Isaaya 48 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 48:1-22

Katonda bye Yayogera Bituukirira

148:1 a Is 58:2 b Yer 4:2“Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo,

abayitibwa erinnya lya Isirayiri,

era abaava mu nda ya Yuda.

Mmwe abalayirira mu linnya lya Mukama,

era abaatula Katonda wa Isirayiri,

naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.

248:2 a Is 52:1 b Is 10:20; Mi 3:11; Bar 2:17Kubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu,

abeesiga Katonda wa Isirayiri,

Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

348:3 a Is 41:22 b Is 45:21Okuva ku ntandikwa, nayasanguza ebyali bigenda okubaawo;

byava mu kamwa kange ne mbyogera.

Amangwago ne tubikola ne bituukirira.”

448:4 a Ma 31:27 b Kuv 32:9; Bik 7:51 c Ez 3:9Kubanga namanya obukakanyavu bwammwe;

ebinywa by’ensingo nga bikakanyavu ng’ekyuma;

ekyenyi ng’ekikomo.

548:5 Yer 44:15-18Nabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo,

muleme kugamba nti,

“Bakatonda bange be baabikola:

Ekifaananyi kyange ekyole

n’ekifaananyi ekisaanuuse bye byakikola.”

6Mulabe ebintu bino nabibagamba dda,

era temubikkirize?

“Okuva leero nzija kubabuulira ku bintu ebiggya ebigenda okujja,

eby’ekyama bye mutawulirangako.

7Mbikola kaakano,

so si ekiseera ekyayita:

mwali temubiwulirangako mu biseera eby’emabega

si kulwa nga mugamba nti, ‘Laba nnali mbimanyi.’

848:8 Ma 9:7, 24; Zab 58:3Towulirangako wadde okutegeera.

Okuva edda n’edda okutu kwo tekuggukanga.

Kubanga namanya nti wali kyewaggula,

okuva ku kuzaalibwa kwo wayitibwa mujeemu.

948:9 a Zab 78:38; Is 30:18 b Nek 9:31Olw’erinnya lyange

ndwawo okusunguwala. Olw’ettendo lyange

ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza.

1048:10 1Bk 8:51Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza.

Nkugezesezza mu kirombe ky’okubonaabona.

1148:11 a 1Sa 12:22; Is 37:35 b Ma 32:27; Yer 14:7, 21; Ez 20:9, 14, 22, 44 c Is 42:8Ku lwange nze,

ku lwange nze ndikikola. Erinnya lyange nga livumiddwa.

Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.

Isirayiri Enunulibwa

1248:12 a Is 46:3 b Is 41:4; Kub 1:17; 22:13“Mpuliriza ggwe Yakobo.

Isirayiri gwe nalonda.

Nze Nzuuyo.

Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero.

1348:13 a Beb 1:10-12 b Kuv 20:11 c Is 40:26Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw’ensi,

era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu.

Bwe mbiyita

byombi bijja.

1448:14 a Is 43:9 b Is 46:10-11“Mwekuŋŋaanye mwenna

mujje muwulire!

Ani ku bo eyali alangiridde ebintu bino?

Mukama amwagala; ajja kutuukiriza ekigendererwa kye e Babulooni,

era omukono gwe gwolekere Abakaludaaya.48:14 Abakaludaaya be Bababulooni

1548:15 Is 45:1Nze; Nze nzennyini nze njogedde.

Nze namuyita.

Ndimuleeta

era alituukiriza omulimu gwe.

1648:16 a Is 41:1 b Is 45:19 c Zek 2:9, 11“Munsemberere muwulirize bino.

“Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama.

Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa.”

Era kaakano Mukama Ayinzabyonna

n’Omwoyo we antumye.

1748:17 a Is 49:7 b Is 43:14 c Is 49:10 d Zab 32:8Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe,

Omutukuvu wa Isirayiri nti,

“Nze Mukama Katonda wo

akuyigiriza okukulaakulana,

akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu.

1848:18 a Ma 32:29 b Zab 119:165; Is 66:12 c Is 45:8Singa kale wali owulirizza ebiragiro byange!

Wandibadde n’emirembe egikulukuta ng’omugga!

Era n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja,

1948:19 a Lub 22:17 b Is 56:5; 66:22ezzadde lyo lyandibadde ng’omusenyu

abaana bo ng’obuweke bwagwo.

Erinnya lyabwe teryandivuddewo

wadde okuzikirira nga wendi.”

2048:20 a Yer 50:8; 51:6, 45; Zek 2:6-7; Kub 18:4 b Is 49:13 c Is 52:9; 63:9Muve mu Babulooni,

mudduke Abakaludaaya.

Mugende nga mutegeeza amawulire gano n’essanyu.

Mugalangirire wonna wonna

n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.

Mugambe nti, “Mukama anunudde omuddu we Yakobo!”

2148:21 a Is 41:17 b Is 30:25 c Kuv 17:6; Kbl 20:11; Zab 105:41; Is 35:6So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu.

Yabakulukusiza amazzi mu lwazi:

yayasa olwazi

amazzi ne gavaamu.

2248:22 Is 57:21“Tewali mirembe eri aboonoonyi,” bw’ayogera Mukama.