Isaaya 61 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 61:1-11

Amawulire Amalungi ag’Obulokozi

161:1 a Is 11:2 b Zab 45:7 c Mat 11:5; Luk 7:22 d Is 57:15 e Is 42:7; 49:9Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,

kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,

antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.

Okulangirira eddembe eri abawambe,

n’abasibe bateebwe

bave mu makomera.

261:2 a Is 49:8; Luk 4:18-19* b Is 34:8 c Is 57:18; Mat 5:4Okulangirira omwaka gwa Mukama

ogw’okulabiramu obulungi bwe;

olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga

era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.

361:3 Is 60:20-21Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga,

okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu,

n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku.

Ekyambalo ky’okutendereza

mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa

balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama,

balyoke baweebwe ekitiibwa.

461:4 Is 49:8; Ez 36:33; Am 9:14Baliddamu

bazimbe ebyali bizise,

balirongoosa ebibuga

ebyali byerabirwa edda.

561:5 Is 14:1-2Abaamawanga balibalundira ebisibo byammwe,

abagwira babakolere mu nnimiro zammwe ne mu nnimiro z’emizabbibu.

661:6 a Kuv 19:6; 1Pe 2:5 b Is 60:11Era muyitibwe bakabona ba Mukama,

abantu baliboogerako ng’abaweereza ba Mukama,

mulirya obugagga bw’amawanga,

era mu bugagga bwabwe mwe mulyenyumiririza.

761:7 Is 40:2; Zek 9:12Mu kifo ky’ensonyi,

abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri.

Mu kifo ky’okuswala

basanyuke olw’ebyo bye balifuna

era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri,

essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.

861:8 a Zab 11:7; Is 5:16 b Is 55:3“Kubanga nze, Mukama, njagala obwenkanya,

nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu.

Mu bwesigwa bwange ndibasasula

era nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe.

9N’ezzadde lyabwe liritutumuka nnyo mu mawanga

n’abaana baabwe eri abantu.

Abo bonna abalibalaba balibamanya,

nti bantu Mukama be yawa omukisa.”

1061:10 a Is 25:9; Kbk 3:18 b Zab 132:9; Is 52:1 c Is 49:18; Kub 21:2Nsanyukira nnyo mu Mukama,

emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange.

Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi

era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu,

ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona,

ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.

1161:11 Zab 85:11Kuba nga ettaka bwe livaamu ebimera,

era ng’ennimiro bwereetera ensigo okumeruka,

bw’atyo Mukama Katonda bwalireeta obutuukirivu n’ettendo okumeruka,

ensi zonna zikirabe.