Koseya 5 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Koseya 5:1-15

Isirayiri Asalirwa Omusango

15:1 Kos 6:9; 9:8Muwulire kino mmwe bakabona!

Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri!

Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka!

Omusango guli ku mmwe:

Mubadde kyambika e Mizupa,

era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.

25:2 a Kos 4:2 b Kos 9:15Abajeemu bamaliridde okutta,

naye ndibabonereza bonna.

35:3 Kos 6:10Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu,

so ne Isirayiri tankisibwa.

Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya,

ne Isirayiri yeeyonoonye.

45:4 a Kos 4:11 b Kos 4:6Ebikolwa byabwe tebibaganya

kudda eri Katonda waabwe,

kubanga omwoyo ogw’obwamalaaya guli mu mitima gyabwe,

so tebamanyi Mukama.

55:5 Kos 7:10Amalala ga Isirayiri gabalumiriza;

Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe;

ne Yuda alyesittalira wamu nabo.

65:6 a Mi 6:6-7 b Nge 1:28; Is 1:15; Ez 8:6Bwe baligenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe

okunoonya Mukama,

tebalimulaba;

abaviiridde, abeeyawuddeko.

75:7 a Kos 6:7 b Kos 2:4 c Kos 2:11-12Tebabadde beesigwa eri Mukama;

bazadde abaana aboobwenzi.

Embaga ez’omwezi ogwakaboneka

kyeziriva zibamalawo, n’ennimiro zaabwe ne ziragajjalirwa.

85:8 a Kos 9:9; 10:9 b Is 10:29 c Kos 4:15Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea,

n’ekkondeere mu Laama.

Muyimuse amaloboozi e Besaveni;

mutukulembere mmwe Benyamini.

95:9 a Is 37:3; Kos 9:11-17 b Is 46:10; Zek 1:6Efulayimu alifuuka matongo

ku lunaku olw’okubonerezebwa.

Nnangirira ebiribaawo

mu bika bya Isirayiri.

105:10 a Ma 19:14 b Ez 7:8Abakulembeze ba Yuda bali ng’abo

abajjulula ensalo,

era ndibafukako obusungu bwange

ng’omujjuzo gw’amazzi.

115:11 Kos 9:16; Mi 6:16Efulayimu anyigirizibwa,

era omusango gumumezze,

kubanga yamalirira okugoberera bakatonda abalala.

125:12 Is 51:8Kyenvudde nfuuka ng’ennyenje eri Efulayimu,

n’eri ennyumba ya Yuda n’emba ng’ekintu ekivundu.

135:13 a Kos 7:11; 8:9 b Kos 10:6 c Kos 14:3 d Yer 30:12“Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe,

ne Yuda n’alaba ekivundu kye,

Efulayimu n’addukira mu Bwasuli,

n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu.

Naye tasobola kubawonya

newaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.

145:14 a Am 3:4 b Mi 5:8Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu,

era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda.

Ndibataagulataagula ne ŋŋenda;

ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.

155:15 a Kos 3:5 b Yer 2:27 c Is 64:9Ndiddayo mu kifo kyange,

okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe.

Balinnoonya,

mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna.”