Isaaya 51 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 51:1-23

Okukubirizibwa Okwesiga Katonda

151:1 a Is 46:3 b nny 7; Zab 94:15; Bar 9:30-31“Mumpulirize,

mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama:

Mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako,

n’obunnya bw’ekirombe gye mwasimibwa.

251:2 a Is 29:22; Bar 4:16; Beb 11:11 b Lub 12:2Mulowooze ku Ibulayimu jjajjammwe

ne Saala eyabazaala.

Kubanga we namuyitira yali bw’omu

ne mmuwa omukisa ne mmwaza.

351:3 a Is 40:1 b Is 52:9 c Lub 2:8 d Is 25:9; 66:10Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni;

akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika

era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni,

n’eddungu libeere ng’ennimiro ya Mukama;

Essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo,

okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba.

451:4 a Zab 50:7 b Is 2:4 c Is 42:4, 6“Mumpulirize, mmwe abantu bange;

era muntegere okutu mmwe ensi yange.

Kubanga etteeka lifuluma okuva gye ndi,

obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga.

551:5 a Is 46:13 b Is 40:10; 63:1, 5Obutuukirivu bwange

busembera mangu nnyo,

obulokozi bwange buli mu kkubo.

Era omukono gwange gujja kuleeta obwenkanya eri amawanga.

Ebizinga birinnindirira era birindirire n’essuubi omukono gwange okubirokola.

651:6 a Mat 24:35; 2Pe 3:10 b Zab 102:25-26Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu,

mutunuulire ensi wansi!

Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka

n’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo.

Abagituulamu balifa ng’ensowera.

Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna,

so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.

751:7 a nny 1 b Zab 37:31 c Mat 5:11; Bik 5:41“Mumpulirize,

mmwe abamanyi obutuukirivu,

eggwanga eririna amateeka gange

mu mitima gyammwe.

Temutya kuvumibwa bantu

wadde okukeŋŋentererwa olw’okuyomba kwabwe.

851:8 a Is 50:9 b nny 6Kubanga ennyenje ziribalya nga bwe zirya ebyambalo.

N’obuwuka bubalye ng’obulya ebyoya by’endiga.

Naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna.

Obulokozi bwange bunywere emirembe gyonna.”

951:9 a Is 52:1 b Ma 4:34 c Zab 74:13Zuukuka,

zuukuka oyimuke otuyambe Ayi Mukama Katonda.

Kozesa amaanyi go otuyambe.

Gakozese nga edda.

Si ggwe wuuyo eyatemaatemamu Lakabu obufiififi?

Si ye ggwe eyafumita ogusota?

1051:10 Kuv 14:22Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja,

amazzi ag’obuziba obuwanvu ennyo

ne gafuuka ekkubo

abantu be wanunula bayitewo?

1151:11 a Is 35:9 b Yer 33:11 c Kub 7:17N’abo Mukama be wawonya

balikomawo

ne bajja mu Sayuuni nga bayimba.

Essanyu ery’emirembe n’emirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe.

Balisanyuka ne bajaguza; ennaku n’okusinda bibadduke.

Mukama Alinunula Abantu be

1251:12 a 2Ko 1:4 b Zab 118:6; Is 2:22 c Is 40:6-7; 1Pe 1:24“Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi.

Mmwe baani abatya omuntu alifa,

n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo,

1351:13 a Is 17:10 b Is 45:11 c Zab 104:2; Is 48:13 d Is 7:4ne weerabira Mukama Omutonzi wo

eyabamba eggulu,

n’ateekawo n’emisingi gy’ensi,

ebbanga lyonna ne mubeera mu kutya

obusungu bw’abo abakunyigiriza,

oyo eyemalidde mu kuzikiriza?

Kubanga kale buliruddawa obulabe bw’oyo abanyigiriza?

1451:14 Is 49:10Abo be bawamba ne basibibwa banaatera okuteebwa,

tebalifiira mu bunnya,

era tebalibulwa mmere gye balya.

1551:15 Yer 31:35Kubanga nze Mukama Katonda wo,

asiikuula amayengo g’ennyanja ne gawuluguma:

Mukama ow’Eggye lye linnya lye.

1651:16 a Ma 18:18; Is 59:21 b Kuv 33:22Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko,

era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange.

Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi;

era nze wuuyo agamba Sayuuni nti,

‘Muli bantu bange!’ ”

Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama

1751:17 a Is 52:1 b Yob 21:20; Kub 14:10; 16:19 c Zab 60:3Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi

eyanywa okuva eri Mukama ekikompe eky’obusungu bwe,

eyanywa n’omaliramu ddala

ekibya ekitagaza.

1851:18 a Zab 88:18 b Is 49:21Ku baana aboobulenzi bonna be yazaala

tewali n’omu wa kumukulembera.

Ku baana bonna aboobulenzi be yakuza

tewali n’omu wa kumukwata ku mukono.

1951:19 a Is 47:9 b Is 14:30Ebintu bino ebibiri bikuguddeko

ani anaakunakuwalirako?

Okuzika n’okuzikirira, enjala, n’ekitala,

ani anaakubeesabeesa?

2051:20 Is 5:25; Yer 14:16Batabani bo bazirise,

bagudde ku buli nsonda y’oluguudo

ng’engabi egudde mu kitimba.

Babuutikiddwa ekiruyi kya Mukama,

n’okunenyezebwa kwa Katonda wo.

2151:21 nny 17; Is 29:9Noolwekyo wulira kino ggwe, atamidde naye si lwa mwenge.

2251:22 a Is 49:25 b nny 17Bw’atyo bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,

Katonda wo alwanirira abantu be.

“Laba mbaggyeeko ekikompe kye nabawa

olw’ekiruyi kye nalina, ekyabatagaza.

Temuliddayo

kukinywa nate.

2351:23 a Is 49:26; Yer 25:15-17, 26, 28; 49:12 b Zek 12:2 c Yos 10:24Ndikiteeka mu mikono gy’abo abaababonyaabonya abaabagamba nti,

‘Mugwe wansi mwegolole tubatambulireko.’

Emigongo gyammwe gibe ng’ettaka,

ng’oluguudo olw’okulinnyirira.”