Isaaya 47 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 47:1-15

Babulooni Esalirwa Omusango

147:1 a Is 23:12 b Zab 137:8; Yer 50:42; 51:33; Zek 2:7 c Ma 28:56“Omuwala wa Babulooni embeerera,

kakkana wansi otuule mu nfuufu,

tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka,

ggwe omuwala w’Abakaludaaya.

Ekibuga ekitawangulwangako.

Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.

247:2 a Kuv 11:5; Mat 24:41 b Bal 16:21 c Lub 24:65 d Is 32:11Ddira olubengo ose obutta.

Ggyako akatimba ku maaso,

situla ku ngoye z’oku magulu

oyite mu mazzi.

347:3 a Ez 16:37; Nak 3:5 b Is 20:4 c Is 34:8Obwereere bwo bulibikkulwa;

obusungu bwo bulyeraga.

Nzija kuwoolera eggwanga;

tewali muntu yenna gwe ndirekawo.”

447:4 Yer 50:34Omununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye,

ye Mutukuvu wa Isirayiri.

547:5 a Is 13:10 b Is 13:19“Tuula mu kasirise

yingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya,

tebakyakuyita kabaka omukazi

afuga obwakabaka obungi.

647:6 a 2By 28:9 b Is 10:13Nnali nsunguwalidde abantu bange,

ne nyonoonesa omugabo gwange.

Nabawaayo mu mikono gyo,

n’otobasaasira n’akatono.

N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.

747:7 a nny 5; Kub 18:7 b Is 42:23, 25 c Ma 32:29Wayogera nti,

‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’

naye n’otolowooza ku bintu bino

wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.

847:8 a Is 32:9 b Is 45:6; Zef 2:15 c Kub 18:7“Kale nno kaakano wuliriza kino,

ggwe awoomerwa amasanyu

ggwe ateredde mu mirembe gyo,

ng’oyogera mu mutima gwo nti,

‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze.

Siribeera nnamwandu

wadde okufiirwa abaana.’

947:9 a Zab 73:19; 1Bs 5:3; Kub 18:8-10 b Is 13:18 c Nak 3:4 d Kub 18:23Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu,

eky’okufiirwa abaana

n’okufuuka nnamwandu.

Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu,

newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira,

n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.

1047:10 a Zab 52:7; 62:10 b Is 29:15 c Is 5:21 d Is 44:20Weesiga obutali butuukirivu bwo,

n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’

Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya,

bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’

1147:11 1Bs 5:3Kyokka ensasagge erikujjira

era tolimanya ngeri yakugyeggyako;

n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi;

akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.

1247:12 nny 9“Weeyongere nno n’obulogo bwo

n’obufumu bwo obwayinga obungi,

bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo.

Oboolyawo olibaako kyoggyamu,

oboolyawo olikolawo ekyobulabe.

1347:13 a Is 57:10; Yer 51:58 b Is 44:25 c nny 15Amagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya.

Abalagulira ku munyeenye basembera,

n’abo abakebera emmunyeenye,

era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako.

1447:14 a Is 5:24; Nak 1:10 b Is 10:17; Yer 51:30, 32, 58Laba, bali ng’ebisusunku

era omuliro gulibookya!

Tebalyewonya

maanyi ga muliro.

Tewaliiwo manda ga kukubugumya

wadde omuliro ogw’okwota!

1547:15 Kub 18:11Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka;

b’obonyeebonye nabo

b’oteganidde okuva mu buto bwo.

Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye

era tewali n’omu ayinza okukulokola.”