Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Koseya 1

1Buno bwe bubaka bwa Mukama bwe yawa Koseya mutabani wa Beeri mu mulembe gwa Uzziya, n’ogwa Yosamu, n’ogwa Akazi n’ogwa Keezeekiya, nga be bakabaka ba Yuda, ne mu mulembe gwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, nga ye kabaka wa Isirayiri.

Koseya Afuna Amaka

Awo Mukama bwe yasooka okwogera eri Koseya, yamulagira nti, “Ggenda owase omukazi malaaya, omuzaalemu abaana, era banaayitibwanga abaana aboobwamalaaya, kubanga ensi eyitirizza okukola ekibi eky’obwenzi, n’eva ku Mukama.” Awo n’awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu, n’aba olubuto, n’amuzaalira omwana wabulenzi.

Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Yezuleeri, kubanga nnaatera okubonereza ennyumba ya Yeeku, olw’okuyiwa omusaayi gw’abantu ab’e Yezuleeri, era ndimalawo obwakabaka bwa Isirayiri. Ku lunaku olwo omutego gwa Isirayiri ndigumenyera mu Kiwonvu kya Yezuleeri.”

Gomeri n’aba olubuto olulala, n’azaala omwana wabuwala. Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Lolukama, kubanga ennyumba ya Isirayiri ndiba sikyagyagala, si kulwa nga mbasonyiwa. Naye ab’ennyumba ya Yuda ndibaagala, era ndibalokola, si na kasaale, newaakubadde ekitala, newaakubadde entalo, newaakubadde embalaasi newaakubadde abeebagala embalaasi, wabula nze kennyini Mukama Katonda waabwe nze ndibaagala era ne mbalokola.”

Awo Gomeri bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, n’aba olubuto olulala n’azaala omwana wabulenzi. Mukama n’ayogera nti, “Mmutuume erinnya Lowami, kubanga temukyali bantu bange, nange sikyali Katonda wammwe.

10 “Naye ekiseera kirituuka abantu ba Isirayiri ne baba bangi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja, ogutayinzika kupimibwa newaakubadde okubalibwa olw’obungi bwagwo. Mu kifo ky’okuyitibwa abatali bantu bange, baliyitibwa, baana ba Katonda omulamu. 11 Abantu ba Yuda baliddamu okwegatta n’abantu ba Isirayiri ne beerondamu omukulembeze, ne bava mu buwaŋŋanguse, era olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.”

The Message

Hosea 1

1This is God’s Message to Hosea son of Beeri. It came to him during the royal reigns of Judah’s kings Uzziah, Jotham, Ahaz, and Hezekiah. This was also the time that Jeroboam son of Joash was king over Israel.

This Whole Country Has Become a Whorehouse

The first time God spoke to Hosea he said:

“Find a whore and marry her.
    Make this whore the mother of your children.
And here’s why: This whole country
    has become a whorehouse, unfaithful to me, God.”

Hosea did it. He picked Gomer daughter of Diblaim. She got pregnant and gave him a son.

4-5 Then God told him:

“Name him Jezreel. It won’t be long now before
    I’ll make the people of Israel pay for the massacre at Jezreel.
    I’m calling it quits on the kingdom of Israel.
Payday is coming! I’m going to chop Israel’s bows and arrows
    into kindling in the valley of Jezreel.”

6-7 Gomer got pregnant again. This time she had a daughter. God told Hosea:

“Name this one No-Mercy. I’m fed up with Israel.
    I’ve run out of mercy. There’s no more forgiveness.
Judah’s another story. I’ll continue having mercy on them.
    I’ll save them. It will be their God who saves them,
Not their armaments and armies,
    not their horsepower and manpower.”

8-9 After Gomer had weaned No-Mercy, she got pregnant yet again and had a son. God said:

“Name him Nobody. You’ve become nobodies to me,
    and I, God, am a nobody to you.

10-11 “But down the road the population of Israel is going to explode past counting, like sand on the ocean beaches. In the very place where they were once named Nobody, they will be named God’s Somebody. Everybody in Judah and everybody in Israel will be assembled as one people. They’ll choose a single leader. There’ll be no stopping them—a great day in Jezreel!”