Isaaya 43 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 43:1-28

Omulokozi wa Isirayiri Ali Omu Yekka

143:1 a nny 7 b Lub 32:28; Is 44:21 c Is 44:2, 6 d Is 42:6; 45:3-4Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda,

ggwe Yakobo,

eyakukola ggwe Isirayiri:

“Totya kubanga nkununudde,

nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.

243:2 a Is 8:7 b Ma 31:6, 8 c Is 29:6; 30:27 d Zab 66:12; Dan 3:25-27Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu

nnaabeeranga naawe,

ne bw’onooyitanga mu migga

tegirikusaanyaawo;

bw’onooyitanga mu muliro

tegukwokyenga,

ennimi z’omuliro tezirikwokya.

343:3 a Kuv 20:2 b Is 20:3 c Nge 21:18Kubanga nze Mukama Katonda wo,

Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo.

Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa,

era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.

443:4 Is 63:9Kubanga oli wa muwendo gye ndi, ow’ekitiibwa,

era kubanga nkwagala,

ndiwaayo abasajja ku lulwo

mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo.

543:5 a Is 44:2 b Yer 30:10-11 c Is 41:8Totya, kubanga nze ndi nawe,

ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba

era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.

643:6 a Zab 107:3 b 2Ko 6:18Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’

n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’

Leeta batabani bange okuva ewala

ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.

743:7 a Is 56:5; 63:19; Yak 2:7 b nny 1, 21; Zab 100:3; Bef 2:10Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange,

gwe natonda olw’ekitiibwa kyange,

gwe nakola gwe natonda.”

Eggwanga erirondeddwa nga Omujulirwa

843:8 a Is 6:9-10 b Is 42:20; Ez 12:2Fulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba,

abalina amatu naye nga tebawulira.

943:9 a Is 41:1 b Is 41:26Amawanga gonna ka gakuŋŋaane

n’abantu bajje.

Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino?

Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo?

Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu

abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”

1043:10 a Is 41:8-9 b Is 44:6, 8“Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama,

“omuweereza wange gwe nalonda:

mulyoke mummanye, munzikirize,

mutegeere nga Nze wuuyo:

Tewali Katonda eyansooka

era teriba mulala alinzirira.

1143:11 Is 45:21Nze, Nze mwene, nze Mukama;

okuggyako nze tewali Mulokozi.

1243:12 a Ma 32:12; Zab 81:9 b Is 44:8Nze naleeta okwolesebwa ne nangirira ne ndokola;

nze so si katonda mulala mugwira mu mmwe.

Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama.

1343:13 a Zab 90:2 b Yob 9:12; Is 14:27“Weewaawo, okuva mu nnaku ez’edda Nze Nzuuyo;

tewali n’omu ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange.

Kye nkola ani ayinza okukikyusa?”

1443:14 a Is 13:14-15 b Is 23:13Bw’ati bw’ayogera Mukama,

Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti,

“Ku lwammwe nditumya e Babulooni,

ndeetere ab’e Babulooni bonna nga bawambe

mu byombo ebyabeewanya.

15Nze Mukama, Omutukuvu wammwe,

Omutonzi wa Isirayiri, Kabaka wammwe.”

1643:16 Zab 77:19; Is 11:15; 51:10Bw’ati bw’ayogera Mukama,

oyo eyakola ekkubo mu nnyanja,

n’oluguudo mu mazzi amangi ennyo,

1743:17 a Zab 118:12; Is 1:31 b Kuv 14:9eyaleetera amagaali, n’embalaasi n’eggye, n’abaali bazze okubayamba,

byonna awamu okugwa omwo,

ne bitaddamu kusituka, nga bizikiridde,

nga bikomye ng’akatambi akabadde kaaka:

18“Mwerabire eby’emabega,

so temulowooza ku by’ayita.

1943:19 a 2Ko 5:17; Kub 21:5 b Kuv 17:6; Kbl 20:11Laba, nkola ekintu ekiggya!

Kaakano kitandise okulabika, temukiraba?

Nkola oluguudo mu ddungu

ne ndeeta emigga mu lukoola.

2043:20 a Is 13:22 b Is 48:21Ensolo ez’omu nsiko zinzisaamu ekitiibwa,

ebibe n’ebiwuugulu;

kubanga nze ngaba amazzi mu ddungu,

n’emigga mu lukoola,

okunywesa abantu bange, abalonde bange,

2143:21 Zab 102:18; 1Pe 2:9abantu be nnekolera

balangirire ettendo lyange.

2243:22 Is 30:11“So tonkowodde ggwe, Yakobo,

era teweekooyeza ggwe Isirayiri.

2343:23 a Zek 7:5-6; Mal 1:6-8 b Am 5:25 c Yer 7:22 d Kuv 30:35; Lv 2:1Tondeetedde ndiga ey’ebiweebwayo ebyokebwa,

wadde okunzisaamu ekitiibwa ne ssaddaaka zo.

Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo ebyempeke

wadde okukukooya n’obubaane.

2443:24 a Kuv 30:23 b Is 1:14; 7:13 c Mal 2:17Tondeeteddeeyo bubaane buwunya kawoowo

wadde okunzikusa n’amasavu ga ssaddaaka zo,

naye onkoyesezza n’ebibi byo,

era n’onteganya n’obutali butuukirivu bwo.

2543:25 a Bik 3:19 b Is 37:35; Ez 36:22 c Is 38:17; Yer 31:34“Nze, Nze mwene,

nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze,

so sirijjukira bibi byo.

2643:26 a Is 1:18 b Is 41:1; 50:8Nzijukiza eby’edda, tuwoze ffembi,

jjangu ensonga tuzoogereko fembi,

yogera ebiraga nga toliiko musango.

2743:27 Is 9:15; 28:7; Yer 5:31Kitaawo eyasooka yasobya,

abakulembeze bo baanjemera.

2843:28 Yer 24:9; Ez 5:15Kyendiva ndiswaza abakungu ba yeekaalu yo,

era ndiwaayo Yakobo azikirizibwe

ne Isirayiri aswazibwe.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以賽亞書 43:1-28

以色列的唯一救主

1雅各啊,以色列啊,創造你、使你成形的耶和華說:

「不要害怕,我已經救贖了你;

我點名呼召了你,你屬於我。

2你穿越洪濤,我必與你同在;

你渡過江河,必不會被水淹沒;

你在火中走過,必不會被燒傷,

火焰不會燒到你身上。

3因為我是你的上帝耶和華,

以色列的聖者,是你的救主。

我用埃及作你的贖價,

使古實西巴代替你。

4我珍視你,看重你,深愛你,

所以我用他人代替你,

用列邦交換你的生命。

5不要害怕,因為我與你同在,

我必從東方、從西方召集你和你的兒女。

6我要對北方說,『交出來!』

對南方說,『不要扣留!』

要從遠方把我的兒子們帶來,

從地極把我的女兒們領回。

7所有屬於我的人都要回來,

他們是我為自己的榮耀而創造的。

8「要把那些有眼看不見、

有耳聽不見的人帶出來。

9讓萬國聚集,列邦會合。

他們的神明中誰曾啟示這事?

誰曾預言所發生的事?

他們可以找證人來證實,

好叫聽見的人都說這是真的。

10耶和華說:

以色列人啊,你們是我的證人,

我揀選你們做我的僕人,

要叫你們認識我,相信我,

明白我是耶和華,

在我以前沒有上帝,

在我以後也沒有。

11唯有我是耶和華,

除我以外沒有別的救主。

12我曾啟示,我曾拯救,

我曾宣告。

你們中間沒有別的神明。

我是上帝,你們是我的證人。』

這是耶和華說的。

13『我從太初就是上帝。

無人能逃脫我的手。

誰能阻撓我行事呢?』」

14你們的救贖主耶和華——以色列的聖者說:

「為了你們的緣故,

我必派大軍進攻巴比倫

使迦勒底人坐著他們引以為榮的船逃亡。

15我是你們的聖者耶和華,

以色列的創造主,

是你們的君王。」

16耶和華曾在洶湧的大海中開闢道路。

17祂使埃及的戰車、馬匹、軍兵、

勇士傾巢而出,

一同倒下,不再起來,

像熄滅的燈火一樣滅沒。

18耶和華說:

「不要想念過去,

不要留戀往事。

19看啊,我要行一件新事,

這事現在就要發生,

難道你們沒有察覺嗎?

我要在曠野闢道路,

在沙漠開江河。

20曠野的走獸必尊崇我,

其中有豺狼和鴕鳥,

因為我使曠野有甘泉,

使沙漠有江河,

供我揀選的子民飲用。

21他們是我為自己所造的子民,

他們要頌揚我。

22雅各啊,你卻沒有求告我;

以色列啊,你竟然厭煩我。

23你沒有帶來作燔祭的羊,

也沒有用祭物來尊崇我。

我沒有讓你因祭物而受累,

也沒有讓你因香料而煩擾。

24你並沒有花錢買菖蒲獻給我,

也沒有用祭物的脂肪滿足我,

反而使我因你的罪惡而受累,

因你的過犯而煩擾。

25「我,是我為自己的緣故,

除去你的過犯,忘掉你的罪惡。

26你可以提醒我,你我可以理論,

你可以提出理由證明自己的清白。

27你的始祖犯了罪,

你的首領也背叛了我。

28所以我要使你聖殿的祭司受辱,

使雅各遭毀滅,

使以色列被辱罵。