Kaggayi 2 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Kaggayi 2:1-23

Ekitiibwa ekyasuubizibwa eky’Ennyumba Empya

1Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu mu mwezi ogw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti, 2“Yogera ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n’abantu abaasigalawo, obabuuze nti, 32:3 a Ezr 3:12 b Zek 4:10‘Ani mu mmwe akyasigaddewo eyalaba ku kitiibwa ky’ennyumba eno? Ebafaananira etya kaakano? Tebafaananira ng’eteriimu kaabuntu? 42:4 a 1By 28:20; Zek 8:9; Bef 6:10 b 2Sa 5:10; Bik 7:9Kale nno guma omwoyo, ggwe Zerubbaberi, bw’ayogera Mukama; guma omwoyo, ggwe Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; mugume omwoyo mmwe mwenna abantu ab’omu nsi,’ bw’ayogera Mukama, ‘Mukole, kubanga ndi wamu nammwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 52:5 a Kuv 29:46 b Nek 9:20; Is 63:11‘Kino kye nalagaana nammwe bwe mwali muva mu Misiri, ng’Omwoyo wange anaabeeranga nammwe. Temutya.’

62:6 a Is 10:25 b Beb 12:26*“Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Mu bbanga eritali ly’ewala ndikankanya eggulu n’ensi, n’ennyanja n’olukalu. 72:7 Is 60:7Ndikankanya amawanga gonna, n’amawanga gonna ge njagala galijja, ne nzijuza ennyumba eno ekitiibwa,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 8‘Effeeza yange, ne zaabu yange,’ bw’ayogera Mukama ow’eggye. 92:9 Zab 85:9‘Ekitiibwa eky’ennyumba eriwo kaakano, kirisinga ekitiibwa ky’eri eyasooka era mu kifo kino ndizzaawo emirembe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”

Okubuulirira n’Okusuubiza

102:10 nny 1Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogw’omwenda mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti, 112:11 Lv 10:10-11; Ma 17:8-11; Mal 2:7“Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Buuza bakabona etteeka kye ligamba. 122:12 Lv 6:27; Mat 23:19Omuntu bw’asitulira ennyama eyatukuzibwa mu kirenge eky’ekyambalo kye, ekirenge ne kikoma ku mugaati oba ku supu, oba ku wayini, oba ku mafuta oba ku mmere endala yonna, bitukuzibwa?’ ”

Bakabona ne baddamu nti, “Nedda.”

132:13 Lv 22:4-6Awo Kaggayi n’abuuza nti, “Omuntu atali mulongoofu olw’omulambo, bw’akoma ku bintu ebyo, bifuuka ebitali birongoofu?”

Bakabona ne baddamu nti, “Bifuuka ebitali birongoofu.”

142:14 Is 1:13Kaggayi n’addamu nti, “Kale nno bwe batyo bwe bali abantu bano n’eggwanga lino. Buli kye bakola ne buli kye bawaayo ng’ekiweebwayo, si kirongoofu,” bw’ayogera Mukama.

152:15 a Kag 1:5 b Ezr 3:10 c Ezr 4:24“ ‘Kale nno, mweddeko okuva ku lunaku lwa leero, mujjukire ebiseera biri bwe byali, nga n’ejjinja erimu terinnateekebwa ku linnaalyo mu yeekaalu ya Mukama. 162:16 Kag 1:6Omuntu yenna bwe yatuukanga ku ntuumu eyandibadde ey’ebipimo amakumi abiri, yassangawo ebipimo kkumi. Omuntu yenna bwe yalaganga mu ssogolero okusenamu lita amakumi ataano, yasangangamu amakumi abiri. 172:17 a Kag 1:11 b Ma 28:22; 1Bk 8:37; Am 4:9 c Am 4:6Nakolimira emirimu gyonna egy’emikono gyammwe n’okugengewala n’obukuku, n’omuzira, naye ne mutakyuka kudda gye ndi,’ bw’ayogera Mukama. 182:18 Zek 8:9Okuva olunaku lwa leero, olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omwenda, mujjukire olunaku lwe baazimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama. Mwebuuze nti, 19Wakyaliwo ensigo eyasigala mu tterekero? Mulabe, emiti gino egimenyeddwa, ogw’omuzabbibu n’ogw’omutiini, n’ogw’omukomamawanga, n’ogw’omuzeeyituuni tegibalangako bibala.

“ ‘Naye okuva ne leero ndibawa omukisa.’ ”

20Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Kaggayi omulundi ogwokubiri ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogwo nga kigamba nti, 212:21 Ezr 5:2“Tegeeza Zerubbaberi gavana wa Yuda nti ndikankanya eggulu n’ensi. 222:22 a Dan 2:44 b Mi 5:10 c Bal 7:22Ndisulika entebe ez’obwakabaka ne nzigyawo obuyinza bw’obwakabaka obunnaggwanga. Ndiwamba amagaali n’abavuzi baago, n’embalaasi na buli abazeebagala, balittibwa baganda baabwe.

232:23 Is 43:10“ ‘Ku lunaku olwo, ggwe omuweereza wange Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ndikufuula ng’akabonero, kubanga nkulonze,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”