Isaaya 59 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 59:1-21

Ekibi, Okwatula Ebibi, n’Okusonyiyibwa

159:1 a Kbl 11:23; Is 50:2 b Is 58:9; 65:24Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola,

era si muzibe wa matu nti tawulira.

259:2 Is 1:15; 58:4Naye obutali butuukirivu bwammwe

bwe bubaawudde ku Katonda wammwe.

Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge,

n’atawulira.

359:3 Is 1:15Kubanga emikono gyammwe gibunye omusaayi

n’engalo zammwe zibunye obutali butuukirivu,

emimwa gyammwe gyogedde eby’obulimba,

n’ennimi zammwe z’ogedde eby’ekko.

459:4 Yob 15:35; Zab 7:14Tewali awaaba bya nsonga

so tewali awoza mu mazima;

Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera eby’obulimba,

ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.

559:5 Yob 8:14Baalula amagi ag’essalambwa

ne balanga ewuzi za nnabbubi:

alya ku magi gaabwe afa

n’eryo eriba lyatise livaamu mbalasaasa.

659:6 a Is 28:20 b Is 58:4Naye enkwe zaabwe ze bakola tezibayamba,

ziri ng’engoye enkole mu wuzi za nnabbubi!

Tebasobola kuzeebikka.

Emirimu gyabwe mirimu gya kwonoona, n’ebikolwa byabwe bulabe.

759:7 a Nge 6:17 b Mak 7:21-22 c Bar 3:15-17*Ebigere byabwe byanguyirira bikole ebibi

era bapapirira bayiwe omusaayi ogutalina musango.

Ebirowoozo byabwe birowoozo bya bubi,

n’okuzika n’okuzikiriza bye biba buli we bagenda.

859:8 Is 57:21; Luk 1:79Ekkubo ery’emirembe tebalimanyi

wadde okukozesa obwenkanya mu makubo gaabwe.

Beekubidde amakubo,

tewali n’omu agayitamu afuna emirembe.

959:9 Is 5:30; 8:20Amazima gatuli wala,

n’obutuukirivu tetubufunye.

Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko,

we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.

1059:10 a Ma 28:29 b Is 8:15 c Kgb 3:6Tuwammantawammanta bbugwe ng’abazibe,

ne tukwatakwata ng’abatalina maaso;

twesittala mu ttuntu ng’ekiro mu abo abalina amaanyi

ne tuba ng’abafu.

1159:11 Is 38:14; Ez 7:16Ffenna tuwuluguma ng’eddubu

ne tusinda nga bukaamukuukulu.

Tusuubira okuggyibwa mu kunyigirizibwa naye nga bwereere,

n’obulokozi butuliwala.

1259:12 a Ezr 9:6 b Is 3:9Kubanga ebisobyo byaffe bingi mu maaso go

era ebibi byaffe bitulumiriza,

kubanga ebisobyo byaffe biri naffe,

era tumanyi obutali butuukirivu bwaffe;

1359:13 a Nge 30:9; Mat 10:33; Tit 1:16 b Is 5:7 c Mak 7:21-22obujeemu n’enkwe eri Mukama

era n’okulekeraawo okugoberera Katonda waffe.

Okutegeka obwediimo n’okunyigiriza,

okwogera eby’obulimba n’emitima gyaffe bye girowoozezza.

1459:14 a Is 1:21 b Is 48:1Obwenkanya buddiridde

n’obutuukirivu ne bubeera wala.

Amazima geesitalidde mu luguudo, n’obwesimbu tebuyinza kuyingira.

15Tewali w’oyinza kusanga mazima,

era oyo ava ku kibi asuulibwa.

Mukama yakiraba n’atasanyuka

kubanga tewaali bwenkanya.

1659:16 a Is 41:28 b Zab 98:1; Is 63:5N’alaba nga tewali muntu,

ne yennyamira nti tewali muntu ayinza kudduukirira.

Noolwekyo kwe kusalawo okukozesa omukono gwe ye kennyini

okuleeta obulokozi n’obutuukirivu bwe okuwangula.

1759:17 a Bef 6:14 b Bef 6:17; 1Bs 5:8 c Is 63:3 d Is 9:7Yayambala obutuukirivu bwe ng’eky’omu kifuba,

era n’enkuufiira ey’obulokozi ku mutwe gwe;

n’ateekako ebyambalo by’okuwoolera eggwanga

era n’ayambala obunyiikivu ng’omunagiro.

18Ng’ebikolwa byabwe bwe biri

bwalisasula ekiruyi ku balabe be,

n’abamukyawa

alibawa empeera yaabwe,

n’abo abali ewala mu bizinga abasasule.

1959:19 a Is 49:12 b Zab 113:3Noolwekyo balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba,

n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba,

kubanga alijja ng’omugga ogukulukuta n’amaanyi,

omukka gwa Mukama gwe gutwala.

2059:20 Bik 2:38-39; Bar 11:26-27*“Era Omununuzi alijja mu Sayuuni,

eri abo abeenenya ebibi byabwe mu Yakobo,”

bw’ayogera Mukama.

2159:21 Is 11:2; 44:3“Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera Mukama.