Isaaya 56 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 56:1-12

Abantu ba Katonda Baliva mu Mawanga Gonna

156:1 a Is 1:17 b Zab 85:9Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Mukolenga obwenkanya era ebituufu,

kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja,

n’obutuukirivu bwange

bunatera okubikkulibwa.

256:2 a Zab 119:2 b Kuv 20:8, 10; Is 58:13Alina omukisa omuntu akola ekyo,

n’omwana w’omuntu akinyweererako.

Akwata ssabbiiti obutagyonoona,

n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”

356:3 Bik 8:27Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti,

Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,”

so n’omulaawe okugamba nti,

“Ndi muti mukalu.”

4Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,

“Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange

ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa,

ne bakuuma endagaano yange,

556:5 a Is 26:1; 60:18 b Is 48:19; 55:13amannya gaabwe galijjukirwa

mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo

n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

Ndibawa erinnya eritaliggwaawo

ery’emirembe n’emirembe.

656:6 a Is 60:7, 10; 61:5 b nny 2, 4N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama,

okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama

era n’okubeera abaweereza be,

abakwata ssabbiiti

ne batagyonoona

era ne banyweza endagaano yange,

756:7 a Is 2:2 b Bar 12:1; Beb 13:15 c Mat 21:13*; Luk 19:46* d Mak 11:17*bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu

era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu.

Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe

birikkirizibwa ku kyoto kyange.

Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu

eri amawanga gonna.”

856:8 Is 11:12; 60:3-11; Yk 10:16Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,

akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti,

“Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala

ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”

Katonda Alumiriza Abakulembeze ba Isirayiri Ebibi byabwe

956:9 Is 18:6; Yer 12:9Mukama agamba amawanga amalala okujja

ng’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be.

1056:10 a Ez 3:17 b Nak 3:18Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso,

bonna tebalina magezi,

bonna mbwa

ezitasobola kuboggola,

zibeera mu kuloota nakugalaamirira

ezaagala okwebaka obwebasi.

1156:11 a Ez 34:2 b Is 1:3 c Is 57:17; Ez 13:19; Mi 3:11Embwa ezirina omululu omuyitirivu

ezitakkuta.

Basumba abatayinza kutegeera,

bonna abakyamye mu makubo gaabwe;

buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.

1256:12 Zab 10:6; Luk 12:18-19Bagambagana nti,

“Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire.

N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero,

oba n’okusingawo.”