Isaaya 6 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 6:1-13

Katonda Atuma Isaaya

16:1 a 2By 26:22, 23 b 2Bk 15:7 c Yk 12:41 d Kub 4:2Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empanvu ng’agulumizibbwa, n’ekirenge ky’ekyambalo kye nga kijjula yeekaalu. 26:2 a Kub 4:8 b Ez 1:11Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ng’alina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, n’ebibiri ng’abibuusa. 36:3 Zab 72:19; Kub 4:8Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti,

“Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna:

ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”

4N’emisingi gy’emiryango ne ginyeenyezebwa olw’eddoboozi ly’oyo eyali akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka, yeekaalu n’ejjula omukka.

56:5 a Yer 9:3-8 b Yer 51:57Ne ndyoka nkaaba nti, “Zinsanze nze! Nfudde mpeddewo! Kubanga ndi muntu ow’emimwa egitali mirongoofu, era mbeera wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama Katonda ow’Eggye!”

6Olwo omu ku basseraafi n’alyoka abuuka n’ajja gye ndi ng’alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto6:6 Ekyoto ekyo ky’ekyoto eky’obuwoowo ekiri wakati w’Awatukuvu. ne nnamagalo. 76:7 a Yer 1:9 b 1Yk 1:7Era n’alikomya ku kamwa kange, n’agamba nti, “Laba, lino likoonye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo bukuggyiddwako. Era n’ekibi kyo kikusonyiyiddwa.”

86:8 Bik 9:4Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ng’abuuza nti, “Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?”

Ne ndyoka njogera nti, “Nze wendi! Tuma nze!”

96:9 a Ez 3:11 b Mat 13:15*; Luk 8:10*Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti,

“ ‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga,

n’okulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’

106:10 a Ma 32:15; Zab 119:70 b Yer 5:21 c Mat 13:13-15; Mak 4:12*; Bik 28:26-27*Okakanyaze omutima gw’abantu bano,

oggale amatu gaabwe,

n’amaaso gazibe

si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe

oba okuwulira n’amatu gaabwe

oba okutegeera n’emitima gyabwe

ne bakyuka bawonyezebwe.”

116:11 a Zab 79:5 b Lv 26:31Ne ndyoka njogera nti, “Mukama wange birituusa ddi okuba bwe biti?”

Nanziramu nti,

“Okutuusa ebibuga lwe birizika

nga tewali abibeeramu,

ne mu mayumba nga temuli muntu,

ensi ng’esigalidde awo,

126:12 a Ma 28:64 b Yer 4:29okutuusa nga Mukama Katonda agobedde wala buli muntu,

era ng’ensi esigadde matongo.

136:13 a Is 1:9 b Yob 14:7N’ekimu eky’ekkumi ekiriba kisigaddewo,

nakyo kirizikirizibwa.

Naye ng’omumyuliru n’omuvule

bwe gireka ebikolo byagyo bwe gitemebwa,

bw’etyo ensigo entukuvu bw’erigwa mu ttaka n’esigala ng’ekikolo mu nsi.”