Isaaya 66 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 66:1-24

166:1 a Mat 23:22 b 1Bk 8:27; Mat 5:34-35 c 2Sa 7:7; Yk 4:20-21; Bik 7:49*; 17:24Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,

“Eggulu y’entebe yange kwe nfugira

n’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange,

nnyumba ki gye mulinzimbira?

Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?

266:2 a Is 40:26; Bik 7:50* b Is 57:15; Mat 5:3-4; Luk 18:13-14 c Ezr 9:4Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola,

noolwekyo ebintu bino byonna byange?”

bw’ayogera Mukama Katonda.

“Ono ye muntu gwe ntunulako;

oyo ow’eggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo,

oyo akankanira ekigambo kyange.

366:3 a Is 1:11 b Lv 2:2 c Is 57:17Naye asaddaaka ente aba ng’asse omuntu,

oyo awaayo omwana gw’endiga n’aba ng’amenye ensingo y’embwa,

n’oyo awaayo ekiweebwayo eky’empeke

aba ng’awaddeyo omusaayi gw’embizzi,

era oyo anyookeza obubaane bw’ekijjukizo

aba ng’asinza ekifaananyi ekikole n’emikono.

Abantu bakutte amakubo gaabwe,

era emmeeme zaabwe zisanyukira eby’emizizo byabwe.

466:4 a Nge 10:24 b Nge 1:24; Yer 7:13 c 2Bk 21:2, 4, 6 d Is 65:12Nange ndisalawo mbatuuseeko ekibambulira,

mbaleeteko kye batandyagadde kibatuukeko.

Kubanga bwe nayita,

teri n’omu yayanukula,

bwe nnaayogera

tebanfaako.

Bakola ebibi mu maaso gange

ne bagoberera ebitansanyusa.”

566:5 a Zab 38:20; Is 60:15 b Luk 13:17Muwulirize ekigambo kya Mukama Katonda

mmwe abakankanira ekigambo kye.

“Baganda bammwe abatabaagala

era ababayigganya olw’erinnya lyange babasekerera nti,

‘Leka Mukama alage obukulu bwe

abalokole tulabe bwe musanyuka!’

Naye bo be banaakwasibwa ensonyi.

666:6 Is 65:6; Yo 3:7Muwulirize.

Oluyoogaano oluva mu kibuga, muwulirize eddoboozi eriva mu yeekaalu.

Eddoboozi eryo lya Mukama Katonda ng’asasula abalabe be

nga bwe kibagwanira.

766:7 a Is 54:1 b Kub 12:5“Ekibuga kyange ekitukuvu

kiri ng’omukazi azaala

nga tannatuusa kulumwa,

obulumi nga tebunatuuka n’akubawo eddenzi.

866:8 Is 64:4Ani eyali awulidde ekintu bwe kityo?

Ani eyali alabye ekiri ng’ekyo?

Ensi eyinza okuzaalibwa mu lunaku lumu

oba eggwanga okutondebwawo mu kaseera obuseera?

Akaseera katono bwe kati,

Sayuuni anaaba yakalumwa ng’eggwanga litondebwa.

966:9 Is 37:3Nnyinza okutuusa abantu bange ku kuzaalibwa

ne batazaalibwa?” bw’ayogera Mukama Katonda.

“Ate olubuto ndusiba ntya

nga ndutuusizza ku kuzaala?” bw’ayogera Mukama Katonda wo.

1066:10 a Ma 32:43; Bar 15:10 b Zab 26:8“Mujagulize wamu ne Yerusaalemi

era mumusanyukireko mwenna abamwagala,

mujaganye nnyo

mmwe mwenna abamukaabira.

1166:11 Is 60:16Kubanga muliyonka

munywe n’essanyu

mukkutire ddala

ku kitiibwa kye ekingi.”

1266:12 a Is 48:18 b Zab 72:3; Is 60:5; 61:6 c Is 60:4Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Laba mbaleetera obugagga obutaliiko kkomo,

obugagga bw’amawanga bube gye muli ng’omugga ogwanjaala.

Muliyonkako, musitulibwe mu mbiriizi

era bababuusizebuusize ku mubiri gwe.

1366:13 Is 40:1; 2Ko 1:4Ng’omwana bw’asanyusibwa nnyina,

bwe ntyo bwe ndikuzzaamu amaanyi

mu Yerusaalemi.”

1466:14 Is 10:5Kino bw’olikiraba omutima gwo gulisanyuka,

era kirikufuula w’amaanyi omulamu obulungi ng’omuddo ogukuze.

Olwo kiryoke kimanyibwe nti omukono gwa Mukama Katonda guyamba abaweereza be,

ate obusungu bwe ne bulagibwa abalabe be.

1566:15 a Zab 68:17 b Zab 9:5“Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro,

era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga.

Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi

era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.

1666:16 a Is 30:30 b Is 27:1Omuliro n’ekitala

Mukama Katonda by’alibonerezesa abantu bonna,

n’abo abalisaanyizibwawo baliba bangi.

1766:17 a Is 1:29 b Lv 11:7 c Zab 37:20; Is 1:28“Abo abeetukuza balyoke balage mu nnimiro entukuvu okukola eby’emizizo, abatambulira mu nnyiriri nga bwe balya embizzi, omusonso n’emmere ey’omuzizo, bonna balizikirira wamu,” bw’ayogera Mukama Katonda.

18“Olw’ebyo bye bakola ne bye balowooza, nnaatera okujja nkuŋŋaanye amawanga gonna n’ennimi zonna, era balijja balabe ekitiibwa kyange.

1966:19 a Is 11:10; 49:22 b Is 2:16 c Ez 27:10 d Lub 10:2 e Is 11:11 f 1By 16:24; Is 24:15“Nditeeka akabonero mu bo. Ndiwonyaako abamu mbasindike mu mawanga, e Talusiisi, e Puuli66:19 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya, n’e Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani,66:19 Yavani ye Buyonaani mu bizinga eby’ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange. 2066:20 Is 52:11Balikomyawo baganda bammwe bonna okuva mu mawanga nga ekirabo gye ndi. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali ge mbalaasi n’ebigaali ne ku nnyumbu n’eŋŋamira ku lusozi lwange olutukuvu nga Isirayiri bwe baleeta ebiweebwayo ebirongoofu mu nnyumba ya Mukama Katonda. 2166:21 Kuv 19:6; Is 61:6; 1Pe 2:5, 9Era ndifuula abamu ku bo okubeera bakabona n’abaleevi,” bw’ayogera Mukama Katonda.

2266:22 a Is 65:17; Beb 12:26-27; 2Pe 3:13; Kub 21:1 b Yk 10:27-29; 1Pe 1:4-5“Kubanga nga eggulu eppya n’ensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olw’amaanyi gange, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe n’erinnya lyammwe bwe birisigala. 2366:23 a Ez 46:1-3 b Is 19:21Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bw’ayogera Mukama Katonda. 2466:24 a Is 14:11 b Is 1:31; Mak 9:48*“Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gy’abasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so n’omuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”