Isaaya 65 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 65:1-25

Omusango n’Obulokozi

165:1 a Kos 1:10; Bar 9:24-26; 10:20* b Bef 2:12Mukama n’alyoka agamba nti,

“Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya.

Neeraga abo abaali tebannoonya.

Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’

265:2 a Is 1:2, 23; Bar 10:21* b Zab 81:11-12; Is 66:18Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuziba

eri abantu abeewagguzze,

abatambulira mu makubo amabi

abagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe;

365:3 a Yob 1:11 b Is 1:29abantu bulijjo

abansomooza mu maaso gange gennyini

nga bawaayo ebiweebwayo mu nnimiro

ne bookera n’ebiweebwayo ku byoto eby’amatoffaali;

465:4 Lv 11:7abatuula mu malaalo

ne bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu,

abalya ennyama y’embizzi,

era n’amaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu.

565:5 Mat 9:11; Luk 7:39; 18:9-12Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange,

kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’

Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange,

omuliro ogwaka olunaku lwonna.

665:6 a Zab 50:3 b Yer 16:18 c Zab 79:12“Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange.

Sijja kusirika naye nzija kusasula mu bujjuvu,

nzija kubasasula bibatuukireko ddala;

765:7 a Is 22:14 b Kuv 20:5 c Is 57:7olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

“Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi

era ne bannyoomera ku busozi,

ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu

ey’ebikolwa byabwe eby’edda.”

8Bw’atyo bw’ayogera Mukama:

“Ng’omubisi bwe gusangibwa mu kirimba ky’emizabbibu

abantu ne bagamba nti, ‘Togwonoona,

gukyalimu akalungi,’

bwe ntyo bwe ndikibakolera olw’obulungi bw’abaweereza bange.

Sijja kubasaanyaawo bonna.

965:9 a Is 45:19 b Am 9:11-15 c Is 32:18Ndiggya ezzadde okuva mu Yakobo

era ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange;

abantu bange abalonde balizigabana,

era eyo abaweereza bange gye balibeera.

1065:10 a Is 35:2 b Yos 7:26 c Is 51:1Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo,

era n’ekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamira

olw’abantu bange abannoonya.

1165:11 Ma 29:24-25; Is 1:28“Naye mmwe abava ku Mukama

ne mwerabira olusozi lwange olutukuvu

ne muteekerateekera emmeeza katonda wammwe, Mukisa,

ne mujuliza katonda wammwe, Kusalawo, ebikopo eby’envinnyo,

1265:12 a Is 27:1 b Nge 1:24-25; Is 41:28; 66:4 c 2By 36:15-16; Yer 7:13ndibawaayo eri ekitala

era mwenna mukutaamirire musalibwe,

kubanga nabayita naye temwayitaba,

nayogera naye temwampuliriza.

Mwakola ebitasaana

era ne musalawo okukola ebitansanyusa.”

1365:13 a Is 1:19 b Is 41:17 c Is 44:9Noolwekyo kino Mukama Ayinzabyonna ky’agamba:

“Abaweereza bange bajja kulya,

naye mmwe mujja kulumwa enjala,

abaweereza bange bajja kunywa,

naye mmwe mulumwe ennyonta;

abaweereza bange bajja kujaguza,

naye mmwe mukwatibwe ensonyi.

1465:14 Mat 8:12; Luk 13:28Abaweereza bange bajja kuyimba

olw’essanyu erinaaba mu mitima gyabwe,

naye mmwe muli ba kukaaba olw’okulumwa okunaabeera mu mitima gyammwe

era mukaabe olw’okulumwa emyoyo.

1565:15 Zek 8:13Ekikolimo kiryoke kibagwire,

Nze Mukama Katonda ow’Eggye mbatte

amannya gammwe geerabirwe,

naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera.

1665:16 a Zab 31:5 b Is 19:18Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisa

anaagunoonya kuva eri Katonda Ow’amazima

buli anaalayiranga mu ggwanga

anaalayiranga Katonda ow’amazima.

Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwa

gikwekebwe okuva mu maaso gange.

Eggulu Epya n’Ensi Empya

1765:17 a Is 66:22; 2Pe 3:13 b Is 43:18; Yer 3:16“Laba nditonda eggulu eriggya

n’ensi empya.

Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa

wadde okulowoozebwako mu mutima.

1865:18 Zab 98:1-9; Is 25:9Naye musanyukire ekyo kye ntonda

mujaguze emirembe n’emirembe,

kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu

n’abantu baamu okuba okujaguza.

1965:19 a Is 35:10; 62:5 b Is 25:8; Kub 7:17Ndijaguza olwa Yerusaalemi

era nsanyukire abantu bange;

amaloboozi ag’okukaaba

tegaliddayo kuwulirwamu.

2065:20 Mub 8:13“Teriddayo kuba mu kyo mwana muwere

anaaberawo ennaku obunaku,

oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye;

oyo alifiira ku myaka ekikumi

alitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka.

Oyo atalituusa kikumi

abalibwe ng’eyakolimirwa.

2165:21 a Is 32:18 b Is 37:30; Am 9:14Balizimba ennyumba bazisulemu,

balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo.

2265:22 a Zab 92:12-14 b Zab 21:4; 91:16Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu,

tebalisimba ate omulala abirye.

Kubanga emyaka gy’emiti nga bwe giba

bwe gityo bwe giribeera emyaka gy’abantu bange.

Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa

emirimu gy’emikono gyabwe.

2365:23 a Ma 28:3-12; Is 61:9 b Bik 2:39Tebalikolera bwereere

oba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga,

kubanga balibeera abantu abaweebwa Mukama Katonda omukisa,

bo awamu n’ab’enda yaabwe.

2465:24 a Is 55:6 b Dan 9:20-23; 10:12Nga tebanakoowoola ndibaddamu,

nga bakyayogera bati mbaddemu.

2565:25 a Is 11:6 b Lub 3:14; Mi 7:17Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu,

era empologoma erye omuddo ng’ennume,

era ettaka libeere emmere y’omusota.

Tewaliba kulumya

wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,”

bw’ayogera Mukama Katonda.