Isaaya 44 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 44:1-28

Isirayiri Eyalondebwa

144:1 nny 21; Yer 30:10; 46:27-28“Naye kaakano ggwe Yakobo omuweereza wange, wuliriza,

ggwe Isirayiri gwe nalonda.

244:2 a Is 41:10 b Ma 32:15Bw’ati bw’ayogera Mukama oyo,

eyakutonda era eyakubumba mu lubuto,

ajja kukuyamba.

Totya ggwe Yakobo,44:2 Wano Yakobo kitegeeza Isirayiri omuweereza wange,

ggwe Yesuruni gwe nalonda.

344:3 a Yo 3:18 b Yo 2:28; Bik 2:17 c Is 61:9; 65:23Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka

eririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu.

Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo,

era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo.

444:4 a Lv 23:40 b Yob 40:22Era balimera ng’omuddo ku mabbali g’enzizi,

babe ng’emiti egiri ku mabbali g’emigga.

544:5 a Kuv 13:9 b Zek 8:20-22Omu aligamba nti, ‘Nze ndi wa Mukama,’

n’omulala ne yeeyita erinnya lya Yakobo,

n’omulala ne yeewandiikako nti, ‘Wa Mukama,’

ne yeetuuma Isirayiri.

644:6 a Is 41:21 b Is 43:1 c Is 41:4; Kub 1:8, 17; 22:13“Bw’ati bw’ayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we,

Mukama Katonda ow’Eggye:

Nze w’olubereberye era nze nkomererayo

era tewali Katonda mulala we ndi.

744:7 Is 41:22, 26Ani afaanana nga nze,

akirangirire,

eyali asobola okumanya n’alangirira ebigenda okubaawo

okuviira ddala ku ntandikwa?

Leka batubuulire ebigenda okubaawo.

844:8 a Is 43:10 b Ma 4:35; 1Sa 2:2Temutya wadde okuggwaamu amaanyi.

Saakirangirira ne ntegeeza ebigenda okujja?

Mmwe bajulirwa bange.

Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Nedda.

Tewali Lwazi lulala,

sirina lwe mmanyi.”

944:9 Is 41:24Abo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa,

era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa.

Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi,

balyoke bakwatibwe ensonyi.

1044:10 Is 41:29; Yer 10:5; Bik 19:26Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba?

1144:11 a Is 1:29 b Is 42:17Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi.

N’ababazzi nabo bantu buntu.

Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa.

Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.

1244:12 a Is 40:19; 41:6-7 b Yer 10:3-5; Bik 17:29Omuweesi akwata ekitundu ky’ekyuma

n’akiyisa mu manda, agaliko omuliro.

Akikolako n’akitereeza n’ennyondo mu maanyi ge.

Enjala emuluma,

n’aggwaamu amaanyi,

tanywa mazzi era akoowa.

1344:13 a Is 41:7 b Zab 115:4-7 c Bal 17:4-5Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo

era n’alamba n’ekkalaamu.

Akinyiriza ne landa,

n’akiramba kyonna n’ekyuma ekigera,

n’akikolamu ekifaananyi ky’omuntu ng’omuntu bw’afaanana,

kiryoke kiteekebwe mu nnyumba.

14Atema emivule oba n’addira enzo oba omuyovu n’agusimba

oba n’aguleka gukule n’emiti mu kibira,

oba n’asimba enkanaga,

enkuba n’egikuza.

1544:15 a nny 19 b 2By 25:14Abantu bagukozesa ng’enku,

ezimu n’azitwala n’azikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya.

Akuma omuliro n’afumba emigaati.

Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda n’amusinza,

akola ekifaananyi ekikole n’emikono n’akivuunamira.

16Ekitundu ky’olubaawo akyokya mu muliro,

ekitundu ekirala akyokesa ennyama

n’agirya n’akutta.

Ayotako n’abuguma nga bw’agamba nti,

“Mbugumye, omuliro ngutegedde!”

1744:17 a 1Bk 18:26 b Is 45:20Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda,

ekifaananyi ekikole n’emikono,

era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti,

“Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”

1844:18 a Is 1:3 b Is 6:9-10Tebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera,

amaaso gaabwe gazibye n’okuyinza ne batayinza kulaba,

n’okutegeera ne batayinza kutegeera.

1944:19 a Is 5:13; 27:11; 45:20 b Ma 27:15Tewali n’omu ayimirira n’alowooza,

tewali n’omu amanyi wadde ategeera okugamba nti,

“Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro,

era ne nfumba n’obugaati ku manda gaakyo,

njokezzaako n’ennyama n’engirya.

Ekitundu kyakyo kifuuse eky’omuzizo?

Nvuunamire ekisiki ky’omuti?”

2044:20 a Zab 102:9 b Yob 15:31; Bar 1:21-23, 28; 2Bs 2:11; 2Ti 3:13 c Is 59:3, 4, 13; Bar 1:25Alya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba,

tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti,

“Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?”

Mukama, Omutonzi era Omulokozi

2144:21 a Is 46:8; Zek 10:9 b nny 1-2 c Is 49:15“Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo;

oli muweereza wange ggwe Isirayiri.

Nze nakubumba, oli muweereza wange,

ggwe Isirayiri sirikwerabira.

2244:22 a Is 43:25; Bik 3:19 b Is 55:7 c 1Ko 6:20Ebyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula.”

2344:23 a Is 42:10 b Zab 148:7 c Zab 98:8 d Is 61:3Yimba n’essanyu ggwe eggulu

kubanga ekyo Mukama yakikoze.

Muleekaane n’essanyu mmwe abali wansi ku nsi.

Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu.

Mukama anunudde Yakobo

era yeegulumiriza mu Isirayiri.

Yerusaalemi kya kuzzibwawo

2444:24 a Is 43:14 b Is 42:5“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omulokozi wo,

eyakutondera mu lubuto.

“Nze Mukama,

eyatonda ebintu byonna,

eyabamba eggulu nzekka,

eyayanjuluza ensi obwomu,

2544:25 a Zab 33:10 b Is 47:13 c 1Ko 1:27 d 2Sa 15:31; 1Ko 1:19-20asazaamu abalaguzi bye balagudde

era abalogo abafuula abasirusiru.

Asaabulula eby’abagezi

n’afuula bye balowoozezza okuba eby’obusirusiru.

2644:26 a Zek 1:6 b Is 55:11; Mat 5:18 c Is 49:8-21Anyweza ekigambo ky’omuweereza we

n’atuukiriza obubaka bwa babaka bange.

“Ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kirituulibwamu,’

ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Birizimbibwa,’

ne ku bifo ebyazika nti, ‘Ndibizzaawo.’

27Agamba amazzi g’obuziba bwe nnyanja nti, ‘Kalira,

era ndikaliza emigga gyo.’

2844:28 a 2By 36:22 b Is 14:32 c Ezr 1:2-4Ayogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wange

era alituukiriza bye njagala byonna.’

Alyogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kizimbibwe,’

ne ku yeekaalu nti, ‘Emisingi gyayo gizimbibwe.’ ”

Korean Living Bible

이사야 44:1-28

택함받은 이스라엘

1여호와께서 말씀하신다. “내가 택한 나의 종 이스라엘아, 들어라.

2나는 너를 만들었을 뿐만 아니라 앞으로 너를 도와줄 여호와이다. 내가 택한 종 이스라엘아, 너는 두려워하지 말아라.

3내가 목마른 자에게 물을 주고 마른 땅에 시내가 흐르게 하며 44:3 또는 ‘내신을’성령과 복을 네 후손들에게 부어 줄 것이니

4그들은 무성하게 자라는 풀이나 시냇가의 버들처럼 번성할 것이다.

5어떤 사람은 ‘나는 여호와의 백성이다’ 하고 자랑스럽게 말할 것이며 또 어떤 사람은 야곱의 이름을 부르고 또 다른 사람은 여호와의 백성이라는 말을 자기 팔에 새기며 이스라엘이란 이름을 자랑스럽게 부를 것이다.”

유일하신 여호와 하나님

6이스라엘의 왕이신 여호와, 이스라엘의 구원자가 되시는 전능하신 여호와가 말씀하신다. “나는 처음이요 마지막이니 나 외에는 다른 신이 없다.

7내가 44:7 또는 ‘옛날 백성을 세운 이후로’인류를 창조한 이후로 나처럼 외치고 말한 자가 있느냐? 만일 있으면 앞으로 있을 일과 장차 일어날 사건을 말하게 하라.

8내 백성들아, 너희는 두려워하거나 겁내지 말아라. 내가 옛날부터 너희에게 말하지 않았느냐? 너희는 내 증인이다. 나 외에 다른 신이 있느냐? 내가 알지 못하는 다른 반석이 있느냐?”

우상 숭배의 어리석음

9우상을 만드는 자들은 다 어리석고 그들이 소중히 여기는 신들도 무익하니 우상을 만든 그들이 바로 이것에 대한 증인이다. 그러므로 우상을 섬기는 눈멀고 무식한 자들이 수치를 당할 것이다.

10신으로 섬기겠다고 우상을 만들어 봐도 아무 소용이 없다.

11우상을 섬기는 자들이 그것을 만든 자들과 함께 다 여호와 앞에 서서 두려워 떨며 수치를 당할 것이다.

12철공은 연장을 만들기 위해 대장간에서 철을 불에 달구고 망치로 힘 있게 두들기므로 배고프고 목말라 지쳐 버리고 만다.

13그리고 목공은 나무 치수를 재고 윤곽을 그려 사람의 아름다운 모습을 새겨서 그것을 자기 집에 둔다.

14그런 우상을 만들기 위해서 그는 백향목을 자르고 잣나무나 상수리나무를 사용하기도 하며 어떤 때는 전나무를 심어 놓고 비에 자랄 때까지 기다리기도 한다.

15그는 그 나무의 일부를 땔감으로 사용하여 불을 피워 자기 몸을 따뜻하게 하거나 떡을 구워 먹기도 하고 그 나머지 나무로 우상을 만들어 그 앞에 절하며 그것을 숭배한다.

16그는 그 나무 일부로 불을 피워 고기를 삶거나 구워서 배불리 먹고 몸을 따뜻하게 하며 “정말 따뜻하구나. 이 얼마나 좋은 불인가!” 하고 감탄을 금치 못한다.

17그리고 그는 그 나머지 나무로 우상을 만들어 그 앞에 절하고 경배하며 “당신은 내 신입니다. 나를 구하소서” 하고 빌기까지 한다.

18그와 같은 사람들은 어리석고 무식하여 자기들이 하는 짓을 깨닫지 못하며 진리에 대한 눈과 마음이 어두워져 있다.

19우상을 만들어 섬기는 사람은 생각할 능력이나 지식이 없으며 “내가 그 나무의 일부로 불을 피워 그 숯불 위에 떡과 고기를 구워 먹었는데 나머지 나무로 우상을 만들어 이 나무 토막 앞에 절을 하다니!” 하고 말할 수 있는 지각이 없다.

20그는 거짓에 미혹되어 자신을 구할 수도 없고 자기 손에 들고 있는 우상이 신이 아니라고 말하지도 못한다.

창조자이시며 구원자이신 여호와

21여호와께서 말씀하신다. “이스라엘아, 너는 이것을 기억하라. 너는 내 종이다. 내가 너를 창조하여 내 종으로 삼았으니 내가 결코 너를 잊지 않겠다.

22구름이나 아침 안개가 사라지듯 내가 네 죄를 없애 버렸다. 너는 나에게 돌아오라. 내가 너를 구원하였다.”

23하늘아, 기쁨으로 노래하라. 하나님께서 이 놀라운 일을 행하셨다. 땅아, 큰 소리로 외쳐라. 산과 숲속의 모든 나무들아, 큰 소리로 노래하라. 여호와께서 이스라엘을 구원하심으로 자기 영광을 나타내셨다.

24여호와께서 말씀하신다. “나는 너의 구원자, 여호와이며 너를 생기게 하고 만물을 창조한 여호와이다. 내가 혼자 하늘을 펴고 땅을 만들었다.

25나는 거짓 예언자들과 점쟁이들의 예언이 틀리게 하여 그들을 어리석은 자로 만들고 지혜로운 자의 지식을 쓸모없게 하는 자이다.

26그러나 내 종들이 예언할 때나 내 사자를 보내 내 계획을 알릴 때에는 내가 그 계획과 예언을 성취시킨다. 나는 예루살렘에 대하여 거기에 사람이 다시 살게 될 것이라고 말하며 유다 성들에 대해서는 그것이 재건될 것이라고 말하고 그 폐허에 대해서는 복구될 것이라고 말하는 자이다.

27나는 말 한마디로 강과 바다를 말리며

28키루스에 대하여 ‘그는 내 목자이므로 내가 원하는 일을 성취할 것이다. 그가 예루살렘의 재건과 성전 기초 공사를 명령할 것이다’ 하고 말하는 자이다.”