Okwagala kwa Katonda eri Isirayiri
111:1 Kuv 4:22; Kos 12:9, 13; 13:4; Mat 2:15*“Isirayiri bwe yali omwana omuto, namwagala,
era namuyita okuva mu Misiri.
211:2 a Kos 2:13 b 2Bk 17:15; Is 65:7; Yer 18:15Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri,
nabo gye beeyongeranga okusemberayo
ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali,
ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.
311:3 a Ma 1:31; Kos 7:15 b Yer 30:17Nze nayigiriza Efulayimu okutambula,
nga mbakwata ku mukono;
naye tebategeera
nga nze nabawonya.
411:4 a Yer 31:2-3 b Kuv 16:32; Zab 78:25Nabakulembera n’emiguwa egy’okusaasira okw’obuntu,
n’ebisiba eby’okwagala.
Naggya ekikoligo mu bulago bwabwe
ne neetoowaza ne mbaliisa.
511:5 a Kos 7:16 b Kos 10:6“Tebaliddayo mu nsi ya Misiri,
era Obwasuli tebulibafuga
kubanga baagaana okwenenya?
611:6 Kos 13:16Ekitala kirimyansiza mu bibuga byabwe
ne kizikiriza ebisiba ebya wankaaki waabwe,
ne kikomya enteekateeka zaabwe.
711:7 Yer 3:6-7; 8:5Abantu bange bamaliridde okunvaako.
Ne bwe banaakoowoola oyo Ali Waggulu Ennyo,
taabagulumize.
811:8 a Kos 6:4 b Lub 14:8“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu?
Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri?
Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma?
Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu?
Omutima gwange gwekyusiza munda yange,
Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.
911:9 a Ma 13:17; Yer 30:11 b Mal 3:6 c Kbl 23:19Siikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli,
so siridda kuzikiriza Efulayimu;
kubanga siri muntu wabula ndi Katonda,
Omutukuvu wakati mu mmwe:
sirijja na busungu.
1011:10 Kos 6:1-3Baligoberera Mukama;
era aliwuluguma ng’empologoma.
Bw’aliwuluguma,
abaana be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
1111:11 a Is 11:11 b Ez 28:26Balijja nga bakankana
ng’ebinyonyi ebiva e Misiri,
era ng’enjiibwa eziva mu Bwasuli.
Ndibafuula abatuuze mu maka gaabwe,”
bw’ayogera Mukama.
Ekibi kya Isirayiri
1211:12 Kos 4:2Efulayimu aneebunguluzza obulimba,
n’ennyumba ya Isirayiri eneebunguluzza obukuusa,
ne Yuda ajeemedde Katonda,
ajeemedde omwesigwa Omutukuvu.