Isaaya 57 – LCB & NIVUK

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 57:1-21

157:1 a Zab 12:1 b Is 42:25 c 2Bk 22:20Abantu abatuukirivu bazikirira,

naye tewali akirowoozako n’akatono.

Abantu abeewaddeyo eri Katonda

batwalibwa nga tewali n’afuddeyo kukirowoozaako.

Kubanga omutuukirivu aggyibwawo

olw’akabi akagenda okujja.

257:2 Is 26:7Ayingira mu mirembe

n’afuna okuwummulira mu kufa kwe,

ne bawummula ga beebase, abo abatambulira mu bugolokofu.

357:3 a Mat 16:4 b Is 1:21“Naye mmwe mujje musembere wano batabani b’omukazi omufumu

ezzadde ly’omwenzi omukazi eyeetunda.

4Muzannyira ku ani?

Ani gwe mukongoola

ne mumusoomooza?

Temuli baana ba bujeemu,

ezzadde eryobulimba?

557:5 a 2Bk 16:4 b Lv 18:21; Zab 106:37-38; Ez 16:20Mwaka ne mwegombera wansi w’emiti

na buli wansi wa buli muti oguyimiridde;

mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvu

ne wansi w’enjatika z’enjazi.

657:6 a Yer 3:9 b Yer 7:18 c Yer 5:9, 29; 9:9Bakatonda bo ge mayinja amaweweevu57:6 Amayinja amaweweevu gaakozesebwanga mu kusinza balubaale gosinziza mu biwonvu,

abo be babo, obusika bwo;

abo b’ofukira ekiweebwayo ekyokunywa

era n’ebiweebwayo eby’empeke.

Nga weemalidde mu kukola bino byonna, olowooza nnyinza okusanyuka?

757:7 Yer 3:6; Ez 16:16Mwambuka ku ntikko z’ensozi okwenda

nga mugenze okuwaayo ssaddaaka.

857:8 a Ez 16:26; 23:7 b Ez 23:18Emabega w’enzigi zammwe

we muteeka ebibumbe eby’obuwemu bye musinza.

Mwandeka ne mukola eby’obuwemu

mu bitanda byammwe ebigazi.

Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaano

n’abo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe.

957:9 Ez 23:16, 40Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivu

ng’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo,

n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda,

kumpi batuuke n’emagombe.

1057:10 Yer 2:25; 18:12Amakubo go gonna gakuteganya ne gakukooya nnyo

naye teweegamba nako nti,

‘Nteganira ki atalina kyeŋŋanyurwa?’

Singa tewanoonya bikuzaamu maanyi, wandizirise.

1157:11 a Nge 29:25 b Yer 2:32; 3:21 c Zab 50:21“B’ani abo be watya n’otekemuka n’obawuliriza,

n’olyoka olimba,

nze n’otonzijukira n’akatono

wadde okundowoozaako?

Olw’okubanga nsirise n’esikunyega

ky’ekikuyinudde n’onneerabira n’ompisaamu amaaso.

1257:12 Is 29:15; Mi 3:2-4, 8Nnaayolesa obutuukirivu bwo ne by’okola,

naye tebigenda kukugasa.

1357:13 a Yer 22:20; 30:15 b Zab 37:9 c Is 65:9-11Bw’okaabanga nga weetaaga obuyambi,

leka bakatonda bo be wakuŋŋaanya bakununule;

naye empewo eribatwala,

omukka obukka abantu gwe bassa gulibaggirawo ddala bonna.

Naye oyo anfuula ekiddukiro kye

alirya ensi

era alitwala olusozi lwange olutukuvu.”

Ekisa eri Abeenenya

1457:14 Is 62:10; Yer 18:15Era kiryogerwa nti,

“Muzimbe, muzimbe, mulongoose ekkubo!

Muggyeewo enkonge zonna mu kkubo ly’abantu bange.”

1557:15 a Is 52:13 b Ma 33:27 c Zab 147:3 d Zab 34:18; 51:17; Is 66:2 e Is 61:1Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu

omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe,

ow’erinnya ettukuvu nti,

“Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu

awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza,

okuzzaamu amaanyi

omwoyo gw’abakkakkamu,

era n’ogw’abo ababoneredde.

1657:16 Zab 85:5; 103:9; Mi 7:18Kubanga sirirumiriza bantu bange emirembe n’emirembe

era siribasunguwalira bbanga lyonna.

Kubanga omutima gw’omuntu gwandigwereddewo mu maaso gange nga ndaba,

emmeeme y’omuntu nze gye nakola.

1757:17 a Is 56:11 b Is 1:4Olw’okwegomba kwe okw’obutali butuukirivu nnali nzijjudde obusungu.

Namubonereza ne nkweka amaaso gange olw’obusungu obungi

naye yeeyongera okugenda mu maaso mu makubo amabi.

1857:18 a Is 30:26 b Is 61:1-3Nalaba by’akola, naye ndimuwonya.

Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga.

1957:19 a Is 6:7; Beb 13:15 b Bef 2:17 c Bik 2:39Mirembe, era mirembe,

eri abo abali ewala n’eri abo abali okumpi,

era ndibawonya,” bw’ayogera Mukama.

2057:20 Yob 18:5-21Naye ababi bali ng’ennyanja esiikuuse,

eteyinza kutereera,

ey’amayengo agasiikuula ebitosi n’ebitaka.

2157:21 a Is 59:8 b Is 48:22“Tewali mirembe, eri aboonoonyi,” bw’ayogera Katonda wange.

New International Version – UK

Isaiah 57:1-21

1The righteous perish,

and no-one takes it to heart;

the devout are taken away,

and no-one understands

that the righteous are taken away

to be spared from evil.

2Those who walk uprightly

enter into peace;

they find rest as they lie in death.

3‘But you – come here, you children of a sorceress,

you offspring of adulterers and prostitutes!

4Who are you mocking?

At whom do you sneer

and stick out your tongue?

Are you not a brood of rebels,

the offspring of liars?

5You burn with lust among the oaks

and under every spreading tree;

you sacrifice your children in the ravines

and under the overhanging crags.

6The idols among the smooth stones of the ravines are your portion;

indeed, they are your lot.

Yes, to them you have poured out drink offerings

and offered grain offerings.

In view of all this, should I relent?

7You have made your bed on a high and lofty hill;

there you went up to offer your sacrifices.

8Behind your doors and your doorposts

you have put your pagan symbols.

Forsaking me, you uncovered your bed,

you climbed into it and opened it wide;

you made a pact with those whose beds you love,

and you looked with lust on their naked bodies.

9You went to Molek57:9 Or to the king with olive oil

and increased your perfumes.

You sent your ambassadors57:9 Or idols far away;

you descended to the very realm of the dead!

10You wearied yourself by such going about,

but you would not say, “It is hopeless.”

You found renewal of your strength,

and so you did not faint.

11‘Whom have you so dreaded and feared

that you have not been true to me,

and have neither remembered me

nor taken this to heart?

Is it not because I have long been silent

that you do not fear me?

12I will expose your righteousness and your works,

and they will not benefit you.

13When you cry out for help,

let your collection of idols save you!

The wind will carry all of them off,

a mere breath will blow them away.

But whoever takes refuge in me

will inherit the land

and possess my holy mountain.’

Comfort for the contrite

14And it will be said:

‘Build up, build up, prepare the road!

Remove the obstacles out of the way of my people.’

15For this is what the high and exalted One says –

he who lives for ever, whose name is holy:

‘I live in a high and holy place,

but also with the one who is contrite and lowly in spirit,

to revive the spirit of the lowly

and to revive the heart of the contrite.

16I will not accuse them for ever,

nor will I always be angry,

for then they would faint away because of me –

the very people I have created.

17I was enraged by their sinful greed;

I punished them, and hid my face in anger,

yet they kept on in their wilful ways.

18I have seen their ways, but I will heal them;

I will guide them and restore comfort to Israel’s mourners,

19creating praise on their lips.

Peace, peace, to those far and near,’

says the Lord.

‘And I will heal them.’

20But the wicked are like the tossing sea,

which cannot rest,

whose waves cast up mire and mud.

21‘There is no peace,’ says my God, ‘for the wicked.’