Isaaya 63 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 63:1-19

Katonda lw’Aliwoolera Eggwanga n’Okununula Abantu be

163:1 a Am 1:12 b Zef 3:17Ani ono ava mu Edomu mu kibuga Bozula

anekaanekanye mu ngoye emyufu.

Ani ono ali mu ngoye za bakabaka

akumba mu bukulu bw’ekitiibwa kye?

“Ye nze alangirira obutuukirivu,

ow’amaanyi okulokola.”

2Lwaki oyambadde ebyambalo ebimyufu

ng’eby’omusogozi w’omu ssogolero lya wayini?

363:3 a Kub 14:20; 19:15 b Is 22:5 c Kub 19:13“Nva kulinnyirira amawanga nga emizabbibu,

tewali n’omu yajja kunnyambako.

Nabalinnyiririra mu busungu

era omusaayi gwabwe

ne gusammukira ku ngoye zange,

era guyiise ku byambalo byange.

4Kubanga olunaku olw’okununula abantu bange lwali lutuuse,

olunaku olw’okuwoolera eggwanga abalabe baabwe.

563:5 a Is 41:28 b Zab 44:3; 98:1 c Is 59:16Natunula naye nga tewali n’omu ayinza kunnyamba,

newuunya okulaba nga tewaali n’omu ayinza kunkwatirako.

Kale omukono gwange ne gundeetera obuwanguzi,

era obusungu bwange ne bunnyweza.

663:6 a Is 29:9 b Is 34:3Mu busungu bwange nalinnyirira abantu,

mu kiruyi kyange ne mbatamiiza,

omusaayi gwabwe ne nguyiwa ku ttaka.”

763:7 a Is 54:8 b Zab 51:1; Bef 2:4Ndibuulira ku bulungi bwa Mukama,

ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa,

okusinziira ku byonna Mukama by’atukoledde;

weewaawo ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri,

okusinziira ku kisa kye,

okusinziira ku bungi bw’okwagala kwe okutajjulukuka.

863:8 Is 51:4Yagamba nti, “Ddala bantu bange,

abaana aboobulenzi abatannimbelimbe,”

era bw’atyo n’afuuka omulokozi waabwe.

963:9 a Kuv 33:14 b Ma 7:7-8 c Ma 1:31Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna,

era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya.

Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula;

yabayimusa

n’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda.

1063:10 a Zab 78:40 b Zab 51:11; Bik 7:51; Bef 4:30 c Zab 106:40Naye baajeema

ne banyiiza Mwoyo Mutukuvu,

kyeyava abakyukira n’afuuka omulabe waabwe

era ye kennyini n’abalwanyisa.

1163:11 a Kuv 14:22, 30 b Kbl 11:17Ne balyoka bajjukira ennaku ez’edda,

ennaku ez’edda eza Musa n’abantu be;

aluwa oyo eyabayisa mu nnyanja n’omulunzi w’ekisibo kye.

Aluwa oyo eyateeka Mwoyo Mutukuvu wakati mu bo

1263:12 Kuv 14:21-22; Is 11:15eyatuma omukono gwe ogw’ekitiibwa

ogw’amaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo,

eyayawulamu amazzi nga balaba,

yeekolere erinnya ery’emirembe n’emirembe?

1363:13 a Ma 32:12 b Yer 31:9Ani eyabakulembera n’abayisa mu buziba?

Ng’embalaasi mu nsi eyeetadde enjereere tebeesittala.

14Ng’ente ezigenda mu nsi eyeetadde,

Omwoyo wa Mukama yabawummuza.

Bw’otyo bwe wakulembera abantu bo

okwekolera erinnya ery’ettendo.

1563:15 a Ma 26:15; Zab 80:14 b Zab 123:1 c Is 9:7; 26:11 d Yer 31:20; Kos 11:8Tunula wansi ng’oli waggulu mu ggulu olabe,

ng’oli ku ntebe yo ey’ekitiibwa egulumidde entukuvu.

Obunyiikivu bwo n’ebikolwa byo eby’amaanyi biri ludda wa?

Obulungi bwo n’ekisa bitukwekeddwa.

1663:16 a Yob 14:21 b Is 41:14; 44:6Ggwe Kitaffe,

wadde nga Ibulayimu tatumanyi

era nga Isirayiri tatutegeera,

Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe Omununuzi waffe

okuva edda n’edda lye linnya lyo.

1763:17 a Is 29:13 b Kbl 10:36Ayi Mukama Katonda, lwaki otuleka ne tuva ku makubo go,

n’okakanyaza omutima gwaffe, ne tutakutya?

Komawo olw’obulungi bw’abaddu bo

amawanga g’omugabo gwo.

1863:18 Zab 74:3-8Abantu bo abatukuvu baali mu kifo kyo ekitukuvu akaseera katono,

naye kaakano abalabe baffe bakirinnyiridde.

19Ffe tuli bantu bo okuva edda n’edda;

naye bo tobafuganga,

tebayitibwanga linnya lyo.