Isaaya 64 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 64:1-12

Okusingibwa Omusango mu Maaso ga Mukama

164:1 a Zab 18:9; 144:5 b Mi 1:3 c Kuv 19:18Kale singa oyuzizza eggulu n’okka wansi,

ensozi ne zikankana mu maaso go!

264:2 Zab 99:1; Yer 5:22; 33:9Ng’omuliro bwe gukoleerera mu buku,

oba nga bwe gufumba amazzi ne gatuuka okwesera,

ka wansi omanyise erinnya lyo eri abalabe bo,

n’amawanga galyoke gakankanire mu maaso go!

364:3 Zab 65:5Kubanga bwe wakola ebintu eby’entiisa bye twali tetusuubira,

wakka ensozi ne ziryoka zikankanira mu maaso go.

464:4 Is 30:18; 1Ko 2:9*Okuva mu mirembe egy’edda teri yali awulidde

oba kutu kwali kutegedde,

oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe,

alwanirira abo abamulindirira.

564:5 Is 26:8Ojja n’odduukirira abo abakola eby’obutuukirivu n’essanyu,

abo abajjukira amakubo go.

Naye bwe tweyongera okwonoona ne tugavaako, wakwatibwa obusungu.

Ebbanga ddene lye tumaze mu bibi byaffe,

ddala tulirokolebwa?

664:6 a Is 46:12; 48:1 b Zab 90:5-6Ffenna twafuuka batali balongoofu

era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde obukyafu64:6 obukyafu wano kitegeeza abakyala nga bavudde mu nsonga yaabwe eya buli mwezi.

Ffenna tuwotookerera ne tukala ng’ekikoola,

era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.

764:7 a Is 59:4 b Ma 31:18; Is 1:15; 54:8 c Is 9:18Tewali n’omu akoowoola linnya lyo

oba eyewaliriza okukukwatako,

kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go,

era n’otuwaayo ne tuzikirira olw’ebibi byaffe.

864:8 a Is 63:16 b Is 29:16Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe.

Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi,

ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.

964:9 a Is 57:17; 60:10 b Is 43:25Tosunguwala kisukkiridde nnyo, Ayi Mukama Katonda,

tojjukira bibi byaffe mirembe gyonna.

Weewaawo, tutunuulire, tusaba,

kubanga tuli bantu bo.

10Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse malungu ne Sayuuni kifuuse ddungu,

ne Yerusaalemi nakyo kifulukwa.

1164:11 a Zab 74:3-7 b Kgb 1:7, 10Yeekaalu yaffe entukuvu ey’ekitiibwa

bakitaffe gye bakutendererezangamu eyokebbwa omuliro,

era byonna eby’obugagga bye twakuumanga byazikirira.

1264:12 a Zab 74:10-11; Is 42:14 b Zab 83:1Nga bino byonna biguddewo, Mukama, era toofeeyo?

Onoosirika busirisi n’otubonereza ekisukiridde?

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以賽亞書 64:1-12

1願你裂天而降!

願群山在你面前戰抖!

2求你使敵人認識你的威名,

使列國在你面前顫抖,

如火燒乾柴使水沸騰。

3你曾降臨,行超乎我們預料的可畏之事,

那時群山在你面前戰抖。

4自古以來,從未見過,

也未聽過有任何神明像你一樣為信奉他的人行奇事。

5你眷顧樂於行義、遵行你旨意的人。

我們不斷地犯罪惹你發怒,

我們怎能得救呢?

6我們的善行不過像骯髒的衣服,

我們都像污穢的人,

像漸漸枯乾的葉子,

我們的罪惡像風一樣把我們吹去。

7無人呼求你,

無人向你求助,

因為你掩面不理我們,

讓我們在自己的罪中滅亡。

8但耶和華啊,你是我們的父親。

我們是陶泥,你是窯匠,

你親手造了我們。

9耶和華啊,求你不要大發烈怒,

不要永遠記著我們的罪惡。

我們都是你的子民,

求你垂顧我們。

10你的眾聖城已淪為荒場,

甚至錫安已淪為荒場,

耶路撒冷已淪為廢墟。

11我們那聖潔、華美的殿——我們祖先頌讚你的地方已被焚毀,

我們珍愛的一切都被摧毀。

12耶和華啊,你怎能坐視不理呢?

你仍然保持緘默,使我們重重地受罰嗎?