Isaaya 52 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 52:1-15

Katonda Alizzaawo Yerusaalemi

152:1 a Is 51:17 b Is 51:9 c Kuv 28:2, 40; Zab 110:3; Zek 3:4 d Nek 11:1; Mat 4:5; Kub 21:2 e Nak 1:15; Kub 21:27Zuukuka, zuukuka,

oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni.

Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu,

teekako ebyambalo byo ebitemagana.

Kubanga okuva leero mu miryango gyo

temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.

252:2 Is 29:4Weekunkumuleko enfuufu,

yimuka otuule ku ntebe ey’obwakabaka ggwe Yerusaalemi.

Weesumulule enjegere mu bulago bwo,

ggwe Omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.

352:3 a Zab 44:12 b Is 45:13Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Mwatundibwa bwereere

era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.”

452:4 Lub 46:6Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti,

“Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo,

oluvannyuma, Omwasuli n’abajooga.

552:5 Ez 36:20; Bar 2:24*“Kaakano kiki ate kye ndaba wano?

“Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere

era abo ababafuga babasekerera,”

bw’ayogera Mukama.

“Erinnya lyange

livvoolebwa olunaku lwonna.

652:6 Is 49:23Mu biseera ebijja abantu bange balimmanya.

Olunaku lujja lwe balitegeera nga nze nakyogera.

Weewaawo, Nze.”

752:7 a Is 40:9; Bar 10:15* b Nak 1:15; Bef 6:15 c Zab 93:1Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi,

alangirira emirembe,

aleeta ebigambo ebirungi,

alangirira obulokozi,

agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”

852:8 Is 62:6Wuliriza!

Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa.

Bonna awamu bajaguza olw’essanyu.

Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe.

952:9 a Zab 98:4 b Is 51:3 c Is 48:20Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna,

mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika.

Kubanga Mukama asanyusizza abantu be,

anunudde Yerusaalemi.

1052:10 a Is 66:18 b Zab 98:2-3; Luk 3:6Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna,

bagulabe.

Enkomerero z’ensi zonna

ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.

1152:11 a Is 48:20 b Is 1:16; 2Ko 6:17* c 2Ti 2:19Mugende, mugende muveewo awo.

Temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu.

Mukifulumemu mubeere balongoofu

mmwe abasitula ebyombo bya Mukama.

1252:12 a Kuv 12:11 b Mi 2:13 c Kuv 14:19Naye temulivaamu nga mwanguyiriza

so temuligenda nga mudduka;

kubanga Mukama alibakulembera abasookeyo;

Katonda wa Isirayiri y’alibakuuma.

Okubonaabona n’Ekitiibwa ky’Omuweereza wa Mukama

1352:13 a Is 42:1 b Is 57:15; Baf 2:9Laba, omuweereza wange by’akola alibikozesa magezi,

aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa.

14Ng’abaamulaba ne bennyamira bwe baali abangi,

endabika ye ng’eyonoonese nnyo nga takyafaananika,

era ng’eyonoonese evudde ku y’abantu,

1552:15 Bar 15:21*; Bef 3:4-5bw’atyo bw’anawuniikiriza amawanga mangi;

bakabaka balibunira ku lulwe;

kubanga ekyo ekitababulirwanga balikiraba,

era ekyo kye batawulirangako, balikitegeera.