Koseya 4 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Koseya 4:1-19

Okulabula eri Isirayiri

14:1 Yer 7:28Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abantu ba Isirayiri,

kubanga Mukama abalinako ensonga

mmwe abatuula mu nsi.

“Obwesigwa n’okwagala Katonda,

n’okumumanya bikendedde mu nsi.

24:2 a Kos 7:3; 10:4 b Kos 6:9 c Kos 7:1Waliwo okukolima, n’okulimba, n’okutta,

n’okubba, n’okukola eby’obwenzi;

bawaguza,

era bayiwa omusaayi obutakoma.

34:3 a Yer 4:28 b Is 33:9 c Yer 4:25; Zef 1:3Ensi kyeneeva ekaaba,

ne bonna abagibeeramu ne bafuuka ekitagasa;

n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko zirifa, n’ennyonyi ez’omu bbanga nazo zirifa,

n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja ne bifa.

44:4 Ma 17:12; Ez 3:26“Naye temuloopagana,

so tewabaawo muntu avunaana munne,

kubanga ensonga

ngivunaana gwe kabona.

54:5 a Ez 14:7 b Kos 2:2Wakola ebibi emisana n’ekiro,

ne bannabbi ne babikolera wamu naawe;

kyendiva nzikiriza maama4:5 maama kitegeeza Obwakabaka bwa Isirayiri wo.

64:6 a Kos 2:13; Mal 2:7-8 b Kos 8:1, 12Abantu bange bazikiridde olw’obutamanya.

“Kyemunaava mulema

okubeera bakabona bange;

era olw’okulagajjalira etteeka lya Katonda wo,

nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.

74:7 a Kbk 2:16 b Kos 10:1, 6; 13:6Gye beeyongera okuba abangi,

gye baakoma n’okukola ebibi;

baasuula ekitiibwa kyabwe ne banswaza.

84:8 Is 56:11; Mi 3:11Bagaggawalira ku bibi by’abantu bange,

era basemba okwonoona kwabwe.

94:9 a Is 24:2 b Yer 5:31; Kos 8:13; 9:9, 15Era bwe kityo bwe kiriba eri abantu n’eri bakabona:

ndibabonereza olw’enneeyisa yaabwe,

era ne mbasasula ng’ebikolwa byabwe.

104:10 a Lv 26:26; Mi 6:14 b Kos 7:14; 9:17“Balirya naye tebalikkuta,

balikola ebibi eby’obwenzi kyokka tebalyeyongera bungi,

kubanga bavudde ku Mukama ne beewaayo 114:11 a Kos 5:4 b Nge 20:1eri obwenzi,

wayini omukadde n’omusu,

ne bibamalamu okutegeera. 124:12 a Yer 2:27 b Kbk 2:19 c Is 44:20Abantu bange

beebuuza ku kikonge ky’omuti,

ne baddibwamu omuti.

Omwoyo ogw’obwenzi gubasendasenda

ne gubaleetera obutaba beesigwa eri Katonda waabwe.

134:13 a Is 1:29 b Yer 3:6; Kos 11:2 c Yer 2:20; Am 7:17 d Kos 2:13Baweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi,

ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi,

wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera

awali ekisiikirize ekirungi.

Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya,

ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.

144:14 nny 11“Siribonereza bawala bammwe

olw’okubeera bamalaaya,

newaakubadde baka baana bammwe

okukola eby’obwenzi,

kubanga abasajja bennyini bassa bumu ne bamalaaya,

ne baweerayo ssaddaaka ne bamalaaya ab’omu masabo;

abantu abatategeera balizikirira.

154:15 Kos 9:15; 12:11; Am 4:4“Newaakubadde ggwe Isirayiri oyenda,

omusango guleme okuba ku Yuda.

Togenda Girugaali,

newaakubadde okwambuka e Besaveni.4:15 Besaveni kitegeeza ennyumba ey’abakozi b’ebibi

Tolayiranga nti, ‘Nga Katonda bw’ali omulamu.’

164:16 Is 5:17; 7:25Abayisirayiri bakakanyavu mu mitima

ng’ennyana endalu.

Olwo Mukama ayinza atya okubalabirira

ng’abaana b’endiga abali mu kisibo?

17Efulayimu yeegasse n’abasinza ebifaananyi,

mumuleke abeere yekka.

18Ebyokunywa ne bwe bibaggwaako,

beeyongera mu bwamalaaya;

n’abakulembeze baabwe baagala nnyo eby’ensonyi:

194:19 a Kos 12:1; 13:15 b Is 1:29Embuyaga kyeziriva zibatwala,

ne ssaddaaka zaabwe ne zibaswaza.”