Isaaya 40 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 40:1-31

Ebigambo eby’Essuubi

140:1 Is 12:1; 49:13; 51:3, 12; 52:9; 61:2; 66:13; Yer 31:13; Zef 3:14-17; 2Ko 1:3Mugumye, mugumye abantu bange,

bw’ayogera Katonda wammwe.

240:2 a Is 35:4 b Is 41:11-13; 49:25 c Is 61:7; Yer 16:18; Zek 9:12; Kub 18:6Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti,

entalo ze ziweddewo,

n’obutali butuukirivu bwe

busasuliddwa.

Era Mukama amusasudde emirundi ebiri

olw’ebibi bye byonna.

340:3 a Mal 3:1 b Mat 3:3*; Mak 1:3*; Yk 1:23*Eddoboozi ly’oyo ayogera

liwulikika ng’agamba nti,

“Muteeketeeke ekkubo lya Mukama mu ddungu,

mutereeze oluguudo lwe mu ddungu.

440:4 Is 45:2, 13Buli kiwonvu kirigulumizibwa,

na buli lusozi n’akasozi ne bikkakkanyizibwa.

N’obukyamu buligololwa,

ebifo ebitali bisende ne bitereezebwa.

540:5 a Is 52:10; Luk 3:4-6* b Is 1:20; 58:14Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa,

ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu,

kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”

640:6 Yob 14:2Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti,

“Yogera mu ddoboozi ery’omwanguka.”

Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti,

“Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro.

740:7 Yob 41:21Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,

omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako.

Mazima abantu muddo.

840:8 a Is 55:11; 59:21 b Mat 5:18; 1Pe 1:24-25*Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,

naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”

940:9 a Is 52:7-10; 61:1; Bar 10:15 b Is 25:9Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi,

werinnyire ku lusozi oluwanvu;

ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi,

yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya.

Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”

1040:10 a Kub 22:7 b Is 9:6-7 c Is 59:16 d Is 62:11; Kub 22:12Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi

era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo.

Laba empeera ye eri mu mukono gwe,

buli muntu afune nga bw’akoze.

1140:11 Ez 34:23; Mi 5:4; Yk 10:11Aliisa ekisibo kye ng’omusumba,

akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe

n’abasitula mu kifuba kye,

n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.

1240:12 a Yob 38:10 b Nge 30:4 c Beb 1:10-12Ani eyali ageze amazzi g’ennyanja mu kibatu kye,

n’apima eggulu n’oluta,

n’apima enfuufu y’oku nsi mu kibbo,

oba n’apima ensozi ku minzaani,

n’obusozi ku kipima?

1340:13 Bar 11:34*; 1Ko 2:16*Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo wa Mukama?

Ani ayinza okumuyigiriza n’amuwa amagezi?

1440:14 Yob 21:22; Bak 2:3Ani gwe yali yeebuuzizzako amuwe ku magezi,

era ani eyali amuyigirizza ekkubo ettuufu?

Ani eyali amusomesezza eby’amagezi n’amulaga okuyiga,

n’okumanya n’okutegeera?

15Laba amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa,

era ng’enfuufu ekutte ku minzaani,

apima ebizinga ng’apima olufuufu ku minzaani.

1640:16 Zab 50:9-11; Mi 6:7; Beb 10:5-9N’ensolo zonna ez’omu kibira kya Lebanooni tezimala kubeera kiweebwayo eri Katonda waffe,

n’emiti gyamu gyonna mitono nnyo tegisobola kuvaamu nku zimala.

1740:17 a Is 30:28 b Is 29:7 c Dan 4:35Amawanga gonna ag’omu nsi

gabalibwa mu maaso ge,

gy’ali gabalibwa nga si kintu n’akamu.

1840:18 a Kuv 8:10; 1Sa 2:2; Is 46:5 b Bik 17:29Kale ani gwe mulifaananya Katonda?

Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?

1940:19 a Zab 115:4 b Is 41:7; Yer 10:3 c Is 2:20Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba,

n’omuweesi wa zaabu n’akibikkako zaabu,

n’akibikkako n’emikuufu egya ffeeza.

2040:20 1Sa 5:3Oyo omwavu atasobola kufuna ffeeza

oba zaabu afuna omuti omugumu ogutavunda

ne yenoonyeza omukozi omugezigezi

okusimba n’okunyweza ekifaananyi ekyole.

2140:21 a Zab 19:1; 50:6; Bik 14:17 b Bar 1:19 c Is 48:13; 51:13Temunnamanya,

temunnawulira,

temubuulirwanga

okuva ku kutondebwa kw’ensi?

2240:22 a Kbl 13:33; Zab 104:2; Is 42:5 b Yob 22:14 c Yob 36:29Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu,

era gy’ali abantu bali ng’amayanzi.

Atimba eggulu ng’olutimbe

era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu.

2340:23 a Is 34:12 b Yob 12:21; Zab 107:40Afuula abafuzi obutaba kintu,

afuula n’abalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu.

2440:24 Is 41:16Bali ng’ebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa,

biba byakasigibwa,

biba byakaleeta emirandira,

nga abifuuwa nga biwotoka,

ng’embuyaga ebitwalira ddala ng’ebisasiro.

2540:25 nny 18“Kale mulinfaananya ani,

ani gwe mulinnenkanya?” bw’ayogera Omutukuvu.

2640:26 a Is 51:6 b Zab 89:11-13; Is 42:5 c Zab 147:4 d Is 34:16Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu.

Ani eyatonda ebyo byonna?

Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu,

byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo.

Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso,

tewali na kimu kibulako.

2740:27 Yob 27:2; Luk 18:7-8Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti,

Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu,

era tafaayo nga tuggyibwako

eddembe lyaffe ery’obwebange”?

2840:28 a nny 21 b Zab 90:2 c Zab 147:5; Bar 11:33Tonnamanya?

Tonnawulira?

Mukama, ye Katonda ataliggwaawo.

Omutonzi w’enkomerero y’ensi.

Tazirika so takoowa

era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.

2940:29 Is 50:4; Yer 31:25Awa amaanyi abazirika,

n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.

3040:30 Is 9:17; Yer 6:11; 9:21Abavubuka bazirika, bakoowa,

n’abalenzi bagwira ddala.

3140:31 a Luk 18:1 b 2Ko 4:16 c Kuv 19:4; Zab 103:5 d 2Ko 4:1; Beb 12:1-3Naye abo abalindirira Mukama

baliddamu buggya amaanyi gaabwe,

balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;

balidduka mbiro ne batakoowa,

balitambula naye ne batazirika.