Isaaya 32 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 32:1-20

Obwakabaka obw’Obutuukirivu

132:1 a Ez 37:24 b Zab 72:1-4; Is 9:7Laba, Kabaka alifuga mu butuukirivu,

n’abafuzi balifuga mu bwenkanya.

232:2 Is 4:6Buli muntu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu empewo,

ng’ekiddukiro okuva eri kibuyaga,

ng’emigga gy’amazzi mu ddungu,

ng’ekisiikirize eky’olwazi olunene mu nsi ey’ennyonta.

332:3 Is 29:18Olwo amaaso gaabo abalaba tegaliziba,

n’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.

432:4 Is 29:24Omutima gw’abatali bagumiikiriza gulimanya era gulitegeera,

n’olulimi olw’abanaanaagira lulitereera ne boogera bulungi.

532:5 1Sa 25:25Omusirusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa,

newaakubadde omuntu omwonoonyi okuteekebwamu ekitiibwa.

632:6 a Nge 19:3 b Is 9:17 c Is 9:16 d Is 3:15Omusirusiru ayogera bya busirusiru,

n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu.

Akola eby’obutatya Katonda,

era ayogera bya bulimba ku Mukama,

n’abayala abaleka tebalina kintu,

n’abalumwa ennyonta abamma amazzi.

732:7 a Yer 5:26-28 b Mi 7:3 c Is 61:1Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu.

832:8 Nge 11:25Naye omuntu ow’ekitiibwa akola entegeka za kitiibwa,

era ku bikolwa bye eby’ekitiibwa kw’anywerera.

932:9 a Is 28:23 b Is 47:8; Am 6:1; Zef 2:15Mmwe abakazi abateefiirayo,

mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange;

mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu,

muwulire bye ŋŋamba.

1032:10 Is 5:5-6; 24:7Mu mwaka gumu oba n’okusingawo,

mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya,

amakungula g’emizabbibu galifa,

n’amakungula g’ebibala tegalijja.

1132:11 Is 47:2Mutye mmwe abakazi abateefiirayo,

mukankane mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu.

Muggyeko engoye zammwe,

mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.

1232:12 Nak 2:7Munakuwalire ennimiro ezaali zisanyusa,

olw’emizabbibu egyabalanga,

1332:13 a Is 5:6 b Is 22:2n’olw’ensi ey’abantu bange,

ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti.

Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu,

na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.

1432:14 a Is 13:22 b Is 6:11; 27:10 c Is 34:13 d Zab 104:11Weewaawo ekigo kirirekebwawo,

ekibuga ekirimu oluyoogaano kirifuuka kifulukwa.

Ebigo n’eminaala birifuuka ebitagasa ennaku zonna,

ekifo ekisanyusa endogoyi, eddundiro ly’ebisibo,

1532:15 a Is 11:2; Yo 2:28 b Zab 107:35; Is 35:1-2 c Is 29:17okutuusa Omwoyo lw’alitufukibwako okuva waggulu,

n’eddungu ne lifuuka ennimiro engimu,

n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira.

16Obwenkanya bulituula mu ddungu,

n’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu.

1732:17 a Zab 119:165; Bar 14:17; Yak 3:18 b Is 30:15Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe,

n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.

1832:18 Kos 2:18-23Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe,

mu maka amateefu

mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.

1932:19 a Is 28:17; 30:30 b Is 10:19; Zek 11:2 c Is 24:10; 27:10Omuzira ne bwe guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo,

n’ekibuga ne kiggirwawo ddala,

2032:20 a Mub 11:1 b Is 30:24ggwe oliraba omukisa,

ng’osiga ensigo y’oku migga gyonna,

n’ente zo n’endogoyi zo ne zirya nga zeeyagala.