabira n’emitima gyabwe,

wabula ebiwoobe babikubira ku bitanda byabwe.

Bakuŋŋaana awamu olw’emmere ey’empeke ne wayini,

naye ne banjeemera.

157:15 Nak 1:9, 11Nabayigiriza ne mbawa n’amaanyi,

naye bansalira enkwe.

167:16 a Zab 78:9, 57 b Ez 23:32 c Kos 9:3Tebakyukira oyo Ali Waggulu Ennyo;

bafuuse ng’omutego gw’akasaale ogwayonooneka;

abakulembeze baabwe balifa kitala,

olw’ebigambo byabwe ebya kalebule.

Era kyebaliva babasekerera

mu nsi y’e Misiri.”