Koseya 3 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Koseya 3:1-5

Koseya addiŋŋana ne mukazi we

13:1 a Kos 1:2 b 2Sa 6:19Mukama n’aŋŋamba nti, “Genda, mukyala wo oyongere okumwagala, newaakubadde nga mwenzi era yakwaniddwa omusajja omulala. Mwagale nga Mukama bw’ayagala Abayisirayiri newaakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala obugaati obw’emizabbibu enkalu obuwonge eri bakatonda abalala.”

2Awo ne mmugula n’effeeza obuzito bwayo gulaamu kikumi mu nsavu ne lita ebikumi bisatu mu amakumi asatu eza sayiri. 3Bwe ntyo ne mugamba nti, “Oteekwa okubeera nange ebbanga lyonna. Lekeraawo okukuba obwamalaaya, oba okukola obwenzi, nange bwe ntyo naabeeranga naawe.”

43:4 a Kos 13:11 b Dan 11:31; Kos 2:11 c Bal 17:5-6; Zek 10:2Era bwe batyo abaana ba Isirayiri bwe balibeera okumala ennaku ennyingi nga tebalina kabaka newaakubadde omulangira, nga tebakyawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, newaakubadde okusinza amayinja amawonge oba bakatonda abalala, wadde efodi. 53:5 a Ez 34:23-24 b Yer 50:4-5N’oluvannyuma abaana ba Isirayiri balidda ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe. Balijja eri Mukama nga bakankana nga banoonya emikisa gye mu nnaku ez’oluvannyuma.